TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bana bavuganya Magulumaali ow’e Kooki gwe balanga olw’omutwe omunene

Bana bavuganya Magulumaali ow’e Kooki gwe balanga olw’omutwe omunene

Added 15th March 2010

Kye bamulanga kyava mu kulonda kwa 2006, Capt. David Matovu bwe yamuwangula mu kakung’unta ka NRM kyokka ye Magulumaali ne yeesimbawo ku lulwe ng’agamba nti baamubba obululu.

Kati abantu bana bavuddeyo okumuvuganya era bonna bagamba nti bagenda kumugolola ettumba alekere awo okwemoole

Kye bamulanga kyava mu kulonda kwa 2006, Capt. David Matovu bwe yamuwangula mu kakung’unta ka NRM kyokka ye Magulumaali ne yeesimbawo ku lulwe ng’agamba nti baamubba obululu.

Kati abantu bana bavuddeyo okumuvuganya era bonna bagamba nti bagenda kumugolola ettumba alekere awo okwemoolera ku bamusinga!

Ekyewuunyisa kwe kuba nti bonna ba NRM, kati buuza nti singa owa DP oba FDC bw’ajja n’asiika bulungi akalimi, NRM esigala wa?
Abamuvuganya mulimu  Kaheru Amos, Resty Tusiime, Mandera Amos ne Kasiiba John. Kati Magulumaali atudde ku nkanaga.
 Kaheru Amos wa, bamuzaala  Kasula mu ggombolola y’e Kyalulangira. yang’ambye nti Kooki ekyali mabega nnyo, Magulumaali gwe baalowooza nti alina ky’anaakolawo alinga eyabalyamu olukwe.

“Amazzi majama, enguudo mbi nnyo sso nga mulimu gwa mubaka okutuusa obwetaavu bw’abantu mu be kikwatako,” Kaheru bwe yagambye.

 Kaheru yeesiba nnyo ku bya Pulezidenti Museveni bye yayogera jjuuzi ng’ali e Lwengo mu Masaka, nti Kooki kalinga akazinga akeetaaga okuyambibwa. Kaheru agamba nti olaba ne Pulezidenti alaba ng’ebyenkulaakulana bwe biri obubi mu Kooki kitegeeza nti Maj. Magulumaali talina ky’akoze.

Kasiiba John naye wa NRM! Yavuganyaako mu 2006, kyokka n’awanduka mu lwokaano Pulezidenti bwe yamusaba wamu ne Magulumaali okulekera Capt. Matovu kyokka ye Magulumaali n’agaana.

Kasiiba kati abadde akola nga kalaani w’olukiiko lwa disitulikiti y’e Rakai ekifo ekyamuweebwa olw’okuva mu kalulu ka 2006.
Agamba nti ye yakkiriziganya ne Magulumaali mu 2011 y’aba avuganya bwe baasisinkana Museveni  kyokka Magulumaali ne yeefuulira muy kiti ng’embazzi. Okubulwa enkulaakulana mu Kooki akisiba ku mululu gwaMagulumaali n’okuba n’omutwe omunene okujeemera abakulu.

Kasiiba mulunzi mu Ssaza ly'e Kooki era alina amaka mu ggombolola y’e Kagamba mu kyalo Kirangira.
Mandera Amos naye azze kulabya Magulumaali nnaku! Alina amaka e Kajju mu ggombolola y’e Kacheera.Y’akola ku nsonga z'abaana n’abakyala mu Ssaza ly'e Kooki.

Yavuganyaako  ku bwassentebe bwa LC III mu ggombolola y’e Kacheera mu  2006 n’awangulwa, kati ayagala bubaka!
Resty Tusiime ye mukazi yekka akyavuddeyo okuvuganya Magulumaali.

Yaliko omumyuka wa Ssentebe wa disitulikiti y’e Rakai mu  2006 okutuuka mu  2008 olukiiko lwa disitulikiti ne lumugoba nti talina buyigirize bumala. Wabula yaddayo n’asoma era yaakamala S6!

Akageli gy’ali omukyala yekka avuganya ku kifo kino abantu b'e Kooki babadde bamwagadde naye abamu bagamba nti ebya Palamenti bijja kumutawaanya. Babuuza nti owa S6 anaateesa ki mu Palamenti?

Mutuuze mu kabuga k’e Buyamba mu ggombolola y'e Ddwaaniro  era  kansala ku lukiiko lwa ggombolola okuva mu 2001.
Maj. Magulumaali naye nno tagenda. Agamba nti bamulwanyisa lwa kwesimbawo mu 2006 nga baali bamugaanyi.
Alina amaka e Kanoni mu ggombolola y’e Lwanda.

Agezezzaako okutumbula embeera ya Kooki, era ye yasaba Pulezidenti okubawa pulojekiti y'amazzi .
Muganzi mu bantu, tagwa mukolo gya kitundu era yatandikawo ekkolero erikola emmere y'enkoko  e Lumbuggu eriwadde abavubuka emirimu.

Bana bavuganya Magulumaali ow’e Kooki gwe balanga olw’omutwe omunene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...