TOP
  • Home
  • Emboozi
  • GULU: Ssente ziraga wa ekibuga okufaanana ng''ekisinde ky''ente?

GULU: Ssente ziraga wa ekibuga okufaanana ng''ekisinde ky''ente?

Added 31st October 2013

GULU kibuga ekirimu abantu 154,300 okusinziira ku mbalira y’omwaka 2002. Wabula oli bw’akiyita ekibuga ekyabula ayinza obutaba mukyamu, tebalina mazzi mayonjo sso nga n’emidumu ekigitwala kazambi nayo embeera yaagyo eyungula ezziga.



Bya Stephen Ssenkaaba  ne Patience Aber

GULU kibuga ekirimu abantu 154,300 okusinziira ku mbalira y’omwaka 2002. Wabula oli bw’akiyita ekibuga ekyabula ayinza obutaba mukyamu, tebalina mazzi mayonjo sso nga n’emidumu ekigitwala kazambi nayo embeera yaagyo eyungula ezziga. Egimu kazambi gimutwalira bweru n'asaasaana mu nguudo z’ekibuga.

Okugezaako okutangira kazambi mu kibuga, abantu abamu balina ttanka z’omu ttaka mw’akung’aanira ate abalala bali ku nkola y’emidumu egitambuza kazambi mu kibuga.

Ng'ogggyeeko eky’enguudo ezimu obutabaamu koolaasi, n’ezo entono ezaakubibwa zonna zijjudde binnya. Mu kibuga n’ezo ezidda mu byalo zonna ziri mu mbeera mbi ddala.

Meeya w’ekibuga kino, George Labeja agamba nti, ekibuga ebizimbe ebirimu byonna bikaddiye, pulaani yaakyo nkadde nnyo yakubwa ku mirembe gy’Abazungu. Emidumu gyabika buli nkuba lw’etonnya ennyingi kazambi n’abuna ekibuga.

Ebizimbe bikadde, enguudo zijjudde agannya.

“Emidumu gya kazambi egiriwo kati mitono ddala nga gya yinsi za mirimita 4, wabula tusuubira okufuna obuyambi okuva mu Girimaani tuzimbe emidumu emipya emigazi obulungi’ Labeja bw’agamba.

Wadde nga balina ebipipa mwe basuula kasasiro, naye era mwattu tebimala. Mu kibuga mulimu n’abantu abamu abagamba nti tebalabanga ku bipipa musuulwa kasasasiro.

Omu ku bakulembeze mu kibuga kino, yagambye nti Gulu alimu ebipipa omusuulwa kasasiro nga 10 era nga kasasiro ayoolebwa buli lunaku n’atwalibwa ne bamwokya.

Okusuula kasasiro Gulu nagwo gwafuuka muze, abantu 70 ku 100 bakkiriza nti balaba abantu nga bamansa kasasiro mu kibuga okusinziira ku kunoonyereza kwaffe.

Era abantu 6 ku buli 100 bokka be bakkiriza nti beenyigira mu mirimu egiyambako okukuuma ekibuga nga kiyonjo.

Laba ekibuga eky'abantu emitwalo 15 bwe kifaanana.

Kaabuyonjo
Kaabuyonjo eziri mu kibuga nazo njama, era abantu abamu wadde nga bakkiriza nti bamanyi kaabuyonjo z’olukale eziri mu Gulu we ziri naye era batono abazikozesa kuba batya okusasula 250/- okuzeeyambisa.

Gulu kibuga ekijjudde ensiko, bwe giba misota abaayo bayinza obutagiwona. Abantu 82 ku buli 100 bakkiriza nti ekibuga kyabwe kyazika era ne kibulako assaawa!

Wabua n’abasimba emiti mu kibugfa kino tebamanyi kugisalira gyonna bagireka ne giduumuuka.

Wadde nga kibuga, naye era abantu ente n’enkoko balundira muli era bw'oba otambula oziraba nga zitaayaaya.

Bye beenyumirizaamu
“Ku mbalirira ey’obuwumbi 42, obukadde 72 buweebwayo okutumbula obuyonjo n’embeera z’abantu mu mwaka 2013/14.

Era tusuubira okuyisa etteeka erigaba ekibonerezo eri abantu abajamawaza ekibuga ne bawa engassi’ Labeja bw'agamba.Okusomesa bannyini bizimbe okuba n’ebifo oba ebipipa omusuulwa kasasiro.

Okupangisa abantu ab’enjawulo okussaawa n’okulongoosa ekibuga n’ebirala bingi ebikolebwa okulaba nga bakuuma ekibuga nga kiyonjo

GULU: Ssente ziraga wa ekibuga okufaanana ng''ekisinde ky''ente?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....