Sheikh Haruna Rashid Batuusa Seguya omumanyi mu mateeka g’Obusiraamu n’ebyensi agamba nti, omwezi gwa Sawaali tuguyingiramu olunaku lwe tusiibulukuka nga lwe lwa Idd.
Omwezi gwe gumu guno Omusiraamu yenna eyasiiba mw’afunira empeera gy’akoleredde mu mwezi gwa Ramadhan
Era gwe tusiibiramu ennaku omukaaga ezenkanankana n’okusiiba omwaka mulamba.
Oyo ataasiiba olw’ensonga ezikkirizibwa wano w’asasulira ebbanja nga bw’atakikola limusigalako okutuuka ku lunaku lw’enkomerero.
Jjukira nti mu mwezi gwe gumu Shaitwani abadde yasibirwa ku njegere mu mwezi gwa Ramadhan we bagiteera n’atabaala mu bakkiriza n’abakozesa amazambi. Era bw’otasoma Kulaani empeera z’okusiiba z’ofunye zandikufa nga shaitwani akusudde mu kikemo ky’amazambi.
Empeera gye wakolerera mu kisiibo ogifunira mu mwezi gwa sawaali