TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kaazimbirwa bakyala mu 1954, kati ensowera zikawambye!

Kaazimbirwa bakyala mu 1954, kati ensowera zikawambye!

Added 9th March 2010

Ke kamu ku butale obwasooka okuzimbibwa ku mutindo gw’ensi yonna. Kasangibwa ku nkulungo y’e Kibuye wakati w’oluguudo lwa Masaka ne Ntebe.

Kalimu abasuubuzi abasoba mu 10,000 kyokka we kaatandikira mu 1954 nga mulimu 800 abalina emidaala.
Muhamad Nsubuga 55, omukinjaagi mu kata

Ke kamu ku butale obwasooka okuzimbibwa ku mutindo gw’ensi yonna. Kasangibwa ku nkulungo y’e Kibuye wakati w’oluguudo lwa Masaka ne Ntebe.

Kalimu abasuubuzi abasoba mu 10,000 kyokka we kaatandikira mu 1954 nga mulimu 800 abalina emidaala.
Muhamad Nsubuga 55, omukinjaagi mu katale kano era omutuuze w’e Luzira-Mutungo y’omu ku baasooka okukafunamu emidaala.
Ebyafaayo by’akatale

Nsubuga agamba nti awali akatale k’e Kibuye waaliwo lusuku, bakyala ba Kabaka mwe baggyanga emmere gye baaliisanga Abalangira, Abambejja n’abantu b’omu Lubiri lwa Ssekabaka Mwanga II.

Mu 1950 ng’aggwaako, abakyala bano baatandika okutunda ebintu ebitali bimu n’okusingira ddala emmere n’ebibala nga bakolera mu bisiikirize by’emimwanyi n’emiti emirala egyaliwo.

Mu 1960  waaliwo abasajja Abayitale abaali baagala ettaka mu Buganda bakolereko, Ssekabaka Muteesa II kwe kubasaba basooke bazimbire abakyala abo akatale akomulembe. Kaazimbibwa wakati wa Shell n’omuyembe.

Akatale kaggwa mu 1964 era Minisita wa Kabaka mu kiseera ekyo Walugembe ng’ali wamu ne A.D Lubowa be baaliwo mu kukatongoza nga katwalibwa gavumenti y’Obwakaba bwa Buganda.

“Akatale kano bwe kaggulwawo, enkeera ne nfuna omudaala gwange nnamba 04 nga nnyambibwako kojjange. Mu kiseera ekyo nnalina 16 era nga ntema nnyama.

Kano ke katale akasookera ddamu mu ggwanga omuguzi mwe yali asobola okukyama n’agula ebintu byonna by’agala okuviira ddala ku mmere okutuuka mu nnva. Akatale kano kaalimu amazzi, amataala, ekifo awayibwa kasasiro , nga waliwo n’ekkubo eriyitamu ne lituuka mu Ndeeba ekyali kisala ku mugotteko ate nga muntu ayingidde mu katale ng’adda oludda lwa Nateete nga tekimwetaagisa okudda Kibuye.

Obote bwe yalumba Olubiri mu May wa 1966, Gavumenti akatale n’ekawamba ne kassibwa mu mikono gya KCC.

KCC yassaamu emidaala emirala egitali ku pulaani, omujjuzo mu ko ne gweyongera era ne kayonooneka.

Amakubo agakafuluma gaazibwa, emidumu gy’amazzi ne gizibikira n’amataala ne gafa. Ekifo awaali wayiibwa kasasiro ekyali emmanju baakikyusa ne bakizza mu luggya lw’akatale!

 


Museveni bwe yawamba, akatale kano bimu ku buntu ebyasooka okuzzibwa e Mmengo. Mmengo yafuna abagagga okukalabirira nga bw’esasula ssente, kyokka mu 2008, akatale yakabaggyako nga ssente za ttenda tebazisasula bulungi. Baali bababanja obukadde 70.”,  Nsubuga bw’agamba.

Ebivaako obuvuyo mu katale:
Akatale kalimu omujjuzo, abasuuzi  bangi nnyo, abamu bakolera mu nkuubo.

Emidaala mingi gy’akendeezebwa okusobola okufunira abaasuubuzi bano abaali baguziddwa ebifo mu katale kano we banaakolera. Ssente z’empooza zaalinnya, abaali basasula 10,000/- kati basasula 13,000/- buli mwezi.

Ekirala ekitabula abasuubuzi kwe kubagamba okwewandiisa bamanyibwe e Mmengo kyokka nga basooka kusasula  250,000/- mu nteekateeka y’okuddamu okudaabulula akatale.

  Abasuubuzi baagala  empoza ekendeereko, bawe 10,000/-; basseewo okukonda abakulembeze abaggya abanaamanya ebizibu byabwe.

Kaazimbirwa bakyala mu 1954, kati ensowera zikawambye!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....