TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mayinja acamudde abadigize, Moze ne Weasle babagobye

Mayinja acamudde abadigize, Moze ne Weasle babagobye

Added 12th July 2009


Olwavudde ku siteegi ku ssaawa 4:20, Mayinja n’ayingirawo ng’akooka ‘Abalina ssente’. Yalabye abantu tebacamuka, kwe kujjako ekkooti n’abuuka n’agwa wansi n’agenda ng’abuuza ku bantu olwo ne basituka ne batandika okuzina, okuwanika obutambaala, okumufuuwa ssente n’abamu ok


Olwavudde ku siteegi ku ssaawa 4:20, Mayinja n’ayingirawo ng’akooka ‘Abalina ssente’. Yalabye abantu tebacamuka, kwe kujjako ekkooti n’abuuka n’agwa wansi n’agenda ng’abuuza ku bantu olwo ne basituka ne batandika okuzina, okuwanika obutambaala, okumufuuwa ssente n’abamu okumusitula mu bbanga era yagenze okuvaayo nga kirabika awezezzaayo fiizi z’omwana.

Mayinja yabadde asuddemu essuuti eya kuliimu n’essaati enzirugavu yakubye ennyimba endala nga Tuli ku bunkenke, Africa, Tube Kyakulabirako, Londa nze, Kweka ennamba n’endala nnyingi ng’eno bw’azina abuuka mu bbanga n’okuleekaanira waggulu.

Waasoosewo Dr. Hilderman, Matthias Walukagga eyakubye Katuleppuke n’olulala olulumba abayimbi abaamuvuma n’acamula abadigize, Abamarula Family, Maureen Nantume, Stecia Mayanja, Irene Namatovu, Kusaasira, Kitooke n’abawala ba Obsessions abazze basuddemu obugoye obusoomooza gy’obeera bagenda ku bbiiki kuwuga.

 Oluvannyuma Eagles yonna yakomyewo ku siteegi n’ekuba ‘Landiroodi Twakutegedde’ mwe balumbira ggaayi omu gwe bagamba nti yali abafuukidde nnatabula.

Meddie Nsereko Ssebuliba ne Katongole wa Bukedde Fa Ma be baabadde bakalaabalaba b’ekivvulu. Mesach yasoose n’akuba Walumbe mubbi ne Kanyimbire Omutanda n’oluvannyuma Lutaaya n’akuba Omukisa gwa munno n’olupya ‘Obukookoolo bugeyana  olulumba abantu aboogerera bannaabwe nti ‘akawuka kabayoola’ ng’ate nabo tebeekakasa oba balamu.

Ku ssaawa nga mukaaga, Mayinja yazzeeyo ku siteegi n’akuba ‘Landiroodi’. Abamu ku badigize baabagabidde obutambi bwa bwereere. 

Ekivvulu kino kyabadde kitegekeddwa bulungi nga MTN, Silk Events ne Bukedde Fa Ma abataddemu kaasi era abayimbi bonna abaalangibwa bazze okuggyako Moze Radio ne Weasle bakanyama be baagobye nga kigambibwa nti baabadde ne bawololo bangi.  Mpozzi ne bakanyama obwedda babawa 1000/- ne bakukusa abantu okubatuuza mu bifo by’abakungu.

Waliwo ne bakanyama abaasiiwuuse empisa ne bakwata Fred Maiso amataayi ekyanyiizizza Mesach Ssemakula n’ajjula era katone akube ekikonde kyokka Ragga Dee n’ayingirawo n’abataasa.

Wabula abantu abaasasudde 20,000/- baavuddeyo nga banyiivu olw’okubasibira emabega ne babalemesa okutuuka ku siteegi era kirabika kye ky’agaanyi abantu okucamuka. Ku Lwomukaaga yabadde Mukono ate eggulo Ggaba.

Mayinja acamudde abadigize, Moze ne Weasle babagobye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...