TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ali Kitonsa: Ye yasooka okuzannya omupiira ogw'ensimbi mu Uganda

Ali Kitonsa: Ye yasooka okuzannya omupiira ogw'ensimbi mu Uganda

Added 2nd April 2013

ALI Kitonsa nga tacanga kapiira aweneenya mbwa! Okumanya yacanga akapiira, yateebako ggoolo 54 mu mipiira 18 gyokka mu sizoni emu mu myaka gya 1960 mu liigi y’eggwanga!Bya Vivien Nakitende  ne George Bukenya

ALI Kitonsa nga tacanga kapiira aweneenya mbwa! Okumanya yacanga akapiira, yateebako ggoolo 54 mu mipiira 18 gyokka mu sizoni emu mu myaka gya 1960 mu liigi y’eggwanga!

Okumanya kino kyali kyewuunyo, mu sizoni ya 1999, Andrew ‘Fimbo’ Mukasa yateebako ggoolo 45 mu sizoni abawagizi b’omupiira kata bagwe eddalu!

Kale Kitonsa bwe yafudde nga March 24, 2013 buli mwagazi wa mizannyo yabadde mu kiyongobero kubanga by’akoledde omupiira gwa Uganda wamu n’eggwanga tebikolwa mutiitiizi.

Kitonsa y’omu ku bazannyi abaatandikawo ttiimu ya Express mu 1958 ng’ali n’omugenzi  Jolly Joy Kiwanuka. Bwe yannyuka omupiira yasigala awagira express.

Y’omu ku baayamba Uganda okugenda mu mizannyo gya All African Games e Congo Brazaville mu 1964, Uganda gye yakoma mu kibinja.

Ye muzannyi eyasook a okusamba omupiira gw’ensimbi mu ggwanga mu 1969, ttiimu y’e Misiri  eyitibwa Zamalek bwe yamukansa n’awaawaanya eddiba ne mukeerere n’amwenya!

Mwannyina Lazia Nabitaka agamba nti Kitonsa yafudde bulwadde bwa ssukaali ne puleesa, mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa omulundi gwe ogusoose era ogusembyeyo mu bulamu.

Kitonsa bwe yawummula omupiira yasigala aweereza ensi ye mu biti eby’enjawulo. Okuggyako okubeera Minisita w’ebyemizannyo ku Kika kye eky’Emmamba Kakoboza, n’okulwanirira Ekika kino okutuusa lwe kyetongola okuva ku Mmamba Gabunga,  alese atendese abazannyi abawerako ne ttiimu z’omupiira ez’enjawulo.

Okumala eggobe mu kibya, Kitonsa abadde Ssentebe wa zooni ya Kironde mu Ndeeba okumala emyaka 26, okuva NRM bwe yajja mu buyinza mu 1986.

Yazaalibwa ku kyalo Kabula mu disitulikiti y’e Lyantonde mu 1936, mu maka g'omwami Asuman Kitaka eyali  ow’eggombolola  ya  Ssaabaddu- Nyondo ate nga yaliko omulamuzi mu Kkooti ya Buganda. Nnyina ye mugenzi Safina Najjuma.

Yasomera Kalagala Primary ate Siniya yagisomera Kitagobwa SS ne Kibuli SS n’akoma mu J3, gye yava ne yeegatta ku ttiimu ya Express. Wadde abadde Musiraamu, afudde ng’awasizza omukazi omu, Rehema Nantume gwe yawasa mu  1970.

Kitonsa abadde mutongole wa Ssaabasajja, y'omu ku baatandikawo akatale k'omu Ndeeba we bayita ku butaala. Abadde ssentebe alumirirwa abantu era y'omu ku baaleeta pulojekiti eyazimba kaabuyonjo z'olukale n’emyala mu Ndeba,.

Kitonsa yakolako nga munnamawulire mu lupapula olwayitibwanga Posta Express era ng'eno yakolayo n'omugenzi James Mulwana, yakolako ne mu kkampuni ya bbaasi eya UTC ng'omugoba wa bbaasi mu myaka gya 1980.

Yakolako mu kitongole ky'amasannyalaze ekya UEB nga ddereeva  okuva 1984-2009, bwe yawummula olwo n'asigalira okuweereza abatuuze be mu zooni ya Kironde.

Ab'ekika kye eky'emmamba kakoboza baamwogeddeko ng'omulwanirizi w'Ekika kyabwe eyakituusa ku kwetongola.

Bannabyamizannyo abaakulembeddwaamu Julius Kavuma Kabenge, Kitonsa bamwogeddeko ng'omuzannyi atali mwangu wa kuzzikawo olw'ebirungi enfaafa bye yakolera omupiira n'eggwanga okutwaliza awamu. Abatuuze b'omu Ndeeba, Kitonsa baamwogeddeko nga kitaabwe eyabazaala ogwokubiri olw'enkulaakulana gy'alese aleese mu kitundu.

Nnamwandu Rehema  Nantume yagambye nti bba abadde alina omukwano eri abaana be n'abantu b’aweereza.

Kitonsa yaziikiddwa ku kyalo Bwamulamira e Kitagobwa mu Butambala ku Ssande nga 24/03/2013.

Alese abaana 11.

Ali Kitonsa: Ye yasooka okuzannya omupiira ogw’ensimbi mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng’alonda ku muzikiti e Namwezi.

Okulonda bwe kwabadde e Lug...

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi...

Pulezidenti Museveni ng’atongoza ekyuma kye yawa abavubuka mu Kampala okusitula ebyemikono.

Olugendo lwa Gavumenti ya N...

EMYAKA giweze 35 bukya Gavumenti ya NRM ekwata buyinza oluvannyuma lw’olutalo olw’ekiyeekera olwatandika mu mwaka...

Abaana beetaaga okubudaabud...

OKUBUDAABUDA abaana obwongo kati kya nsonga olwa Covid-19 n’okulonda bye tuyiseemu.

Ssebuggwaawo gwe baawangudde.

Ekiwanguzza abanene mu ka m...

Abanene okuli mmeeya w'e Lubaga, Joyce Ssebuggwawo 65, owa FDC bagudde mu kalulu ka Bammeeya eggulo. Mmeeya wa...

Gorret Nanyuzi asoma Top Class ng’ayoza ebintu. Omwana bw’ava buto ng’akola emirimu awaka abeera n’obuvunaanyizibwa.

Ebintu 12 ebiyamba omuto ok...

OMWANA ow’obuvunaanyizibwa y’oyo aweesa bazadde be ekitiibwa ng’akuze olw’ebikolwa bye by’akola ebyobuvunaanyizibwa...