Gye biggweeredde nga Kalungu egendeddeko ne Bukomansimbi nayo eyakkiriziddwa okufuuka Disitulikiti okwo ogatteko Bukoto etuumiddwa Lwengo, olwo Masaka ne kasigala ng’akazinga!
Abatunuulizi bagamba nti Mawiya okuleeta ekya Disitulikiti yali asasula Ssempijja ataamuwagira mu kalulu ka 2001 n’awagira Livingstone Matovu Muzzang’anda bwe baavuganya.
Abalala bagamba nti emabega wa Mawiya eriyo bannabyabufuzi abalala abamuseesaamu okukendeeza amaanyi ga Ssempijja naddala bwe kibadde nti okuwangula akalulu k’e Masaka obadde omala kuwandibwako ddusu lye.
Â
Mawiya oluvannyuma yeegattibwako eyali omubaka wa Bukomansimbi, Kagimu Kiwanuka n’owa Kalungu West Anthony Yiga bwe baasooka okutokota eky’amasaza gombi Bukomansimbi ne Kalungu okwekutula ku Masaka.
Bonsatule ensonga ya Disitulikiti y’e Kalungu baasooka okujanjulira Pulezidenti Museveni ng’akyadde mu katale k’okuzimba klezia ya St. Jude-Lukaya mu 2004.
Ku olwo Pulezidenti ekya Kalungu teyakisiinyaako kyokka Ssempijja n’amutegeeza nti obuzibu bwa Bannamasaka si kwekutulamu wabula Gavumenti kubawa bikozesebwa.
Embiranye
Wano embiranye ya Masaka okutemwako Kalungu we yeeyongerera okukkakkana nga Kagimu agivuddemu n’addirirwa Yiga eyagenda ewa Ssempijja n’amwetondera nti yawubisibwa!
Mawiya olwawangula mu 2001 yattukiza ekya disitulikiti y’e Kalungu. Enkambi ya Ssempijja kwe kumussaako ekifuba n’ewagira Sserunjogi okukkakkana ng’akalulu ka 2006 kamumezze.
Naye nnawolovu tafiira ku bbala limu! Mawiya yaltwala Sserunjogi mu kkooti n’amuvunaana ogw’okubba obululu kyokka Mawiya omusango gwamusinga. Olwo kwe kukuba ebituli mu buyigirize bwa Sserunjogi. Guno yaguwangula era okulonda ne kuddibwamu mu 2007.
Endagaano tontabaalanga
Aba NRM abawagira Ssempijja baasibira Mawiya ekikookolo era singa Pulezidenti teyeesitula kutabaganya njuyi zombi, Mukasa Mbidde owa DP yali abatutte ‘kaguddeyo’!
Oluvannyuma lw’enteeseganya nga July 25, 2007, Mawiya ne Ssempijja baagwang’ana mu bifuba nga Mawiya akkiriza obutaddamu kuyimba kya Kalungu kwekutula ku Masaka, ne Ssempijja n’akkiriza okumuwagira.
Kyokka Mawiya olwayitamu n’asitulira ddala enkundi ya Disitulikiti! Ku luno yali ne Yiga owa Kalungu West ne bafuna obuwagizi bwa bakansala ne bassentebe b’amagombolola.
Mawiya yeefuula
Owa Bukomansimbi, Hajji Iddi Lubyayi Kisiki agenda okusisimuka nga bamusensedde, kwe kwekubira enduulu ewa Sipiika wa Palamenti, Kiwanuka Ssekandi. Yagamba nti abantu be okubatwala e Kalungu waakiri nabo babawe disitulikiti.
 Sipiika yagezaako okuzikiza omuliro gw’okusala mu Masaka, kyokka Mawiya n’akiremerako nga yeegatiddwaako omubaka Sauda Namaggwa.
Pulezidenti ng’ayise abakulembeze n’abeddiini e Rwakitula bakkaanya Masaka akutulwemu Disitulikiti ssatu - Kalungu, Lwengo ne Masaka esigalewo kyokka oluvannyuma lwa Minisita wa Gavumenti ezeebitundu okusisinka Bannamasaka ne bagattako ne Bukomansimbi.
Palamenti olwamaze okukakasa nga Masaka bw’alyebuddwaamu, kyalaze Mawiya bw’amezze Ssempijja!
Agava mu nkambi ya Ssempijja galaga nti ebya Ssentebe wa Disitulikiti abiggyeemu enta, obwenyi abwolekezza Palamenti asiguukulule Mawiya mu Kalungu East. Baakusooka kwepima mu kamyufu ka NRM.
Ate abaakeesowolayo okuvuganya ku ky’obubaka bwa Palamenti mu kifo ky’abakazi kuliko Aisha Ssekindi mu kiseera kino omumyuka wa RDC e Kamuli. Ono ayagala kya disitulikiti y’e Kalungu gy’agenda okusanga Muky. Kasumba Kintu.Â
Muky. Josephine Kizito yeesunga kukuzibwa afuulibwe RDC omujjuvu okuva ku bumyuka. Ate ekya Ssentebe wa Disitulikiti kivuganyizibwako Matovu Muzzang’anda (Bukulula), Abraham Rincon Tusuubire ne Ronald Lubega (Lwabenge)
Muky. Nanziri Kasse Mubanda afunvubidde kusiguukulula Namaggwa mu Masaka esigaddewo ng’ali ne Muky. Margaret Ntambaazi ne Agnes Mayanja.
Ate e Lwengo (mukazi) evuddeyo akulira ebyenjigiriza e Ssembabule, Gerturude Lubega ate obwassentebe bwa Disitulikiti zino, e Lwengo evuganyizibwa bakansala Bbaale Mukasa (Kisekka), Eddie Ssansa (Lwengo), Enock Turyagenda (Malongo), Umar Ssebulime (Kyazanga) ne Lt.Joy Walusimbi (Kingo).
Olusaze mu Masaka kati Ssempijja alumbye Mawiya mu Kalungu East