TOP
  • Home
  • Ssenga
  • DP yakona, nze nnyinza okugizza obuggya mu 2011 - Sebaggala

DP yakona, nze nnyinza okugizza obuggya mu 2011 - Sebaggala

Added 5th July 2009

Agamba nti bw’akubye tooci ku b’asuubira okwesimba ku bwassenkaggale bwa DP akizudde nti y’alina obusobozi n’ensimbi okutwala ekibiina mu maaso n’okukyagazisa Bannayuganda.

“DP kati erina obuwagizi bwa bantu 5 ku buli 100, sso nga NRM erina abagiwagira   75 ku buli 100 mu balo

Agamba nti bw’akubye tooci ku b’asuubira okwesimba ku bwassenkaggale bwa DP akizudde nti y’alina obusobozi n’ensimbi okutwala ekibiina mu maaso n’okukyagazisa Bannayuganda.

“DP kati erina obuwagizi bwa bantu 5 ku buli 100, sso nga NRM erina abagiwagira   75 ku buli 100 mu balonzi. Olwo DP esigadde wa, erina omukisa okutwala obuyinza mu 2011?,” bw’abuuza.

Ayongerako: Nze nzekka mu DP asobola okunoonya obukadde bwa ddoola obutaano mu wiiki emu bwe buba bw’etaagisa okuteeka mu kalulu ka 2011 ku kaada ya DP.

Mu bannange  bonna abaagala okwesimba ku ntebe eno ani alina obusobozi obwo?”

Sebaggala yagambye wiiki ewedde nti egimu ku  mikwano gy’alina egisobola okumuyamba mu by’ensimbi mulimu  Col. Muammar Ghaddafi owa Libiya, Jacob Zuma owa South  Afrika,  Pulezidenti Mubarrak owa Misiri, Uhuru Kinyata ne Raila Odinga ab’e Kenya, Kagame owa Rwanda ne Joseph Kabila owa DR. Congo.

Agamba: Ekizza DP emabega ensangi zino kwe kuba nti abantu baffe mu byalo baggwaamu amaanyi, abakulembeze b’ekibiina tebafuddeeyo kusimba mirandira wansi.

Kino kituusizza NRM okuwangula ebifo 750 nga tebavuganyiziddwa mu kulonda okwakaggwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Bwe nnaamala okulya obukulembeze bwa DP ng’enda kukola kakuyege mu ggwanga lyonna, njagazise abantu ekibiina era mbategeeze biki bye tugenda okusookerako okukolera eggwanga nga Obama bwe yakola.

Sijja kukkiriza bapoliisi oba magye nga tutuuse mu buyinza okuddayo okusula mu buyumba obwo obubaswaza.
 Ne baminisita baakukendeezebwa kitaase ensimbi z’omuwi w’omusolo. abazungu si baakukkirizibwa kuddayo kukola mirimu munnayuganda gy’asobola okukola.

Nja kuteekawo amatendekero ng’omwana afuluma alina ky’asobola okwekolera mu kifo ky’okulowooleza mu kusiba amataayi nga bamusasula 20,000/-.

Wano e Uganda nze munnayuganda nzekka asobola okugenda e Mbarara oba e Ggulu nga sirina Munyankole oba Mucholi amperekeddeko ne nkuba olukung’aana abantu ne bawuliriza.

 Amatendekero gano gaakuzimbibwa mu mitendera esatu nga omwana ne bw’akoma mu gumu aba alina ky’asobola  okwekolera.
Mu 1954 -1960 DP yalina obuwagizi buli wamu, nga buli kifo ng’ekibiina kirina obusobozi okusimbako abantu nga 3 naye ekyewuunyisa mu kiseera kino tetukyasobola kuleeta muntu buli mu kifo okuva ku LC1 okutuuka ku pulezidenti ekitegeeza nti obuwagizi bwaffe buseebengeredde.

Dp ng’etuuse mu buyinza nja kugitunda mu bantu, mbasomese engeri gye bayinza okweggya mu bwavu. Nga kubalaga obutale gye buli, okuzzaawo  ebibiina by’obwegassi ebinaagulanga ebirime era binoonye n’obutale.

Luli we nnaliira obwameeya, nategeeza abantu baffe nti buli omu waakuddangayo eka n’akaveera ng’annyuse. Mu kino nnali ntegeeza nti abasuubuzi naddala ab’obutale baakufuna obw’etwaze kati bwe balwanirira.

Bakyali bato mu nkola eno naye ku mulembe gwange kwe bafunidde obwetwaze buno.

Mu Kampala mbaddemu okuva nga nnina emyaka 13. Mu 1958 nze nnali nkulira abavubuka abaakubanga Abazungu amayinja. Kale nnyinza ntya okulwanirira obwetwaze ne nnemwa okukulembera eggwanga?”
    

DP yakona, nze nnyinza okugizza obuggya mu 2011 - Sebaggala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Nuhu Muzaata otusadd...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...