TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Omupakasi yakwata omwana wange ow’emyaka 14 kati agwa ensimbu’

‘Omupakasi yakwata omwana wange ow’emyaka 14 kati agwa ensimbu’

Added 26th October 2009

Bino bigambo ebitaliva ku mutima gwa Muky. Margaret Namwanje ow’e Katereke - Maya omupakasi bwe yakwatira muwala we Jennifer Namuleme ow’emyaka 14. Omupakasi yamuwa 100/-!

Namwanje agamba nti, muwala we yalwala omusujja ku mwaka gumu n’akosebwa obwongo era agwa ensimbu. Kitaawe yamu

Bino bigambo ebitaliva ku mutima gwa Muky. Margaret Namwanje ow’e Katereke - Maya omupakasi bwe yakwatira muwala we Jennifer Namuleme ow’emyaka 14. Omupakasi yamuwa 100/-!

Namwanje agamba nti, muwala we yalwala omusujja ku mwaka gumu n’akosebwa obwongo era agwa ensimbu. Kitaawe yamuddukako nga  tamanyi gy’ali. Namuleme teyafuna bujjanjabi kubanga ssente emitwalo 2  ez’ekifaananyi ky’obwongo zaabula! 

“Poliisi bwe yakwata omupakasi ono yantambuza ne nkoowa, nkakasa baamuta dda,” Namwanje bw’agamba.  Namuleme yazadde omwana wa buwala mu September, obuzibu yagaanye okuyonsa era jjajja kati y’agabirira omwana.  Ekibi Namuleme kati agwa nnyo ebigwo ng’ate talina ddagala!
“Ssinga nfuna omuntu n’annyamba okufunira muwala wange eddagala, ebyokulya n’okwambala obulamu bujja kwanguwa”, Namwanje bw’asaba.

Okubabeezaawo bombi  mu mbeera gy’alimu kimwetaagisa okupakasa ku kyalo okufuna ku ssente, kyokka talina gw’abalekera.

Namuleme y’omu ku bawala abangi abalabirirwa ekibiina kya Teenage Mothers’ Centre e Maya. Bonna bali wansi wa myaka 16, abasajja be basobezzaako ne babazaalamu oba okubatuusaako ebisago.
Okunoonyereza okwakolebwa minisitule y’ebyobulamu mu 2006 kwazuula nti abawala 24 ku buli 100 mu Uganda beegatta tebannaweza myaka 15.

Ate ku bano 24 ku buli 100 bafuna embuto, era abawala abali wakati w’emyaka 15 ne 19 bafa bazaala!
Kino okusinziira ku bakugu kiva ku bizibu abawala bano bye bafuna mu kuzaala olw’emyaka okubeera emimpi.

Ab’ekitongole kya Guttmacher Institute  babalirira nti buli mwaka abawala 297,000 baggyamu embuto ze bafuna nga tebeeyagalidde.

Wabula eri abo abatalina busobozi buziggyamu bazaala nabo tebanneeyinza, y’ensonga lwaki ab’ekibiina kya Teenage Mothers’ Centre e Maya babayambako.

Aisha Ndibalekera 16, alina obulemu ku bwongo, wabula era omusajja tekyamulobera kumukozesa ng’ali ewa mukulu we  e Bukulula era n’amufunyisa olubuto. Baganda ba Ndibalekera b’alina abana kuliko muzibe, omulala mulema , n’abasigadde tebategeera bulungi. Talina ssubi lya kuva mu kifo kino  era asaba omuntu yenna alina ky’asobola okumuwa okubeerawo n’omwana we amudduukirire.

Sarah Kokusiima 17, yali abeera ne ssengaawe e  Bunnamwaya gye yasisinkanira omulenzi eyamuwanga ssente ne beegatta n’ekyavaamu lubuto. Ssenga olwakimanya n’amugoba. Yaddukira ku Teenage Mothers’ Centre e Maya.

“Omulenzi takimanyi nti nnafuna olubuto lwe, kyokka kati nnazaala omwana wa myezi ena, nneetaaga obuyambi kubanga sirina kantu ate n’aw’okulaga sirinaayo.

Nsobola okukola emisubbaawa, okutunga engozi z’abaana naye byonna mbiyigidde wano era bannyambye okubaako we mbeera,” Kokusiima bw’agamba.

Wabula alabula abawala obuteeyingiza mu byakwegatta na kuzaala nga tebannatuuka kwesobola kubanga ensi enyiga.

Ye Alice Nannyonjo 14, yali mu P.6 ku St. Paul P.S Kyebando - Nsooba Zooni essajja ne limusobyako ng’ava ku ssomero era yazadde omwana muwala!

 Kitaawe yabagoba ne  nnyina olw’okugaana okuggyamu olubuto.             Nyina yamutwaalira  jjajjaawe e Gomba aba Teenage Mothers’ Centre gye baamuggya ng’ali mu mbeera mbi ne bamujuna.
Nannyonjo ng’amaziga gamuyitamu agamba nti, “Ssizzanga musango era nsaba buyambi nzireyo okusoma n’okubeezaawo omwana wange!”

Muky. Deborah Mirembe, alabirira abaana bano agamba nti, abazadde basaana okukendeeza ku bukambwe eri abaana abafunye embuto. Ate nga bayambiddwa batereera era bw’obeera osobola omwana muzzeeyo asome .

Agamba nti tebalina bya kwambala, kwebikka, eby’okwambaza abaana n’ebyetaago ebirala.
Akulira ekifo kino Muky. Lilian Mwebaza agamba nti, kyatandikibwawo omwaka oguwedde okuyamba abaana abato abagobaganyizibwa bakadde baabwe nga bafunye embuto.  Ssente aziggya mu nsawo ye asobole okuyamba abaana bano okuzaala baleme kuggyamu mbuto n’okufa.

Babasomesa okukola emisubbaawa, okutunga,  okuluka ebyemikono, ebyobulamu n’empisa.   Bababudaabuda okuddamu essuubi oluvannyuma lw’abantu okubalaba ng’ekyenyinyalwa olw’okufuna embuto nga tebanneetuuka.  

Muky. Mwebaza agamba nti ku Lwomukaaga nga October 31 baakuba n’omukolo ku Teenage Mothers’ Centre  e Maya ku lw’e Masaka okubadduukirira  abaana bano n’okulaba bye bakola.
Bakubire ku 0782833081 oba 0414590189.  email:  lilian590827@yahoo.com.

‘Omupakasi yakwata omwana wange ow’emyaka 14 kati agwa ensimbu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Agabye ente 50 n'alangirira...

Essaza lya Kiyinda Mityana lirangiridde kaweefube ow'enjawulo ow'okukulaakulanya abantu mu byenfuna n’ebyobulamu...

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...