TOP

Wano omwana we bamukubira ekiyina

Added 2nd December 2009

Abatuuse ku mpaka z’akamalirizo kuliko Diriisa Lukongwa w’e Nalukolongo, Resty Namayanja ne Norah Nakaye ow’e Bweyogerere. ROBERT MUTEBI akutuusaako ebimu ku bibuuzo ebyabuuziddwa mu Ngule.

Kyajja na mukoka ne kiryoka kimera e Ngunda
Kiryo
Akanatta tekabula muga
Akati

Abatuuse ku mpaka z’akamalirizo kuliko Diriisa Lukongwa w’e Nalukolongo, Resty Namayanja ne Norah Nakaye ow’e Bweyogerere. ROBERT MUTEBI akutuusaako ebimu ku bibuuzo ebyabuuziddwa mu Ngule.

Kyajja na mukoka ne kiryoka kimera e Ngunda
Kiryo
Akanatta tekabula muga
Akatiko
Obunaanyuma obulabira ku nyaniriza
Obugenyi
Tutuuse mu lyaffe e Demeezi.
Abulwako w’anywa otuzzi
Weekiina nga ow’ettulu akiika embuga
Nti bakira omwami ayogera nga musimbye abiri    
Ow’ekitiibwa n’ekikye
Mu nnyindo temugenda nnwe bbiri    

Ddamu yee oba nedda
Omutaka kabazzi y’akulira ekika ky’akasimba.
Yee
Abeddira empeewo bayitibwa bazzukulu ba Kyesimba
Nedda
Abeddira Omusu babeera bazzukulu ba Mugalula
Nedda

DDAMU EKIBUUZO

Kabaka Kintu yatandikawo ebika bimeka mu Buganda?
Yatandika 13.
Mu byafaayo bya Uganda waliwo ssemateeka eyawera enfuga ey’ensikirano,yali wa mwaka ki?
Yali wa 1967
Mu Ssemateeka wa 1962 waliwo ebitundu bya Uganda ebyakkirizibwa okuba n’enfuga eya Federo,mpaayo bisatu.
Buganda,Bunyoro ne Tooro.
    
Ddamu kituufu oba si kituufu
    
Kawumpuli bulwadde si Lubaale
Si kituufu
Embuzi nayo eyinza okuba n’obulegete
Kituufu
Ejjembe Namuyinda n’enjuki kizibu okubyawula
Kituufu

Omutaka Mirimu atuula mu ssaza ki
Busiro
Ono ye mutaka we Mbuule
Ssezinnyo
Ono omukyala bw’afumba by’afumba tebiva mu ffumbiro,ow’engeri eno bayinza okumuyita luku lutokota oba….
Banaagenda ddi
Ekikukulu nakyo kyekimu ku bintu omujoona kyeyeenyumirizaamu.Kye ki?
Emmindi eteri mu luseke
Ekisiwo kye ki?
Omuti ogweyambisibwa mu lyaato okutabula mu mwenge
Wano omwana waakubirwa ekiyina.
Mu Ssanya.
    
Tumenyere obubuga 7 mu Uganda nga butandika n’ennukuta M
Masaka, Mbale, Masindi, Mpigi, Moroto, Mukono ne Mubende
Tuwe ebibuga 7 mu Uganda nga bitandika n’ennukuta K.
Kampala, Kabale, Kotido, Kaseese, Kalangala, Kibaale ne Kaberamaido
Tuwe ebibuga 3 nga bitandika n’ennukuta A.
Arua, Adjumani ne Apac.
Pulezidenti Museveni alina Gilbert Bukenya nga Obama ow’Amerika bw’alina
Joe Biden
Pulezidenti Museveni alina Janet Museveni nga Obama bw’alina..
Michelle Obama
Pulezidenti Museveni alina NRM nga Obama bw’alina
DP
Omwana wa Jjajjaawo omuwala osobola okumuyita
Maama oba Ssenga
Mwana muwala oyo mu kweyagala obw’enkoko budda ku bbali,obuki?
Obulago bw’enkoko obutasibwamu muguwa
Bali mu kwagalana emikono gidda ku bbali,emikono gyolesa gitya okwagalana?
Emikono mu kunaaba ogumu gunaaza gunnaagwo.
Langi za bendera ya Uganda ziddiring’anye
Enzirugavu, eya kyenvu n’emmyufu
Nkutadde... (lumaleeyo)
Omuti guta makoola
 Wayinga nnyo okubeera omutaka w’e Ssumbwe. Bw’oba omutaka ono omumanyi, kiki kye weevumwako
Kweyingiza mu bitali bibyo oba ebitakukwatako
Ku bakulembeze abafuga amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika londayo Pulezidenti w’ensi emu  omuwe amannya asatu agage.
Yoweri Kaguta Museveni
Mwattu senga ennyama eyo tugende, olwo bw’obeera  okolaki
Kutema ng’ova ku nsikya n’okiikirira ku lukizi okutuuka ku mukira.
Nakato anaaza mwana kyogero, emboozi eyo ntuufu oba nkyamu, bw’eba nkyamu gitereeze
Nakato anyiga mwana kyogero
Abawanuuza obulungi bagamba nti omwana omuwere bw’aba anaazibwa si kirungi kusookera ku mutwe, olw’okutya nti kino kiyinza okubeerawo, ekiki
Omwana ayinza okuba ow’omutwe omunene
Ente erina kyatiiti ate olwo ye omulyammere;
Kawondoliro
Kikolwa kya kussa nva ku mmere ng’eyisizza akakka, kikolwa ki ekyo
Okuseruza
Nkusalidde ga nkolwa; enkolwa kye ki?
Ge mazzi okugatabikamu omunnyo.

Wano omwana we bamukubira ekiyina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...