TOP
  • Home
  • Ssenga
  • DP ekyali ya maanyi, ebulamu kukolera wamu - Lubega

DP ekyali ya maanyi, ebulamu kukolera wamu - Lubega

Added 5th July 2009


Makulu ki  agali mu kubeera n’ekitebe kya DP e Bungereza ne Ireland?
DP  ng’ekibiina kye kimu ku birwanirira demokulaase mu Afrika. Kale ebibiina ebirala ebirina ekigendererwa kye kimu byanguyirwa okukituukako.

Ate ne Bannayuganda bangi  abaludde  e Bungereza


Makulu ki  agali mu kubeera n’ekitebe kya DP e Bungereza ne Ireland?
DP  ng’ekibiina kye kimu ku birwanirira demokulaase mu Afrika. Kale ebibiina ebirala ebirina ekigendererwa kye kimu byanguyirwa okukituukako.

Ate ne Bannayuganda bangi  abaludde  e Bungereza ne bafunayo n’obutuuze  tekibaggyaako kubeera Bannayuganda. Bali eyo naye baasigaza eddiini yaabwe, amawanga gaabwe n’ebibiina by’obufuzi bye bawagira.

Buli lwe wagwaawo obuzibu eka mu Uganda Ettabi lya DP e Bungereza yeekolamu mangu omulimu okukung’aanya obuyambi okutaasa abantu mu Uganda.

Ettabi lyammwe lirimu bammemba bameka?
Bali bammemba  1,500 naye abajjumbize bali 846. Twakola ekibiina kyaffe mu Bungereza ekiyitibwa DP social Club ekikunga Bannayuganda okuva mu nsonda zonna mu Bungereza.

Kino kati kinkolera kakuyege okuwangula entebe y’obwassenkaggale, DP esobole okununula Bannayuganda. Sinnafunayo anneesimbako,  Dr. Luyombya  eyali alaze obwagazi bwe yalaba nga tulina ebigendererwa bye bimu kwe kumpagira.

Tolowooza nti DP kati tekikyali kibiina kya byabufuzi wabula kimeeza ky’abantu kwe boogerera ebibaluma?
Eyo y’emu ku nsonga eyampalirizza  okwesimbawo okukikulembera.  DP kibiina kya byabufuzi era kya maanyi  wano mu ggwanga buli omu kyasuubira okutwala obuyinza essaawa yonna. DP ya maanyi n’okusinga eya Ben Kiwanuka ey’emyaka gya 1950.

Tulwana nnyo  okunyweza n’okulemera ku bigendererwa byaffe. Ate tekiserebye, singa bwe gwali singa abali mu buyinza tekikyaboogeza bwama.

Kiki ekiyinza okubbulula ebibiina byobufuzi mu Uganda?
Bannayuganda balina okumanya kibiina ki ekilumirirwa ensi yaabwe. Edda twalina ebibiina by’obweggasi , byadibizibwa  olw’ebigendererwa by’abantu abatono. Ettaka litundibwa mu bukyamu. Kale buli kibiina  kirwane okulemera ku biruubirirwa byakyo.

DP ekyali ya maanyi, ebulamu kukolera wamu - Lubega

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....