TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Don Canta omusoga bangi gwe babadde balowooza nti mucongo mu Afrigo

Don Canta omusoga bangi gwe babadde balowooza nti mucongo mu Afrigo

Added 1st January 2013

ABAWAGIZI ba Afrigo Band, bbandi esinga obukadde mu Uganda baakulwawo okwerabira omuyimbi ow'ekitone mu bbandi eno eyafudde n'agirekera eddibu eddene.

Bya HERBERT MUSOKE

ABAWAGIZI ba Afrigo Band, bbandi esinga obukadde mu Uganda baakulwawo okwerabira omuyimbi ow'ekitone mu bbandi eno eyafudde n'agirekera eddibu eddene.

Livingstone Ibanda, amanyiddwa nga Don Canta yafa mu kiro ekyakeesa olwa December, 08, 2012 mu ddwaaliro e Mulago. Yalwala mutwe!

Akulira Afrigo Band, Mw. Moses Matovu agamba nti, omuyimbi we yamala wiiki bbiri ng'omutwe gumuluma nnyo, okutwalibwa e Mulago ng’alinga agenda okugwa eddalu!

“Omutwe gwamutandika tuva mu kivvulu ku Obligatto ne tumutwala mu ddwaaliro era n'alabika ng'ateredde kyokka mu kiro ekyakeesa olwa December 8 n’afa.

Amazima tufiiriddwa omuyimbi atazzikawo kubanga abadde agya mu buli mbeera era nga singa akukwatira ku luyimba tojulirira,” Mw. Matovu bwe yagambye.

OBULAMU BWE:

Yazaalibwa Mw. James Ssajjabbi n'omukyala Teopister Nazziwa e Buwongo mu Iganga.

Yasomera Kireka mu Kamuli P/S gye yatuulira ebigezo bya PLE n'oluvannyuma n'ayingira Kyambogo College School gye yatuulira ebigezo bya S.4.

Wano we yakoma n'atandika okuyimba mu bandi ya Tonny Sengo okutuuka mu mwaka gwa 2000 lwe yeegatta ku Afrigo Band.

W'afiiridde abadde ayimba ne Code 9 ne bandi ya Uganda's all-boy, ekibiina kya bakazannyirizi ekya Barbed Wire Thong ekimufudde omuyimbi owomulembe.

DON CANTA MU AFRIGO:

Moses Matovu agamba nti Canta y'omu ku bayimbi abato ababadde baggumiza bandi ya Afrigo.

Abadde muyiiya nnyo era abadde n'ennyimba ezize ze yeeyiiyiirizza ate n'aziyimba era ng'ajjukirwa olw'ennyimba nga Omwana w'Omutoro omuli Sammy Kasule Asante.

“Nkakasa abawagizi baffe bagenda kumusubwa nnyo kubanga abadde abasanyusa nnyo.

Abadde ayimba buli kika kya nnyimba okutandikira ku Jazz, ez'Ekifrika n'ez'ekinnansi era nga tewali ddoboozi limulema era ng'ayimba kumpi buli lulimi era ng'engeri gy’abadde ayimba ennyimba ez’Ekikongo batono ababadde bamanyi nti Musoga.

Don Canta omusoga bangi gwe babadde balowooza nti mucongo mu Afrigo

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...

Mutebi (mu katono) ng’alaga amabwa ku kabina ke.

Abajaasi abalwanyisa envuba...

ABAVUBI babiri ku mwalo gw’e Wanyange mu Ggombolola ye Mafubira e Jinja bakigguddeko, abajaasi abalwanyisa envuba...

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...