TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ani yapangidde omusuubuzi w’e Mityana ogw’ebicupuli okumufiiriza bizinensi?

Ani yapangidde omusuubuzi w’e Mityana ogw’ebicupuli okumufiiriza bizinensi?

Added 28th April 2010

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri omusango ogwagobeddwa mu kkooti gye gulimu abaguseesaamu nga nabo basuubuzi mu Mityana.

MU kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki ewedde, ababbi baalumba amaka ga Peter Ssenkusu e Wabigalo-Mityana ne bagezaako okubba mmotoka ye eya Carina.Obutaviiramu aw

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri omusango ogwagobeddwa mu kkooti gye gulimu abaguseesaamu nga nabo basuubuzi mu Mityana.

MU kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki ewedde, ababbi baalumba amaka ga Peter Ssenkusu e Wabigalo-Mityana ne bagezaako okubba mmotoka ye eya Carina.Obutaviiramu awo, baayasaayasa amadirisa g’ennyumba n’embwa y’awaka ne bagitta!
Enkeera Rose Ssenkusu (mukyala we) yakwatibwa abasirikale okuva ku poliisi y’e Kajjansi ku lw’e Ntebe, nga bagamba nti yali akukusa ebicupuli!
Okukakasa kino, baazuula akasawo mu dduuka lye erya Jose Printers erisangibwa mu kibuga Mityana nga kalimu ebicupuli bya 3000/-!
 Rose agamba akasawo kano kaalekebwawo omuvubuka omu eyali atera okumugulako peeni n’empapula akamukuumireko ku lunaku lwe lumu lwe baamukwata.
 Rose yakunguzziddwa n’atwalibwa ku poliisi e Mityana gye baamuggye ne bamutwala ku poliisi e Kajjansi.
Oluvannyuma baamutadde ku kakalu ka poliisi ku Lwokusatu. Wadde poliisi egamba nti obujulizi obuluma Rose weebuli naye kyewuunyisa nti tebaamututte mu kkooti!
   
Rose Ssenkusu
Nnayogeddeko naye ng’avudde mu kkomera era bino bye yang’ambye:
Nabadde ku dduuka era waabaddewo  Mukalazi, makanika mu Mityana n’omusomesa w’essomero lya Fremma P/S e Mityana. Yabadde anonye bibuuzo bya ssomero lye kuba ewange nkubirawo ebibuuzo by’abayizi.
Waliwo omuvubuka atera  okungulako peeni n’amabaasa n’obuntu obutonotono, ku luno yazze n’abaako by’agula. Nga tannagenda yansabye mmuterekere ku kasawo ke. 
Akasawo ssaakakebedde kuba sikebera bitali byange ate nga sirina kye mmwekengeeramu. Waayise akaseera katono  kabangali ( Double cabin) n’eyimirira mu maaso g’edduuka lyange. Mwabaddemu abasajja bataano n’omukazi omu. Baasoose kwerowooza, oluvannyuma ne basembera ku dduuka lyange.
Kwe kubuuza nnannyini dduuka, ne mbeeyanjulira ne bagamba nti baagala kunjaza!
Olw’okuba nnabadde nkimanyi nti sirina musango, ssaababuuzizza lwaki banjaza naye nga ntegedde nti bayinza okuba abapoliisi kubanga kwabaddeko ali mu yunifoomu ng’alina n’emmundu.
Baatandise na kupangulula bitabo naye nga kye banoonya sikimanyi. Olwo kwe kugwa ku kasawo omulenzi ke yanteresezza. Olwakasumuludde omusajja omu n’ajuuka nti, “‘Otyo kiwedde bibiino ebicupuli tubiguddeko!’
Mu butuufu akasawo kaabnaddemu 3000/- ze baayise ez’ebicupuli kuba nze n’ebicupuli sibimanyi. Mwabaddemu n’empapula endala ensale mu nnukula ya ssente, ebipapula ebirala ebiddugavu kyokka nga nabyo bifaanana ssente n’akacupa k’amazzi aga langi eya kiragala.
   
Ku poliisi e Mityana
Bansookezza ku poliisi e Mityana, kyokka baabadde  baagala kuntwala Kampala ng’abantu bange tebamanyi. Abamu baabadde baagala na kung’aana kukubira bantu bange!
Baze ku poliisi e Mityana we yatusanze era yatugoberedde okutuuka e Kajjansi wadde nga basoose kumubuzaabuza nti bantutte Katwe!

Mu kkubo
Nga tujja mu kkubo, twabadde mu mmotoka evugibwa Geoffrey Kamugisha (amannya kalondoozi ye yagazudde). Abasajja n’omukazi abaabadde mu mmotoka eno baatandise okumbuuza akana n’akataano wa gye nkolera ebicupuli, gye mbitambuliza ne be nkolagana nabo.
Bino nnabadde mpulira biggya mu matu gange, naye nga tujja waliwo eyambuuzizza nti ‘Ssente ze mulina kwe mugula n’emmotoka ze muvuga muzigya wa?’
Kino kyanneewuunyisizza kubanga ebya ssente n’emmotoka ze tuvuga bikwataganira wa n’ebicupuli? 
Bwe tutuuka e Busega, poliisi ennawunyi yagezezzaako okutuyimiriza, naye omu ku baabadde mu mmotoka yaffe yagenze n’ayogera nabo. Twawetedde Kabuusu, olw’okuba nze simanyi nnyo kibuga nagenze okuddamu okutegeera nga tuli Zana ku lw’e Ntebe. Bantutte ku poliisi e Kajjansi era gye nasuze.
   
Peter Ssenkusu
“Bwe bang’ambye nti poliisi ekutte mukyala wange olw’ebicupuli, nnayanguye okutuuka ku poliisi e Mityana, we twavudde okugenda e Kajjansi. Nagenze mbagoberera, naye emmotoka omuli mukyala wange yambuliddeko wakati wa Nateete ne Kabuusu. Waliwo omuserikale gwe nnakubidde ssimu n’ang’amba nti kirabika bamututte Katwe.
Okutuuka e Katwe nga taliiwo ne bansindika e Kajjansi.
Yagguddwaako omusango ku fayiro CRB 621/10,  ekyewuunyisa akakalu ka poliisi ke baatuwadde tekwabadde  musango gumuvunaanwa!
Nze nkimanyi nti buli lw’oba ng’okulaakulana tewabulawo bakuvuganya, bizze bibaawo naye ng’ekigendererwa kwonoona linnya lyange ne bizinensi. Mu Mityana bammanyi bulungi, era bamanyi gye nvudde naye zino mpalana.
Bwe mba nkuba ebicupuli lwaki nkola bya 3000/- zokka, nfunemu ki?

Rev. Kityo Ssemuyaba
Ono mukozi wa leediyo ya Sun Fa ma ey’e  Mityana. Agamba: Nabadde mpita mu Mityana, waliwo abang’ambye okusoma amawulire ag’okukwatibwa kwa Rose Ssenkusu ku leediyo. Waliwo n’eyankubidde essimu ng’ang’amba nti nga tetubiwulidde ng’obisoma! Kino kyanneewuunyisizza!
Nagaanyi okubisoma kuba nabadde sirina bukakafu nti ddala Rose Ssenkusu baamukutte n’ebicupuli.

Geoffrey Kamugisha
Ono ye yavuze kabangali eyatutte Rose e Kajjansi. Yang’ambye: Twagenze ku dduuka ly’omukyala oyo ne tumwaza era ne tusangamu ebicupuli. Tetwamuguddeko bugwi kuba twali twakola dda okunoonyereza n’abamulumiriza weebali nti y’agaba ebicupuli mu Mityana yonna. Kyokka nze nakoze nga ddereeva era ebisingawo genda ku poliisi e Kajjansi.
Waliwo abasawo b’ekinnansi e Bwebajja abaakwatibwa ne bamulumiriza nga bw’akola ebicupuli, y’ensonga lwaki poliisi y’e Kajjansi ye yamukutte.

Binoga abiyingiramu atya?
Moses Binoga y’akulira ekitongole kya poliisi ekyenjawulo ekirwanyisa ekisaddaaka baana. Rose Ssenkusu bwe yakwatibwa, abaserikle abaamukunguzza okumutwala e Kajjansi baagambanga nti bakolera ku biragiro bya Binoga.
Kyokka Kamugisha oluvannyuma yang’ambye nti Binoga talina nnyo w’abiyingiriramu! “Ffe ab’oku kitebe kya bambega tulina okufaayo okugoberera emisango egy’enjawulo egiba gigenda mu maaso ku poliisi eza wansi era eyo y’ensonga lwaki Binoga alabikira mu musango guno. Naye nga talina kakwate nagwo.

Moses Binoga
Bwe nayogeddeko ne Binoga yang’ambye nti, ‘Abaakutte omukyala oyo tebaali ku biragiro byange wadde nali nkimanyiiko nti bagenze Mityana okubaako bye babuulirizaako era ne bambega abamu bagenzeeyo nga nkimanyi.
Omusango ogwo gunoonyerezebwako ku poliisi e Kajjansi, kye mmanyi nti waliwo abasamize abaali bafera abantu abaakwatibwa n’ebicupuli ne bajuliza omukyala oyo nti y’abibawa!

Ku poliisi e Kajjansi
Akulira bambega ku poliisi eno, Daniel Batte yang’ambye nti, “Abalumiriza Rose Ssenkusu bakuumirwa mu kkomera e Kigo. Twanoonyereza ne tuzuula ebicupuli era twamukutte nabyo mu dduuka lye,” bwe yagambye.
Lwaki temwamututte mu kkooti ate ng’obujulizi weebuli?
Batte yazzeemu: Tulina obujulizi obulala bwe tulina okusooka okufuna okugatta ku buno bwe tulina. Ekirala, waliwo abantu be tulina okusooka okuggyako sitaatimenti n’okusooka okukwata omuvubuka omukyala ono gw’agamba nti ye yaleka akasawo mu dduuka lye.

Omulamuzi agoba omusango
Joseph Balikuddembe, omu ku booluganda era eyabadde mu kkooti e Ntebe ng’omusango gugenda mu maaso yang’ambye nti,  ‘Ku Lwokutaano  omusango gwatwaliddwa mu kkooti e Ntebe. Omulamuzi Flavia Nassuuna Matovu y’aguli mu mitambo, kyokka omuwaabi wa gavumenti ng’amaze okusomera Rose omusango gw’okusangibwa n’ebicupuli bya 3000/-, wamu n’empapula eziteeberezebwa nti zaabadde zaakukola ssente.
Yavunaaniddwa n’abalala basatu okuli Brian Kalungi, Kabonge n’omulala.
Omulamuzi omusango yagugobye ng’agamba nti tagulabamu ggumba. Omulamuzi yagambye nti, ‘Bwe kiba ng’omusango gwaddizibwa Mityana tewali nsonga lwaki guleetebwa e Ntebe? Omusango guno kirabika nga gulimu obutali bw’esimbu!’ era oluvannyuma fayiro n’agisazaamu. 
   
Ebibuuzo
l Lwaki abantu abalala abaasangiddwa mu dduuka ne Rose Ssenkusu tebaggyiddwaako sitaatimenti okukakasa nti ddala waliwo omuvubuka aterese akasawo mu dduuka
l Lwaki Rose baamubuuzizza ku by’obugagga ebirala?
l Lwaki akakalu ka poliisi tekaliiko musango gwe bamuvunaana?
l Mu maduuka gonna mu Mityana lwaki poliisi yalonzeemu lya Rose Ssenkusu?
lLwaki abapolisi tebaamala kweyanjulira Rose nga tebanamwaza, na kumubuulira nsonga lwaki bamwaza?
l Lwaki abapoliisi tebaatuuseeko  mu maka ge nayo ne baazaayo? Bw’aba Rose Ssekusu akola ebicupuli eyo nayo tayinza kubikolerayo oba okubikuumirayo?
l Kisoboka okuba nga poliisi yateze Rose Ssenkusu ebicupuli emukwate olw’okutuukiriza ebigendererwa by’abamuvuganya?
l Bamuggye e Mityana nga bamugambye bamutwala ku CPS, ate lwaki baamututte e Kajjansi? Ani gwe baali baagala okubuzaabuza obutamanya gye bamutwala?
l Lwaki poliisi teyamututte mu kkooti okusooka kyokka n’emuteera ku kakalu kaayo ng’ate baabadde bamukutte n’ebizibiti ebiyinza okumutwaza mu kkooti?
l Mbega wa poliisi omutendeke yeerabira atya okujjuza omusango mu kakalu ka poliisi? Kisoboka okuba nti baali bagezaako kufumbirirayo musango mulala ogulimu omuzinzi?

Ani yapangidde omusuubuzi w’e Mityana ogw’ebicupuli okumufiiriza bizinensi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

Bakutte abavubuka b'oku Kal...

ABASUUBUZI mu lufula y’oku Kaleerwe baloopye akabinja k’abavubuka akabadde n’ebissi nga kigambibwa nti babadde...

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...