TOP
  • Home
  • Emboozi
  • WAKISO: Buli amansa kasasiro asibira mu kkomera

WAKISO: Buli amansa kasasiro asibira mu kkomera

Added 7th October 2013

WAKISO Town Council egatta embeera ez''ekibuga n''ez''omu kyalo. Bwe twatuuseeyo twakizudde nti abantu baamu tebakiraba ng''ekya bulijjo okuba nga embuzi, ensiga n''enkoko bitaayaayiza mu kibuba ekiramba!



Bya ROGERS KIBIRIGE

WAKISO Town Council egatta embeera ez'ekibuga n'ez'omu kyalo. Bwe twatuuseeyo twakizudde nti abantu baamu tebakiraba ng'ekya bulijjo okuba nga embuzi, ensiga n'enkoko bitaayaayiza mu kibuba ekiramba!

Mu bitundu ebimu, omuddo guduumuuse, abantu abasinga (56 ku buli 100) bamanyi kaabuyonjo z'ekibuga we ziri, naye ziri ku buseere ate njama nnyo!

Aboobuyinza okukwatanga abakyafu ne babatwala mu kkooti ne bavunaanibwa kye kibadde kiyambye Wakiso Town Council okuba ekibuga ekiyonjo bw'ogeraageranya n'ebibuga ebirala.

Aboobuyinza nga bali wamu n'ab'ebyobulamu balawuna ekitundu nju ku nju era ng'abasuubuzi n'abatuuze abasangibwa nga bakyafu oba nga bamansa kasasiro buli we basanze bakwatibwa ne bavunaanibwa.

Embeera eno etiisa abantu bangi nga buli omu atya okugwa ku kyokya era abatuuze mu kitundu buli omu mbega wa munne ku kikwatagana n'okukuuma ekibuga kyabwe nga kiyonjo.

Akola nga Town Clerk w'ekibuga kino, Muganga Basammulekkere agamba nti Wakiso Town Council yatondebwawo mu November wa 2000 ng'ekutulwa ku ggombolola ya Mumyuka Wakiso oluvannyuma lw'okutondawo disitulikiti y'e Wakiso ng'ekutulwa ku Mpigi.

Ekibuga ky'e Wakiso kiteeberezebwamu abantu 37,406 abasangibwa mu byalo 16 n'emiruka omusanvu okuli ogw'e Kisimbiri, Namusera, Kavumba, Mpunga, Gombe, Kasengejje ne Naluvule.

Naye lwaki kaabuyonjo njama nnyo?

Bajeti y'ekibuga kino ey'omwaka gw'ebyensimbi 2013/2014 ya kawumbi kamu n'obukadde 400 nga ku zino 16,420,000/- zigenda kukola ku byabuyonjo, okuli okusomesa abantu n'okubakwasisa amateeka g'ebyobuyonjo.

Ate 29, 800,000/- za kukuuma na kutumbula butonde bwa nsi n'okuyoola kasasiro mu kibuga olwo kyeyongere okutemagana okusinga bwe kiri kati.

Muganga yayongeddeko nti wadde Town Council terina bipipa wakung'aanyiza kasasiro kyokka baateekawo ekiragiro ekikakali ekiragira abantu obutamala gamansa kasasiro era nga buli muntu ateekwa okukungaanyiza kasasirowe mu kakutiya ng'abamuyoola buli lunaku mwe bamusanga.

Omuwanika wa Wakiso Town Council, Isaac Mukisa agamba nti mu kiseera kino tebalina ttaka we bayiwa kasasiro era nga kino kye kyabawaliriza okukwatagana ne KCCA okusobola okuyiwa kasasiro e Kiteezi.

Mu mbeera nga Town Council terina nsimbi zimala kuyoola kasasiro, buli muntu asasulira kasasiro we eri ttiimu y'omupiira eya Wakiso United gye bawa ttulakita ya Council olwo ne bagenda nju ku nju nga bwe basolooza kasasiro mu batuuze.

Ekibuga kino kirina kaabuyonjo z'olukale bbiri zokka ng'emu yazimbibwa mu ppaaka ya takisi ate eyookubiri esangibwa mu katale era nga zaakusasulira 200/- buli lw'ogendayo.

Wadde ng'ekitebe kya disitulikiti y'e Wakiso kisangibwa mu Wakiso Town Council, ekibuga tekirina bipipa na mmotoka eyoola kasasiro okuggyako ttulakita eyabaweebwa Gavumenti gye bakozesa okumutambuza okuva mu bantu okumutwala gy'ayiibwa.

Mukisa yategeezezza nti basanze okusoomoozebwa olw'abantu abasiiwuufu b'empisa abeeyambisa obudde bw'ekiro olwo ne basitulira ebisawo bya kasasiro okuva mu maka gaabwe ne bamuyiwa ku nguudo z'ekibuga era nga bano yalabudde okubakolako.

Wadde ekibuga bagezaako okukioyonja, naye embeekuulo ekirimu eva ku mmotoka, bodaboda, ab'ebidongo n'abalanga ebyamaguzi nayo efuula ekibuga ekizibu okubeeramu.

WAKISO: Buli amansa kasasiro asibira mu kkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.