TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Mulamu aguze amayembe n’agasingira abaana bange’

‘Mulamu aguze amayembe n’agasingira abaana bange’

Added 10th March 2010

NNAALONGO atandika bwati: Nnali mbeera wa muganda wange e Namagoma, gye nnalabira omusajja gwe nategeerako erya Sam.
Yatandika okumperereza okumwagala naye muganda wange n’ang’amba nti sikigeza kuba omusajja mufumbo. Naye bwe nasenguka ne mpangisa e Nsangi, naddamu okusanga omusajja ono nam

NNAALONGO atandika bwati: Nnali mbeera wa muganda wange e Namagoma, gye nnalabira omusajja gwe nategeerako erya Sam.
Yatandika okumperereza okumwagala naye muganda wange n’ang’amba nti sikigeza kuba omusajja mufumbo. Naye bwe nasenguka ne mpangisa e Nsangi, naddamu okusanga omusajja ono namperereza buto.

Nnagaana naye olw’okuba ku mulimu  nnali nyinyuka  kiro [ndi muzinyi wa kaliyoki], lumu mba nva mu kaliyoki, ne musanga n’ang’amba antwaleko ku pikipiki. Twasibira mu nju ye n’ankaka omukwano, nakaaba naye sirina gwe nnabuulirako nga mmanyi nti olwo luwedde sso nga nfunye olubuto.

Bwe waayitawo omwezi katono nfe nga ndaba sigenze mu nsonga. Nanoonya omusajja ne mutegeeza wabula yanziramu ekintu kimu nti nkitegedde naye sirina waakukuteeka kati ogira obeera wekka.

Nakacwa abuuza: Kati olwo kiki ekyaddirira? Nnaalongo yasoose kusirika oluvannyuma n’agamba nti byannaku kuba nabeera n’olubuto  okutuusa lwe nnazaala ng’omusajja oyo tampadde buyambi bwonna.

Naye bwe nnali olubuto nategeera ku byama by’Ekika kyabwe.

 Nnakimanyaako nti waliwo muganda w’omwami wange amanyiddwa nga Ssemakula Sam eyali yagula amayembe mbu ne gamulemerera nga gamusaba omusaayi gw’abantu n’asingayo ‘enda y’omwami wange’.

Era nakitegeera nti muggya wange mukyala mukulu yali yaakazaala abaana basatu naye bonna nga bafa bato. Natandika okutya ne ndowooza nti olunaaba okuzaala nga n’abange bafa, era terwali olwo nga nzaala eky’omukisa nazaala balongo, naye bwe nkulimba nti omwami ono yajja okumala abaana! ‘Natoba’ nabo ne mbaawo okutuusa abaana bange bwe baavaamu ne batandika okutuula.

Mukunja abuuza: Kati olwo abaana bakuze, Ssaalongo yabalabako oba bamulamu bo tolina yali akumanyi?

Nnaalongo: Musajja wattu ebintu bizibu, ekituufu bwe nafuna olubuto natandika okubuuliriza ku Kika kye nzaddemu omwana era namanya mulamu wange Tinah Namakula era abaana bwe baatuula, baatandika okundwalirira nga siva mu ddwaaliro, n’endabika yaabwe n’ekyuka.

Jjukira nga nnina okukola mu kaliyoki nsobole okufuna amata gaabwe. Abantu b’oku kyalo baagamba mulamu wange nti abaana mbasibira mu nnyumba era Nnaabakyala yayitibwa olunaku lumu abaana ne banzigibwako mulamu wange Tinah n’abatwala.

Nnagezaako okubannyonnyola nti omwana omu alwalalwala nnyo alina okuba ng’azzibwayo mu ddwaaliro. Ne mbagamba nti mbadde sibalekaawo ate nga lwe mbaleseewo mbalekera baliraanwa bange ne nsobola okunoonya ekikumi, ebyembi tebampuliriza wabula baatwala baana bange.

Nakacwa: Ekyo tekyakutaasa kuba tewalina bulungi buyambi ate n’abalongo tebakulira wabweru, bwe batugamba?
Nnaalongo: Ekituufu kiri nti abaana bange nali njagala mbeere nabo nga bwe mbonyebonye nabo okuva ku lubuto, naye nakireka ne nsaba mukama abakuume yonna gye baali.

Mba ndi awo mukwano gwange n’ang’amba nti Babirye mulwadde nnyo naye tebamufaako ali waka yazing’ama tatambula wadde okwavula.

 Nasitukiramu ne ng’enda ewa mulamu wange kyokka yangoba n’ang’amba sigeza ne nkwata ku mwana kuba yannemerera mu buto.
Nakaaba ne ng’enda ku L.C ne nyinyonnyola nnaabakyala ku ggombolola e Nsangi, yankwata ne tugenda ewa mulamu wange bampe omwana naye mulamu yannyonnyola Nnabakyala nti omwana yannema njagala kuddamu kumusibira mu nnyumba bwe batyo ne bannyima abaana. Waayita ennaku bbiri omwana n’afa.

Nakacwa: Bambi nga kibi! Nnaalongo agenda mu maaso: Naye bwe nkulimba nti bambikira! Mukwano gwange ye yang’amba. Natema omulanga ne ngezaako okubuuza ekyasse omwana wange nga buli omu aseka nti ninga atakimanyi nti baze takuza baana amayembe ga muganda we gabanywa! Nasirika ne tuziika naye nga balamu bange bang’oola. Ekyammala enviiri ku mutwe ng’enda okulaba ku Nakato nga yenna akenenye alinga oluti, nakaaba kuba nategera nti naye agenda kufa. Olwamaliriza okuziika nalinnya mmotoka ne nvaayo.

Ekyannyiiza omukyala Nansubuga eyalumiriza  banzigyeko abaana, yambuuza ng’ankiina nti ‘Nnaalongo tosuze ng’ate olaba ne Nakato mulwadde?’ Ssaamunyega ne nninnya emmotoka.

Oluvannyuma kyannumiriza ne nkubira Ssaalongo ne mubuuza ddala ekimuli ku mutima kyalowooleza Nakato asigaddewo. Yanziramu nti tamanyi. Namubuuza ku bikwatagana n’amayembe agawuuta enda ye, n’anziramu nti ‘oba gabawuuta ne gabawuuta, nze ebyo sibimanyiiko Katonda y’ageze’, nnabireka ne mbikwasa      Mukama.

Mukunja: Kati kiki ddala ekikuluma? Ekinnuma nti ate kati balamu bange bansojja nti nnumiriza muganda waabwe obulogo. Nkikakasa nti mayembe ge gawuuta abaana, ate n’omwana wange eyasigaddewo tebaagala kumumpa kyokka omwoyo gw’okuzaala gunnuma. Nkole ntya?

Mukunja yasazeewo bakubire Ssaalongo  kyokka essimu teyabaddeko, kwe kusalawo emboozi bagyongereko.

‘Mulamu aguze amayembe n’agasingira abaana bange’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...