TOP
  • Home
  • Emboozi
  • LIRA: Kigasa ki abaayo okunyirira ng'ekibuga kyabwe kijama nnyo?

LIRA: Kigasa ki abaayo okunyirira ng'ekibuga kyabwe kijama nnyo?

Added 1st November 2013

BW’OTUUKA mu kibuga Lira obugaali be baana baliwo. Ku nguudo zonna eziyingira n’okufuluma ekibuga bwe butikka ebyamaguzi n'okusaabaza abantu!



Bya Stephen Ssenkaaba

BW’OTUUKA mu kibuga Lira obugaali be baana baliwo. Ku nguudo zonna eziyingira n’okufuluma ekibuga bwe butikka ebyamaguzi n'okusaabaza abantu!

E Lira, obugaali n’ekivundu ky’emmere eyiibwa mu kibuga bye bikwaniriza. Kyewuunyisa nti abasajja n’abakazi bambala ne banekera, naye ng'ekizibu kya kasasiro tebakiraba.

Abantu mu Lira oyinza okugamba nti baakola empalana n’obuyonjo, anti kasasiro yafuuka ekiwempe okutambulirwa n’obubi okumasimbwa okumera omuddo omwekweka emmese okwetoloola ekibuga ekitadde obulamu bw’abannakibuga mu katyabaga.

Okusinziira ku kunoonyereza kw’ekitongole kya Uganda Bureau of Statistics mu 2012, olukiiko oluddukanya ekibuga kino lwayoola loole 40 zokka mu kibuga kyonna ekirimu abantu 112,100. Kino kitegeeza nti ekipipa kya kasasiro kikozesebwa abantu 2,903 bokka.

Mu kibuga mulimu obutale busatu kyokka bubiri bwokka bwe bulina ebipipa bya kasasiro.
Mw. Geoffrey Obote, omuwandiisi w’akakiiko akavunaanyizibwa ku mirimu n’ebyekikugu mu Lira, agamba nti abaaweebwa omulimu gw’okwera enguudo tebasoboloa kukola bulungi mulimu gwabwe olw’obutaba na bikozesebwa.

Emmanju kijama nnyo.

Ebimotoka ebirina okukung’aanya kasasiro atwalibwe gy’alina okuyiibwa tebitera kuba na mafuta. Mu ngeri y’emu obutafaayo n’obulagajjavu bw’abantu okumala gamansa kasasiro, obubi, obuveera n’obupiira obukozeseddwa bijjula ekibuga.

Ekibuga kyayisa embalirira ya buwumbi 21 mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014 nga ku zino obukadde 43 bwe bwassibwa ku buyonjo.

Zino zaayongezeddwaako okuva ku bukadde 32 ezaayisibwa mu mwaka oguwedde olw’eyongera bw’obungi bw’abantu.

Mw. Maurice Odung Omara, meeya w’ekibuga kino agamba nti ssente zino ezimu zaafunibwa kuva mu bantu ate endala ne ziggyibwa mu bagabirizi.

Okusinziira ku lipoota y’alondoola ebyobuyonjo, abantu 10 ku buli 100 bokka be bakozesa kaabuyonjo z’amazzi.

Wadde nga waliwo kaabuyonjo za lukale mu kibuga, abantu bakyeyamba mu nsiko, ku nguudo ne buveera olwo ne bamansa mu kibuga kyonna ekikireka nga kikyuma ate nga waliwo ebitundu eby’enjawulo ebiduumuusemu omuddo.

Ebimuli n’emiti tebifiiriddwaako okulungiya ekibuga ate nga n’ebisolo byegiriisa mu kibuga awatali abikuba ku mukono.

Ekibuga Lira kirina akiteekerateekera omu yekka, anoonyereza ku byobulamu, yinginiya, akola ku nsonga z’ettaka, ow’ebyenjigiriza, akola ku nsonga z’obutonde ekitegeeza nti kirina abakugu batono okuteekerateekera abantu abasoba mu 100,000.

Okusinziira ku meeya Mw. Maurice Odung, ekibuga Lira kyongedde okulongooka bw’okigeraageranya n’emyaka egiyise olwa kaweefube w’abakulembeze okufuba okukolagana n’abatuuze okulaba ng’obuyonjo butumbulwa.

“Tukozesa amawulire naddala leediyo okusomesa n’okutegeeza abantu ku ngeri y’okutumbula obuyonjo n’obuvunaanyizibwa bwabwe okukuuma ebitundu mwe bakolera nga biyonjo.

Mu kiseera kino twasobodde okugulayo ekimotoka ekinyiga kasasiro mu kumutikka ekitegeeza nti kisobola okutikka kasasiro awerako okuyamba mu kuyooka kasasiro ono aggwe mu bantu yonna gy’abeera akung’aanyiziddwa.

Era tuyisizza amateeka agakwata ku buyonjo agasaawo omutindo gw’obuyonjo ogwetaagibwa era nga omuntu yenna asangibwa ng’amala gamansa kasasiro avunaanibwa mu mbuga z’amateeka.

Ekibuga Lira bwe kifaanana.

ENTEEKATEEKA Z’OMU MAASO
Meeya agamba nti baalina enteekateeka y’okwawula kasasiro ono okusobola okubaako by’akolebwamu kyokka olw’okubulwa ssente enteekateeka yagwa butaka kyokka waliwo enteekateeka y’okugizza obuggya.

"Tugenda kusaawo enteekateeka gye tugenda okutuuma “Kuuma ekibuga Lira nga kiyonjo”, mwe tugenda okussaawo ennaku buli mwezi abantu bonna mwe bakolera awamu okuyonja ekibuga mu ngeri ya bulungibwansi.

Tugenda kwongera okutumbula obuyonjo mu maka g’abantu nga tugenda tubakyalira okubasomesa n’okubakubiriza okukuuma obuyonjo.

LIRA: Kigasa ki abaayo okunyirira ng''ekibuga kyabwe kijama nnyo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....