TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MUKY. SSENG'ENDO: Akulira Mothers' Union e Namirembe amaze ku ndiri emyaka 3

MUKY. SSENG'ENDO: Akulira Mothers' Union e Namirembe amaze ku ndiri emyaka 3

Added 3rd December 2013

Deborah Namubiru Sseng'endo alese abakyala mu Bulabirizi bw’e Namirembe mu buyinike obutagambika. Bajja kusinga kumusubwako kitone eky'okubudaabuda omuntu mu buli mbeera.Bya DICKSON KULUMBA

Deborah Namubiru Sseng'endo alese abakyala mu Bulabirizi bw’e Namirembe mu buyinike obutagambika. Bajja kusinga kumusubwako kitone eky'okubudaabuda omuntu mu buli mbeera.

Muky. Sseng'endo yafudde nga bukya ku Mmande oluvannyuma lw’okulwala okusannyalala okumala emyaka esatu n’ekitundu nga yafiiridde mu International Hospital Kampala gye yatwaliddwa ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro ky’olunaku lwe lumu.

Sseng'endo ne mukyala we ku mbaga.

Yazaalibwa September 6,1956, bakadde be be bagenzi Naggayi ne John Mark Kiwanuka e Nakabugo - Mukono mu Kyaggwe.

Abadde mukyala eyanoza ekkalaamu ng’okusoma yakutandikira Mmengo Girls P/S, n'agenda e Kako SS, Kampala Secretarial College n'akuguka mu bwakkalaani.

Yafuna diguli esooka mu mbeera z’abantu mu 1982 ate mu 1985 n'afuna eyookubiri mu kubala abantu era mu yunivasite e Makerere.

Bba Daniel Sseng'endo agamba nti ddala Mukama yamuwa omukyala omutuufu ate ne Namubiru buli lye yayogeranga ng’ategeeza nga Katonda bwe yamuwa ennamba ye.

Bano baalabaganira ku yunivasite e Makerere, Namubiru gye yaweebwa omulimu mu October wa 1977 ng’omuwandiisi wa David Ssentongo ( kati Canon) eyali omumyuka w’omuwandiisi wa Yunivasite eno ng’ate Sseng'endo amazeeyo ebbanga mu kitongole ky’ebyensimbi.

Carol Male

Sseng'endo agamba nti baabeera mu kwogereza okumala emyezi mukaaga gyokka okutuusa lwe baasalawo okugattibwa mu bufumbo obutukuvu nga May 6,1978 mu All Saints Church ( kati Cathedral ) e Nakasero.

“Ekiseera kino kyali kizibu nnyo mu ggwanga era buli omu eyali tannawasa ng’agamba ka mpase mangu. Namubiru abadde mukyala ayagala buli muntu, omunyumya nga tayagala ekiseera kyonna mubeere awo mu kiwuubaalo,” Sseng'endo bw'ayogera ku mukyala we!

Mu bufumbo bwabwe obw’emyaka 35 bafuniddemu ezzadde lya baana bana okuli Dr. Grace Kisitu ali ku misomo mu Amerika, Catherine Nalumansi, Ying. Steven Ssebagala ne Christopher Ssekabira.

OKUKOLA KWE:
Carol Male, akulira ekibiina ky’abakyala abafumbo mu kkanisa y’e Mpererwe agamba nti omugenzi abadde mukyala mukakaalukanyi, aweerezza mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bingi.

Yaliko kkalaani mu Yunivasite e Makerere; yakolako mu kitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku by’okubala abantu; abadde mumyuka w’omuwandiisi wa Yunivasite y’e Kyambogo ate mu kkanisa abadde yeenyigira nnyo mu mirimu gyayo naddala egy’abakyala.

Mu 2003- 2007 yaliko omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ky’abakyala abafumbo mu Bulabirizi e Namirembe ng’amyuka Margaret Kitanda.

Ate mu 2007 okutuusa kati y’abadde akulembera ekibiina ky’abakyala kino era nga bakyala banne babadde baakamala okumuwa ekirabo olw’obuweereza bwe.

“Ekirala ekitalinva ku mutima kwe kuba nti abadde munyumya nga ne bw'agenda ku mukolo n’abaleka awaka, akomawo n'abanyumiza byonna ebibaddeyo nga n’ebikolwa kw'abadde oba kuzina ng’azina.

Ate mu famire y’omugenzi Polof. Ssenteza Kajubi bamweyitira P.2 kuba lumu amasannyalaze gaavaako naye n'abagamba nti nga bwe bakyalinda ettaala n'atandika okuyimba obuyimba obwo obwayimbwanga mu P2,” Sseng'endo bw'ajjukira!

Pulezidenti w’abaami abafumbo mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Ssaalongo Stanley Kalyango yagambye nti Muky. Ssengendo abadde kyakulabirako eri abakyala bonna mu Bulabirizi nga mukkakkamu, mwetoowaze, atya Katonda, mwesimbu, omukozi ate muzadde abaddenga afa ennyo ku maka ge wadde y’abadde akulira abakyala mu Bulabirizi kye yagambye nti buli mukyala asigale ng’agoberera omukululo gwe.

Deborah Namubiru Ssengendo aziikwa leero e Kasana- Luweero ewaabwe wa bba Daniel Sseng'endo. Ku Mmande waabaddewo okusaba mu kkanisa e Mpereerwe ne mu Lutikko olw’okujjukira emirimu gy’omugenzi.

MUKY. SSENG''ENDO: Akulira Mothers'' Union e Namirembe amaze ku ndiri emyaka esatu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...

Kasule Lumumba (ku kkono) Sseggona ne Abdallah Kiwanuka (ku ddyo) balooya ba NUP.

▶️ Ebya Bobi okuva mu mus...

KKOOTI y'oku Ntikko esanze obulippo bw'ekkirizza okusaba kwa Robert Kyagulanyi okuggyayo omusango gw'okusazaamu...