Era mu kwogera kwe, Eriot yatenderezza eggwanga lino okuba n’embooko z’ebyana n’asuubiza okudda abeerewo ekiseera nga bwe yeetegereza abalina ekitone ky’okuzannya firimu. Bino byabadde mu Theatre La Bonita ku Lwokutaano nga Farida Ndausi atongoza firimu ze ebbiri “Before the rain†ne Dangerous Beauty†ze yazannya n’Abanigeria. Abantu ab’enjawulo abanyumirwa firimu z’Ebinigeria beeyiye ku La Bonita okulaba ku bavubuka bano Desmond Eriot ne Tonny Umezi.
Wasooseewo abayimbi abato kyokka ng’abadigize bayomba nga bagamba nti tebazze kulaba bbo. Ku ssaawa 2:30, abategesi baasoosootodde entambi zino era obwedda abawala bwe balaba abazannyi bano nga bakuba enduulu.   Â
  Â
Oluvannyuma bazze ku siteegi nga bwe basala endongo abawala ne bagezaako okugendayo okubabuuzaako n’okwekubya nabo ebifaananyi kyokka nga bakanyama babalemesa. Wano Farida we yaviiridde mu mbeera n’aboggolera abawala  kyokka nabo ne bamutabukira ne bamuvuma okubalemesa okulaba bakafulu bano.
Farida, abubidde Abanigeria n’ayitawo