
Bya Ahmed Mukiibi
MAJOR Rubaramira Ruranga yayabulidde FDC, ne yeesogga NRM oluvannyuma lw’okusisinkana Pulezidenti Museveni mu kyama ne bakkiriziganya.
Munnamagye ono yali omu ku baatandika ekibiina kya Roferon Agenda mu 2001 ne FDC mu 2004 ng’ali ne Dr. Kiiza Besigye n’abalala bwe baava mu NRM era abadde alumba NRM ne Pulezidenti Museveni ng’avumirira obuli bw’enguzi, effuga bbi n’enkola ey’omwana waani mu Gavumenti, kyokka bwakedde lumu n’alaba ne yeekyusiza mu kiti ng’embazzi, kati ali munda mu NRM.
Tukuleetedde bannabyabufuzi abalala abaabulidde ebibiina byabwe ne beesogga NRM oluvannyuma lw’okubaako ddiiru ze bakutula ne Pulezidenti Museveni n’abakungu ba NRM abalala era abasinga bafunye emirimu mu Gavumenti bali ku musimbi bafuna.
Joseph Luzige
Luzige yasala eddiiro mu 1998 ne yeegatta ku NRM ng’asuulawo ekibiina kya UYD kye yali akulira nga ssentebe ebiseera ebyo.
Ekibiina kya UYD, Luzige ng’ali ne bavubuka banne okuli Machael Mabikke, Dr. Lulume Bayiga, Rose Namayanja, Kenneth Kakande, Sam Ntale n’abalala baakitandikawo okubugiriza DP era kyali ku mwanjo nnyo mu kulonda kwa 1996 bwe kyayiggira Dr. Paul Kawanga Ssemogerere akalulu.
Wabula NRM yatokota Luzige nga yeeyambisa obukodyo bwonna era okukkakkana ng’alabye ‘ekitangaala’. Nga yaakasala eddiiro, Luzige yasooka kuweebwa mulimu mu ofiisi ya Pulezidenti n’oluva-nnyuma n’ayingizi - bwa mu kitongole ekikessi ekya ISO.
Wabula mu kiseera kino, takyalina mulimu mu gavumenti, yeekolera bibye nga Munnamateeka.
Maria Mutagamba;
Ye yakulira kampeyini za Dr. Paul Kawanga Semogerere mu kulonda kwa 1996 era yawa Pulezidenti Museveni akaseera akazibu mu kampeyini za 1996.
Mu kiseera ekyo Mutagamba ye yali Ssaabwandiisi wa DP wabula kampeyini za 1996 bwe zaggwa, enkambi ya DP yaggyamu entabukatabuka olw’amabanja ga kampeyini, kkampuni ya Celtel n’efunza Muky. Mutagamba ng’emubanja ssente ez’amasimu ge yakuba mu kampeyini kyokka DP ng’ekibiina tekyamuyambako era ebintu bye ne biboyebwa.
Mu 2000, Mutagamba yatendewalirwa n’asala eddiiro okuva mu DP ne yeegatta ku NRM, Pulezidenti Museveni n’amuweerawo obwaminisita, kati emyaka 13 nga minisita era omubaka owa Palamenti omukazi owa Rakai ng’ali ku tikiti ya NRM.
Rose Namayanja Nsereko
Y’omu ku baatandika UYD ng’ali ne ba Luzige era yali wa mutawaana nnyo ku kazindaalo nga bw’ayogerera Gavumenti tobeerawo wabula yakyuka lumu n’asuulawo DP ne yeegatta ku NRM.
NRM agifunyeemu ebirungi bingi; yaakalondebwa ku bisanja bibiri ng’omubaka omukazi owa Nakaseke ku ttikiti ya NRM era ye Minisita ow’ebyamawulire n’olukung’amya eggwanga.
Sarah Muwonge Nkonge:
Ku lunaku olw’ameefuga ga October 9, 2001 e Kololo, Sarah Nkonge yawuniikiriza abawagizi ba DP bwe yasala eddiiro ne yeegatta ku NRM , Pulezidenti Museveni n’amwaniriza mu bbugumu ery’amaanyi.
Nkonge ye yali omumyuka wa Meeya wa Kampala wakati wa 1998 ne 1999 nga yalondebwa Alhaj Nasser Sebaggala era ebbanga Sebbagala lye yamala mu kkomera mu Amerika, Nkonge ye yali Meeya wa Kampala okutuuka mu June 1999, Sebaana Kizito eyalondebwa okudda mu bigere bya Sebaggala lwe yamusuula.
Nga yaakeegatta ku NRM, Nkonge yaweebwa ekifo mu ofiisi ya Pulezidenti ng’omuyambi wa Pulezidenti okutuuka mu 2003, Polof. Bukenya bwe yalondebwa ku bumyuka bwa Pulezidenti, Nkonge n’amulonda ng’omuyambi mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti.
Dr. Francis Runumi
Yali ssentebe wa LC 5 e Kabale era y’omu ku baatandika ekibiina kya Reform Agenda ne Besigye mu 2001. Dr. Runumi yanoonyeza Besigye akalulu ka 2001 n’omutima gumu nga byayogerera NRM ne Pulezidenti Museveni bitiisa wabula lwakya lumu n’alya ebigambo bye.
Dr. Runumi yalaba ekitangaala mu 2003 bwe yasisinkana Pulezidenti Museveni mu kyama ne babaako bye bakkaanya n’ekyaddirira kumugonnomolako gufo ogwa bwakaminsona mu Minisitule ey’Ebyobulamu.
Garuga Musinguzi
Y’omu ku basajja abasinga obugagga mu bugwanjubwa bwa Uganda.
Alina ettaka eriweza mayiro 10 e Kanungu n’e Kyenjojo kuno kw’ogatta wooteeri ey’amaanyi eyitibwa Savana, ekyuma ky’emmwaanyi ne faamu ggaggadde gy’alina e Matanda okuli ente ezisukka mu mutwalo gumu. Alina ekisaawe ky’ennyonyi e Kanungu, amayumba mu Kampala ne Ntebe.
Garuga alina eby’obugagga ebirala ebweru wa Uganda okuli amayumba agapangisibwa mu Amerika n’e Bungereza agabalirirwamu obukadde bwa ddoola nga 10.
Besigye bwe yali atandika Reform Agenda mu 2001, ssente zonna ze yakozesa zaali za Garuga era bwe baatandika FDC mu 2004, ekifo ky’e Najjanankumbi ewali ekitebe ekikulu ekya FDC, Garuga ye yakibawa ku bwereere. Kuno kwe yagatta n’ennyumba esangibwa e Mbuya gye yawa Besigye okusula bwe yali yaakadda okuva mu buwang’anguse e South Afrika mu 2005.
Garuga yagezaako enfunda eziwera okusiguukulula Amama Mbabazi mu Palamenti kyokka ne bigaana era bwe yeekyawa , aba FDC baalabira awo ng’aggyeemu enta, n’adda mu NRM, kati yasirika alina kontulakiti za Gavumenti ez’enjawulo ze yaweebwa.
Hajji Badru Kendo Wegulo
Yali ssentebe wa UPC mu Uganda yonna okuva mu 1984 okutuuka mu myaka mu 2005 era nga musajja wa Milton Obote ow’omunda. Wegulo ne Dr. James Rwanyarare be baali bafuga UPC ebbanga lyonna okuva mu 1986 okutuuka 2005.
Bombi Wegulo ne Rwanyarare nga basinziira ku Uganda House (ekitebe kya UPC) ne bayogerera Pulezidenti Museveni ebikankana era nga tebalina kalungi ke balaba mu NRM. Wabula mu October wa 2010, Wegulo yalaba ekitangaala, bwe yeegatta ku NRM ku lunaku Pulezidenti Museveni lwe yatongoza manifesto ya kampeyini za 2011.
Kati Wegulo muwabuzi omukulu owa Pulezidenti nga buli mwezi akwata obukadde obusukka mu butaano (5), gattako obukuumi, n’ebigenderako.
Bannabyabufuzi abakyusa ebbala nga nnawolovu