TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abamonko: Abakkiriza tebatabagana na bakazi

Abamonko: Abakkiriza tebatabagana na bakazi

Added 11th December 2013

Abamonko bagamba nti obulamu bwe balimu bubateeka mu kifo ekisemberedde Katonda.



Bya MUSASI WAFFE

Abamonko bagamba nti obulamu bwe balimu bubateeka mu kifo ekisemberedde Katonda.

Enzikiriza eno erina obulombolombo n’amateeka amakakali omuli okukuba ebirayiro emirundi egisoba mu 50 okukakasa nti oyo agiyingidde yeesaliddewo nga tewali amukase era mwetegefu okuweereza Katonda.

Ab’enzikiriza eno basinga kubeera mu Buyonaani n’okusaasaanira amawanga amalala okuli Amerika ne mu Asia. Atagumiikiriza kizibu okunywerera mu nzikiriza eno ejjudde okwerumya n’okwewaayo.

 

AKULIRA AB’E GEORGIA YAVA KU NSI:
Maxime Qavtaradze 59, amaze emyaka 20 ku lusozi lwa ffuuti 131. Abeerayo yekka era tewagendayo muntu mulala.

Mu wiiki avaayo omulundi gumu oba ebiri okusinziira ku kusiima kwe n’akka wansi. Akkira ku ddaala eriyuuga era essaawa yonna lyandikutuka kubanga likaddiye.

Emmere n’amazzi abagoberezi abali wansi be babimuweereza nga bakozesa emiguwa emiwanvu.
Maxime agamba nti ng’eryanyi ly’ekivubuka limuwala, yatandika okukozesa ebiragalalagala n’emize emirala ne bamusiba mu kkomera okumala ekiseera.

Olwavaayo yasalawo okuva ku by’ensi n’adda mu bulamu obusemberedde Katonda.
Okutuukiriza kino, yasalawo okuwalampa olwazi lwa ffuuti 131 gye yazimba. Yasanga ekifo kikalu era yasooka kusula mu ffiriigi enkadde.

Mu kulawuna ekifo, we yagwira ku ssanduuko y’abafu gye baatereka mu lwazi nga mulimu ebisigala by’abaamusooka.  Ng’ali ku ntikko ly’olwazi luno olusirifu, agamba buli lw’asirika alaba Katonda ng’amuli kumpi.

Abagenyi b’afuna bokka be baweereza ate abalala abalina ebizibu bakung’aanira ku kigo ekiri wansi olwazi we lutandikira era awo w’abasisinkanira.



MUNNAMAWULIRE EYATUSEEYO  ATTOTTOLA
Omukubi w’ebifaananyi Amos Chapple annyonnyola akawonvu n’akagga mweyayise okutuuka ku ntikko y’olusozi luno Maxime gy’abeera.

Olwatuuse ku lusozi (olwazi), baasoose kumugaana kulinnya waggulu ku lwazi.

Baamulagidde asooke yeetabe mu kusaba okwa buli lunaku okutwala essaawa musanvu ate nga buli kiro bazuukuka ne basaba okuva ku ssaawa 8:00 okutuusa ng’emmambya esala.Kino yakikoledde ennaku nnya ne balyoka bamukkiriza okutuuka awali mukama waabwe.

Ng’atuuseeyo yamunnyonnyodde nti olusozi luno lwakozesebwanga Abakristaayo abaali baagala okwewala ebikemo byensi. Mu 1993 Maxime yakuba ebirayiro n’alinnya ku lwazi.

Ku lusozi, munnamawulire yasanze yazimbayo essinzizo n’amayumba amalungi mw’abeera ng’asaba, asoma ebitabo n’okwetegekera okusisinkana Katonda.

Bano nga baweereza Maxime emmere n’emiguwa.

ENNEEYISA Y’ABAMONKO
Okusaba kya buwaze era abavubuka abajja mu kigo babasuza n’okubaliisa nga bamaze okukkiriza akakwakkulizo nga bateekwa okwetaba mu kusaba.

Tebatabagana na bakazi. Bw’oyingira Obumonko ng’eby’abakazi obyerabira. Era basinga kwettanira kuyingiza balenzi abatatabaganangako na bakazi.

Bambala ebyambalo ebiddugavu nga Abasodokisi. Omuntu akyali mu kutendekebwa bamuwa akagoye k’ayambalira munda nga kaliko ebigambo ebimyufu, akabonero k’amagumba. Tebanywa mwenge oba ekitamiiza kyonna naye nga balya emmere eya bulijjo.

Maxime ng’asoma ekitabo mu nju ye eri ku lusozi lwa fuuti 131.

OFUUKA OTYA OMUMONKO?

  • Okufuuka Omumonko omuntu ayingira mu kigo n’asooka yeetegereza engeri obulamu gye butambuzibwamu nga takakiddwa.
  • Akkirizibwa okulambula ekigo emirundi egiwera kyokka ekisinga obukulu, alina okulaba akikulira buli kiseera ne boogeraganya.
  • Kasita bakkiriziganya omuntu omupya aweebwa ebbanga lya mwezi mulamba asobole okumanyiira obulamu bw’omu kigo.
  • Omwezi bwe guyitawo omuntu atwalibwa ku mutendera oguddako n’atandika okutendekebwa okumala emyezi mukaaga.
  • Wano atwalibwa ku mutendera oguddako n’akuba ekirayiro ekisooka ne bamuwa erinnya era guno omutendera agumalako emyaka ebiri.

  • Ekiseera kino kyonna kibeera kya kunnyikiza muntu ono mu bulamu bw’Ekimonko n’ayiga ennyimba, obulombolombo n’ennono z’ Abamonko, okusoma essaala n’ayiga Olulattini n’ebyetaagisa ebirala. Mu kiseera kino kyonna omuntu abeera waddembe okubivaamu.
  • Ekiseera ekyo bwe kiggwaako, omuntu oyo abeera takyabivaamu era akuba ebirayiro ebimunywereza mu kigo. Wano amala emyaka esatu ng’atendekebwa mu nzikiriza n’endowooza asobole okubeera mu bulamu obujjudde ebibala.
  • Emyaka esatu nga giweddeko, omuntu oyo aweebwa ekiseera ekiri wakati w’emyaka etaano ne etaano n’ekitundu okukola okusalawo okwenkomeredde asalewo okubeerera ddala Omumonko oba okubivaamu.
  • Oyo asazeewo kirowoozebwa nti abeera ayingidde mu bulamu obutaggwaawo ng’asazeewo okukwatagana n’omutonzi we olubeerera. Gwe oyingira ddi Obumonko, oba obitidde!

Abamonko: Abakkiriza tebatabagana na bakazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...