TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Nnaziba amaaso naye nze tebandiyirira’

‘Nnaziba amaaso naye nze tebandiyirira’

Added 23rd March 2010

Bano be bantu abangi abaakafiira mu kizimbe mu Kampala bukya bitandika kugwa mu myaka 10.

Kyokka na buli kati, abantu abaafiirwa abaabwe n’okugendera ku bisago batono nnyo abaali baliyiriddwa.
Okunoonyereza kwalaga nti bwali bulagajjavu bwa Musumba Luwagga, KCC n’abebyobulamu obw

Bano be bantu abangi abaakafiira mu kizimbe mu Kampala bukya bitandika kugwa mu myaka 10.

Kyokka na buli kati, abantu abaafiirwa abaabwe n’okugendera ku bisago batono nnyo abaali baliyiriddwa.
Okunoonyereza kwalaga nti bwali bulagajjavu bwa Musumba Luwagga, KCC n’abebyobulamu obwavaako ekkanisa eno okugwa n’etta abantu.

Ekibambulira kino ky’agenda okugwawo ng’Omusumba Luwagga  tali mu kkanisa eno kyokka nga waakubeegattako mangu.
Olukung’aana olwalimu lwali lwa kwanikiramu bannabbi ab’obulimba n’okuvumirira abo abanyaga endiga!

Abalokole baali balujjumbidde kubanga eggulolimu, waliwo olugambo olwali luyise nti mu be bagenda okwanika mulimu Omusumba Sam Kakande ow’ekkanisa ya Synagogue e Mulago ku Bbiri, Godfrey Lule ow’e Nakulabye, William Muwanguzi eyakazibwako ‘Kiwedde’ ne Stephen Ssozi ow’e Kawempe.

Era abamokkola eby’amangu baabyanguya nti kirabika Abasumba be baali bagenda okwanika be baasindika emizimu ne gisuula ekkanisa ekintu ekyasesa ennyo Omusumba Kakande n’abajerega nti ‘Mukama basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola!’

Abamu ku Basumba abaalina okwogera mu musomo guno mulimu Edward Matovu okuva mu Christian Life Church e Mukono, Nekemiya Bamutiire n’Abasumba abalala.

Omusumba Matovu ye yasooka ku kituuti,  n’atandikirawo okulumba Omusumba  Ssozi ng’amuwaako obujulizi.
Aba yaakamala okwogera nga bwe yamala ewa Ssozi emyaka mukaaga enkuba n’etandika okutonnya abantu ng’abantu tebakyawulira. Kwe kuteekako ennyimba ezitendereza, naye kibuyaga n’ayitirira ekkanisa n’egwa.
       
 Ebikwata ku Luwagga
Abamumanyi bagamba nti, yasooka kubeera bbulooka wa takisi ku siteegi e Bwaise, oluvannyma n’afuuka kondakita. Mu 1993 - 1995 yakwana omukazi Sylivia Luwagga, eyali akola mu ssomero lya Happy Hours Nursery School e Bwaise oluvannyuma ne bakola essomero lya Bright Primary School.

 Yakolako mu kkanisa y’Omusumba Joshua Muleefu owa Evangelical Church e Bwaise, kyokka baafuna omubutakkaanya n’avaayo n’adda mu Christian Life Church ey’Omusumba Ssennyonga gyeyava okukola kkanisa eyiye.
Ekkanisa ye we yagwira nga ye kansala wa Nakamiro I ku ggombolola e Kawempe.
       
Pulaani y’ekkanisa
Ng’ekkanisa yaakagwa, eyali yinginiya w’eggombolola y’e Kawempe John Mpambala yalumiriza Luwagga nga bwe yagaana okubalaga pulaani y’ekizimbe kye yali azimba.

“Yatiisatiisa abakozi b’eggombolola nti yafuna olukusa okuva mu ofiisi ya Pulezidenti okuzimba ekkanisa, naffe ne tumuvaako,’ Mpambala bwe yategeeza.

Agamba nti  Luwagga yagaana okukuba pulaani y’ekizimbe n’okugiwaayo ku ggombolola ng’amateeka bwe galagira. Kino kyawalirizza ggombolola okumuyimirizaako okuzimba kyokka ye ekiragiro n’akiziimuula.
lKyokka buuza nti kino bwe kyaliwo, bo abakulembeze ba ggombolola baakolawo ki?
       
Abaakosebwa baaliyirirwa?
Abantu abasinga abaafuna obuzibu baali bapangisa, abamu baasenguka dda mu kitundu. Kyokka be nnayogeddeko nabo tewali yafuna buyambi bwonna kuva ew’Omusumba.     
Abaasinga okukosebwa baali batuuze b’e Kaleerwe, Kawempe ne Kyebando abaali banguyirwa okusabira mu kkanisa ye.         
      
Abaafiirwa bye boogera
Moses Mugalu ow’e Nabweru, yafiirwa  mukyala we Dorothy Mugalu  mu kkanisa eno. Agamba nti mukyala we yali agenze mu kkanisa ku olwo lwokka kuba ye yali asabira mu World Trampet Centre mu Kampala.
“Nagenda okudda eka ku ssawa nga 10:00 ez’akawungeezi nga simulaba. Kyokka emirambo egyasooka okulabika n’ogwa mukyala wange mwe gwali.

Nagezaako okukola kyonna ekisoboka waakiri ndabe nga bandiyirira olw’okufa kwa mukyala wange, naye nakootakoota mu ga lumonde!
Muka Luwagga yansuubiza ossente okusomesa abaana, kyokka bwe nagendengayo ng’ampoleza tebannaba kutereera. Ssaazifuna kati emyaka ena!

Patrick Ssemambo yang’ambye nti, “Nnali mpitiddwa ng’omu ku Basumba abaalina okubuulira mu musomo guno, kyokka ne ku kituuti ssaalinnyako ekizimbe ne kigwa! Ekisenge kyankuba omukono na buli kati gukyannuma.

Sirina kye nnafunayo, nnwanye nzekka okwejjanjaba okutuusa w’ondabira”.

Margaret Namuddu ow’e Nabweru mu Kabira yang’ambye nti, “Enkuba bwe yatandika okutonnya tetwalina kutya nti ekkanisa eyinza okugwa.

Ekisenge kyayiika nga tetulina buddukiro. Mukama w’annyambira ne bannange kwe kuba nti ffe twali tutudde mu kyangaala.
Nnawunga, nga sitegeera bulungi, okuddamu okutegeera nga ndi mu ddwaaliro gye nnamala omwezi gumu. Muwala wange ye yasasula ssente z’eddwaaliro.

Nafuna obuzibu ku bwongo abasawo ne bang’amba nti kye kyavaako amasso gange okufuna obuzibu. Na kati nnina obulumi mu mugongo!

Omusumba Bamutiire, omu ku baali bategese omusomo, yajja n’andaba nga nvudde mu ddwaaliro, n’ansuubiza okunnyambayo ku ssente z’obujjanjabi kyokka na kati nkyazirinda!
  Naziba amaaso kyokka okusooka bansaba emitwalo 16 okugula gaalubindi naye nga sizirina. Wabula abasawo b’amaaso abajja ku ggombolola okujjanjaba amaaso bannyamba ne bazimpa ku  20.000/-. Sikyalina mulimu gwe nsobola kwekolera kuba siddangamu kufuna maanyi n’okutambula sisobola.
Jane Musimenta yasigaza abaana b’omugenzi Caroline Tunomugisha eyafiira mu kkanisa eno. Agamba: Muganda wange yali musawo e Mulago kyokka mu kkanisa ya Luwagga yali  agenzeeyo mu musomo.
Ekizimbe kyamutta n’aleka abaana basatu okuli Phiona Faith, Ivan Muliire ne Dan Mbabazi.
Tunomugisha yalina ennyumba gy’azimba e Nabweru. Olw’okuba ssaalina  ssente zigimaliriza nasalawo okugenda ew’Omusumba Luwagga atuyambeko tugimalirize esasule fiizi z’abaana.
Luwagga yansuubiza okumaliriza ennyumba, n’antambuza na buli kati ssente tazimpanga! Abaana weebali nze nfaabiina nabo!
Phiona Faith, mulekwa wa Tunomugisha yang’ambye nti, “Maama yandeka ndi mu S3 kyokka Mukama annyambye mmalirizza S6. Ssente olumu zibadde zimbula, kati ekinneeraliikiriza za kugenda ku ‘kkoosi’.

Ku LC
Ssentebbe wa Lower Nsooba zooni, David Luutu agamba nti nga Luwagga yaakatandika okuzimba ekkanisa eyatta abantu, yabalabula nti basimye omusingi mumpi ng’ate luli lutobazzi.
“Bo baagenda mu maaso n’okuzimba. Abantu bajjumbira okuyamba abaali ku njega, kyokka wayise emyaka 4 bakyalina ekirango ekibeebaza okudduukirira abantu,” Luutu bwe yagambye.
Abantu bangi bajja wano okwemulugunya nga Luwagga bw’ataabayamba ng’ekkanisa ye ekubye abantu, naye olw’okuba sirina kya kubakolera mbasindika wuwe.

Ebibuuzo
lBantu ki Omusumba Luwagga be yasasulira ssente z’eddwaaliro nga bonna Kalondoozi be yayogedde nabo bagamba nti zaakoma mu bigambo tebaazifuna?

lLwaki abantu balinze ebbanga lino lyonna okwekubira enduulu awantu wonna ng’etteeka libawa omwaka gumu okukikola oba okusirikiranga ddala emirembe gyonna?

lLwaki KCC eyakkiriza Luwagga okuzimba mu lutobazzi nayo teyabaako ky’eriyirira bantu bano?
lOfiisi ya Pulezidenti erina kakwate ki ku kukkiriza Luwagga okuzimba ekkanisa eno eyatta abantu?
lLwaki Luwagga yakkirizibwa okuddamu okuzimba ekkanisa endala, ate nga nayo eri majenjeeke eyinza okuddamu okutta abantu mu ngeri y’emu ng’eyasooka?

lLwaki ebyazuulibwa poliisi ng’enoonyerezza ku kikangabwa kino byakoma mu lipoota, n’etevunaana abantu abangi abaalagajjalira obulamu bw’abantu ne bafa?

Bw’oba olina ky’omanyi ku musango guno n’ebirala by’oyagala tulondooleko weereza obubaka ku 0752628931. Oba wandiika ‘kalondoozi’,  lekawo akabanga oweereze obubaka ku 8338 bw’ola oli ku Zain, utl, Warid oba MTN.

‘Nnaziba amaaso naye nze tebandiyirira’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...