TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebya yunivasite y'e Luweero bizzeemu okusika omuguwa

Ebya yunivasite y'e Luweero bizzeemu okusika omuguwa

Added 17th August 2013

Nadduli yalagidde Polof. Kateregga abale byonna bye yateeka ku ttaka lino amuliyirire amuviire, asigale mu matabi ge e Masaka, Mutundwe, Gaba ne Jinja.


 

 

 

 

 

Bya DICKSON KULUMBA NE SAMUEL KANYIKE

OBUTAKKAANYA wakati wa ssentebe wa disitulikiti y’e Luweero, Hajj Abdul Nadduli ne Polof. Badru Kateregga ku nsonga y’enzirukanya y’ettabi lya Kampala Yunivasite erisangibwa e Nakyewa mu Luweero bweyongedde, Nadduli bw’alagidde Kateregga okwamuka ettaka lye bunnambiro adde gye yava ng’amulanga kumenya ndagaano gye baakola.

Nadduli yalagidde Polof. Kateregga abale byonna bye yateeka ku ttaka lino amuliyirire amuviire, asigale mu matabi ge e Masaka, Mutundwe, Gaba ne Jinja.

Yagambye nti agenda kuwandiika abayizi bapya, abasomesa n’abakozi ng’ettendekero lino limuddidde kyokka n’agamba omuyizi ayagala wa ddembe okusigala.

Nadduli nga ye ssentebe w’olukiiko lw’abaatandikawo yunivasite y’e Luweero e Nakyewa erisangibwa mu ggombolola y’e Katikamu e Luweero oluvannyuma eyafuulibwa Kampala Yunivasite bwe batta omukago ne Polof. Kateregga mu 2008 yategeezezza nti Kateregga alemeddwa okutuukiriza endagaano ze baakola.

Mu bye yanokoddeyo mulimu okuzzanga obuggya endagaano oluvannyuma lw’emyaka esatu nga kati giweze emyaka etaano nga tezzibwanga buggya.

Ekipande ekikadde ekiriwo.

Mu ndagaano eno Nadduli agamba Kateregga yali alina okubasasula 50,000/= ku buli muyizi buli mwaka ky’ataakola nga kati bamubanja obukadde 240 ku bayizi 2,400 b’alina.

“Twatandika ekintu kyaffe kwekulaakulanya n’ekitundu kyaffe naye omusajja akyefuze n’endagaano agaanyi okuzizza obuggya n’atuuka n’okutugobaganya mu kifo kye twazimba ssaako okutukuba mu kkooti nga tulwanirira ekintu kyaffe”, Nadduli bwe yalaajanye.

Kyokka aba Kampala Yunivasite bamusekeredde nti nsaalwa y’emwogeza ebyo kuba yunivasite yali emulemeredde ne bagiggala kwe kumuyita olw’obukugu bwe n’agimukwasa aleme kuswala mu bantu n’abayizi abawera 40 be yalina, kati alaba etinta.

Munnamateeka wa yunivasite eno, John Kabagambe yategeezezza nti Nadduli by’aliko bya butaliimu era yeeteeka mu butaala n’aleka badayirekita abalala, ng’ate n’ensonga z’ayogerako ziri mu kkooti era nti ayagala kuyita mu mawulire pulezidenti asobole okumuwulira abatabaganye ne Polof. Kateregga ku kintu ky’amanyi nti kyamuva dda mu ngalo.

Yayongeddeko nti Nadduli okufubutuka n’agenda ewa minisita w’ebyenjigiriza bamuwe chatta kya kumala budde na kubuzaabuza bayizi, bazadde baabwe na basomesa kuba Luweero yunivasite baagiggala ng’emulemeredde.

Ekipande kya Nadduli kye yatimbye.

OBUZIBU WEBUVA
Hajj Abdul Nadduli yatandika Luweero Yunivasite mu 2007 kyokka n’eggalwawo mu mwaka gumu ab’akakiiko k’ebyenjigiriza ebyamatendekero aga waggulu era mu 2008 yatuukirira Polof. Kateregga owa Kampala Yunivasite ne bategeeragana mu ndagaano Kabagambe gye yagambye nti kyakkaanyizibwako emale emyaka esatu.

Mu ndagano bakkaanya nti emyaka esatu nga giweddeko, buli omu agenda kutwala ebintu bye yalina nga tennatandika.

Ebbanga bwe lyaggwaako obutakkanya we bwatandikira Nadduli ng’ayagala obwannannyini bumuddire.

Badayirekita abalala Nadduli be yali nabo kuliko Godfrey Kiwanuka, Paul Kikonyogo Kuweebwa, Micheal Lukwago, Dika Kaweesa ne bammemba abalala.

Kabagambe mu kiseera kino nga y’addukanya emirimu mu Yunivasite olwa Kateregga okubeera emitala w’amayanja, yannyonnyodde nti Nadduli yali yazimba ekizimbe kimu mwe yali atandise okusomeseza abayizi, ng’ate yali yakiteeka mu kifo awali wataamuweebwa kuzimba yunivasite.

EBY’ETTAKA AWAANZIMBIBWA
Omutuuze e Nakyewa kati omugenzi Dr. Nondo ye yawaayo ettaka kuzimbweko yunivasite kyokka Kabagambe yagambye nti Nadduli ate bwe yatandika okuzimba, yazimba walala na bwekityo Polof. Kateregga bwe yayingirawo n’atunulira ensonga zino, n’asalawo okugula ekifo awali ekizimbe Nadduli kye yazimba.

Aba yunivasite nga bawandiika abayizi abapya.

“ Tutadde ebizimbe n’enkulaakulana ewera mu kitundu kino byonna nga tubikoze
n’ensimbi era omuntu tayinza kusituka olunaku lumu nti tuveewo kubanga byonna
tubadde tubikola mu mateeka,” Kabagambe bwe yakkaatirizza.

Enkaayana bwe zaawanvuwa ensonga omubaka wa pulezidenti e Luweero Paul Lubowa n’aziyingiramu kyokka Nadduli yazibuukamu ng’agamba tezirina kye zigenda kumuyamba.
Bo abatuuze okuli ne ssentebe w’eggombolola y’e Katikamu, Samuel Sserunjogi basabye Polof. Kateregga ne Hajj Nadduli okutegeeragana kubanga tebaagala kufiirwa ttendekero lino okuva mu kitundu kyabwe.

Haji Nadduli naye ali mu kuwandiisa abayizi, bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yagambye nti tebeeraliikirira we banaasomera era ebiddako ajja kubibabuulira ng’ate yo e Nakyewa okusoma kugenda mu maaso.

Ebya yunivasite y’e Luweero bizzeemu okusika omuguwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.