TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebbaluwa ya Mmengo eyanukula eya Museveni

Ebbaluwa ya Mmengo eyanukula eya Museveni

Added 6th October 2009

Kabaka n’abantu ba Buganda bakkiriziganya naawe ku bwetaavu bw’okulaba nga Uganda ebeeramu emirembe n’okwegatta bye waggumizza ennyo mu bbaluwa yo.

Era obulumi bwaffe ne bye tusaba omuli federo n’ettaka byonna bigenderedde kulaba ng’eggwanga lyongera okubeeramu emirembe n’obum

Kabaka n’abantu ba Buganda bakkiriziganya naawe ku bwetaavu bw’okulaba nga Uganda ebeeramu emirembe n’okwegatta bye waggumizza ennyo mu bbaluwa yo.

Era obulumi bwaffe ne bye tusaba omuli federo n’ettaka byonna bigenderedde kulaba ng’eggwanga lyongera okubeeramu emirembe n’obumu.

Naffe Abaganda twakola kyokka temutusiima
Tusiima kaweefube wa NRM ow’okulwanyisa bannaakyemalira n’okuzza emirembe n’enfuga y’amateeka mu Uganda, kyokka kituluma olw’okubuusanga amaaso obuwagizi abantu ba Buganda bwe baawaayo mu kaweefube w’okununula eggwanga era n’ebiruubirirwa byaffe enfunda ezisinga ne bisuulibwa ebbali.

Kabaka muwe ekitiibwa
Abantu ba Buganda bennyamivu olw’olulimi olukambwe olwakozeseddwa mu bbaluwa yo n’ebigambo ebyayisiddwa mu mikutu gy’amawulire.

Olw’okuba Ssaabasajja y’entabiro y’ebyobuwangwa n’ennono zaffe, okumulumba oba okulumba gavumenti ye, kikosa ekitiibwa ky’Abaganda bonna. Kino tekikoma ku kunakuwaza wabula era kikosa obumu, obutebenkevu n’enkulaakulana y’eggwanga.

Si kituufu nti Kabaka oba Obwakabaka bwa Buganda beenyigidde mu byobufuzi ebyawula mu bantu, ebimenya Ssemateeka nga bwe wawandiise.

Buganda tekuma mu bantu muliro
Gavumenti ya Buganda tennaba kwenyigirako mu kusaasaanya bulimba, kusekeeterera ggwanga, kukuma muliro mu bantu oba okukuba pokopoko asiga obukyayi.

Buganda erina ensonga nnyingi ezigiruma ezitakoma ku kulwanyisa kubba ttaka, okuzzaawo enfuga eya Federo ne kaweefube w’okuggya abantu mu bwavu.

Obwakabaka bwa Buganda bumaze ebyasa nga weebuli era bulina bye bwetaaga ng’ebimu biyinza okuba nga birina bwe bikwataganamu oba okukontanamu n’ebibiina byobufuzi ebyenjawulo.

 N’olwekyo tekyewuunyisa olumu bwe weesanga ng’ebyetaago bya Buganda ebisinga tebikwataganye na bya NRM. Ekyo ng’okitadde ku bbali, Obwakabaka bwa Buganda tebulina gwe buboola era tebufa ku ndowooza ya muntu mu byabufuzi oba eddiini.
 
Twaniriza buli muntu
Obwakabaka bwa Buganda bufubye okwaniriza bannabyabufuzi ab’endowooza ez’enjawulo e Mmengo; tetukomye ku ggwe wennyini wabula twanirizza n’aba NRM bangi era kino kye tukola ne ku bannabyabufuzi abalala.

Ssaabasajja akimanyi nti buli kibiina kya byabufuzi kyayanirizibwa e Mmengo mu kampeyini z’okulonda okukyasembyeyo era teri gwe twasibira bweru. Si kituufu nti waliwo olukung’aana lw’ebyobufuzi olwategekebwa mu Bulange oba mu Masiro e Kasubi.

 N’olwekyo okusaba Obwakabaka bwa Buganda bwegobeko bannabyabufuzi abalwanyisa Gavumenti, obeera ng’agamba Mmengo etandike okuzannya ebyobufuzi ebyawulayawula mu bantu ba Buganda ate nga kino kikyamu era kimenya ne Ssemateeka.

Ettaka  kikulu nnyo, twagala bwenkanya
Ddembe lya Mmengo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ettaka ng’eyita mu kakiiko akasomesa ku byettaka akassibwawo.

Ettaka gwe mutima gwa Buganda era ky’ekyobugagga eky’ensibo okwetooloolerwa ebyobuwangwa n’ennono era kwe kuva n’amannya nga: Ssaabataka, Abatakansi, Abataka, Obutaka n’ebirala.
Obwakabaka bwa Buganda bulimu abeebibanja ne bannannyini ttaka era bonna batwalibwa Ssaabasajja Kabaka. Abantu abanyigibwa olw’okusengulwa mu ngeri emenya amateeka, n’abanaakosebwa ng’ebbago ly’etteeka ly’ettaka liyisiddwa, abasinga Baganda.

Etteeka nnamba 246 (3) (a) likirambika nti omukulembeze ow’ensikirano yaweebwa obuyinza okukuuma ebyobugagga n’ebintu by’ekitundu ky’atwala ku lulwe n’abantu be ate ekitundu nnamba 26 mu Ssemateeka kiwa omuntu yenna eddembe ku bwannannyini ku kintu kye.

Ssaabasajja  alina ettaka ly’alinako obwannannyini ng’omuntu ate alina n’ettaka ly’alina okukuumira abantu be. Mu mbeera eyo, Obwakabaka bwa Buganda bwe businga okufiirwa bwe waleetebwawo amateeka n’enkola ku byettaka ezitaliimu bwenkanya.

Ettaka teririna we lifuukira nsonga ya byabufuzi ebyawulayawula mu bantu era Kabaka n’Obwakabaka bwa Buganda bulina eddembe okukubaganya ebirowoozo mu lujjudde ku nkyukakyuka zonna eziba zireetebwa nga zikwata ku ttaka mu Uganda era kino bwe kitakolebwa, Kabaka ne gavumenti ye babeera balekeredde omulimu omukulu ogw’ebyobuwangwa n’ennono gwe bateekeddwa okukola.

 Oluvannyuma lw’Olukiiko lwa Buganda okusalawo okusimbira ekkuuli ebbago ly’etteeka ly’ettaka, akakiiko akasomesa ku ttaka aka Central Civic Education Committee (CCEC) kassibwawo okutuuka mu bantu ba Buganda nga kabalaga Obwakabaka we busibidde ku nsonga z’ettaka.

Tewali ngeri yonna kakiiko kano gye keenyigirako mu bumenyi bw’amateeka. Enkiiko zonna ze beetabamu zaggwanga mirembe.

Oweekitiibwa Pulezidenti, tekinneetaagisa kukujjukiza nti ebitundu bya Uganda ebimu bitandise kukozesa lyanyi na kutwalira mateeka mu ngalo mu kugonjoola ensonga z’ettaka.

Lino jjoogo

Kabaka avumirira nnyo eky’okusengula abantu mu ngeri emenya amateeka kubanga kino tekikoma ku kubamalako ddembe lyabwe, wabula era kikontana n’enkolagana ennungi wakati wa nannyini ttaka n’oweekibanja eri mu nnono za Buganda. 

Abantu abasengula abeebibanja ku ttaka bakozesa jjoogo eribadde terirabwangako ku mirembe egy’edda, era bayambibwako ebitongole bya gavumenti ebyenyigira mu buli bw’enguzi ne basengula abantu mu ngeri emenya amateeka. Bano gavumenti be yandisoose okusitukiramu.

Tuwe Ebyaffe bye tubanja

Tulowooza nti Gavumenti teyagala kuddiza Buganda bintu byayo ebyanyagibwa ku mulembe gwa Obote. Ettaka erya mayiro 9,000 n’ettaka ly’embuga z’Amasaza n’amagombolola terinnatuddizibwa. Kikuba ensonyi nti Gavumenti yagaana n’okutuddiza emmotoka eyali eya Ssekabaka Muteesa II ey’ekika kya Rolls Royce!

Twewuunya kati emyaka 14 bukya tteeka erizzaawo obufuzi obw’ensikirano likolebwa, Gavumenti yo esudde muguluka obuwaayiro 26(2) ne 246(3)(a) n’etwetoolooza ng’ekozesa entaputa ya Ssaabawolereza waayo, mu kifo ky’okutuddiza ebyatunyagibwako.
Kubeera kututega ‘kamasu’ bw’ossaawo akakwakkulizo nti okutuddiza Ebyaffe, tumale kukkiriza nkola ya ‘Regional tier’ Abaganda gye baagaana. Abaganda beebuuza, lwaki bateekeddwa kumala kuvunnama ku bintu ebyabwe ate ng’Abayindi ebyabwe byabaddizibwa emyaka mingi egiyise nga tewali kumala kusika muguwa.

Lwaki mwawula mu bantu ba Kabaka?
Okusosola n’okunyigiriza amawanga amalala amatonotono agali mu Buganda kye batusibako si kituufu. Buganda erina likodi y’okwaniriza n’okusembeza abantu b’amawanga gonna era kino kiri ne mu byafaayo.
Buganda emanyiddwa nti tesosola era ekkiririza mu bumu wadde ng’abantu bayinza okubeerako n’ebyobuwangwa ebyawukanamu, wabula bonna babeera bantu ba Ssaabasajja . Buganda ekolebwa amawanga mangi era gassibwamu ekitiibwa kyokka nago era gasuubirwa okussa ekitiibwa mu Kabaka n’obukulembeze bwe.

Ebyokulabirako bingi ebiraga nti Buganda tesosola era kannokoleyo bino; eyali Katikkiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa yali Munyala era yalondebwa enfunda bbiri, Kamuswaga ateredde ntende e Kkooki, Semei Kakungulu naye yali asibuka Kkooki, ate kati bangi abaaweebwa Obwaminisita mu gavumenti ya Kabaka n’abaalondebwa okukiika mu Lukiiko e Mmengo nga si Baganda.
 Ssaabasajja  si musanyufu olw’abatandise okwawulayawula mu bantu ba Buganda nga beerimbika mu kye bayita okubasosola ate nga si kituufu. N’olwekyo Kabaka ate tayinza kubeera mulabe wa kwegatta kwa Bannayuganda oba Abafirika nga bw’ogamba mu bbaluwa yo.

CBS  ogiwaayiriza
Okwawukanako ne by’olumiriza CBS nti esaasaanya obulimba, si nkola ya leediyo eno okuwubisa abantu oba okubakumamu omuliro oba okusosola mu mawanga era tesiga bukyayi eri ba NRM ne Pulezidenti nga bw’ogirumiriza. Pulogulaamu za CBS zonna zigenderera kusitula mbeera z’abantu era zikolebwa mu ngeri etaliimu kyekubiira wa byabufuzi. Ekyokulabirako, ku pulogulaamu ya “Kkiriza oba Gaana” eya buli Lwakusatu, NRM ekiikirirwa bannakibiina babiri.

Amb. Emmanuel L Ssendaula
Ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja

Ebbaluwa ya Mmengo eyanukula eya Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....