TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mandela :'Twateganga bbomu mu bifo by'Abazungu'

Mandela :'Twateganga bbomu mu bifo by'Abazungu'

Added 23rd December 2013

MU kitabo kye Long Walk To Freedom, Nelson Mandela alambika bulungi engeri ANC gye kyazinyaamu Abakabbulu engera ate nabo bwe baabeesasulizangako nga AHMED KATEREGGA bw’abikyusizza.



MU kitabo kye Long Walk To Freedom, Nelson Mandela alambika bulungi engeri ANC gye kyazinyaamu Abakabbulu engera ate nabo bwe baabeesasulizangako nga AHMED KATEREGGA
bw’abikyusizza.

EMYAKA gy’ekinaana tegyali myangu Abakabbulu bwe basaalawo okukozesa obukodyo bw’okweyambisa eryanyi okutusaanyaawo ate n’okukozesa akalimi ssendabaguzi bateeseganye naffe.
Ng’olutalo lunyiinyittidde, mu 1981 amagye g’Abakabbulu gaalumba ekitebe kya ANC mu kibuga
Maputo ekikulu ekya Mozambique ne batta abantu baffe 13 omwali abakazi n’abaana.

Mu December wa 1982, abayeekera baffe baatega bbomu ku kkolero ly’ebyokulwanyisa
nnamuzisa e Koberg ku mwalo gw’e Cape Town era ne bazitega n’okukuba ebitebe by’amagye
bingi mu ggwanga lyonna.

Mu mwezi gwe gumu, Abakabbulu baakuba ekitebe kya ANC mu kibuga Maseru ekya Lesotho ne batta abantu baffe 42.

Omulwanyi waffe Ruth First yali asumulula ekitereke kye mu kibuga Maputo gye yali yawang’angukira oluvannyuma lw’okuva mu kabulamuliro, n’evaamu bbomu n’emusensebula.

Ono yali muka Joe Slovo, era yali muzira nnamige era nze nasooka okumumanya nga nkyasomera e Wits. Abayeekera baffe baasooka okutega bbomu mu mmotoka mu May wa 1983 era yali egenderera
kukuba kitebe ekikulu eky’eggye lya South Afrika ery’omu bbanga wakati mu kibuga Pretoria. Kuno
kwali kwesasuza ku bulumbaganyi Abakabuulu bwe baali batukozeeko e Maseru n’awalala.

Tetwagenderera kutta bantu baabulijjo Okutta abatali bamukwatammundu kyatugwako bugwi naye si kye kyali ekigendererwa kyaffe era kyatuluma nnyo. naye munnange Oliver Tambo yang’umya nti tewaali
kyakukikolera kubanga si ffe twanaawuula olutalo wabula Abakabbulu be baalutunaawuulako bwe
baatandika okutusosola mu langi.

Ssaabakabbulu PW Botha yajja n’enteekateeka eyakkiriza Abayindi n’Abakyotala okukiikirirwa mu Palamenti, kyokka Abaddugavu bannannyini nsi, ne balekebwa bweru.

Naye bino byali byoya bya nswa kubanga ebyali eby’okusalwangawo Abayindi n’Abakyotala, nga
birina kumala kukakasibwa Bakabulu.

Eky’omukisa, okulonda bwe kwatuuka mu 1984, Abayindi n’Abakyotala 80 ku buli 100 baakuzira nga bagamba nti abantu bonna omuli n’Abaddugavu balina okulekerwa eddembe lyabwe ery’obwebange ery’okulonda.

Ebibiina by’obufuzi bimerukawo

Ebibiina bingi eby’amaanyi byatandika okumerukawo wansi mu bantu munda mu South Afrika
nga birina akakwate ne ANC era ekimu ku byo kya United Democratic Movement ekyakuma mu bantu omuliro okwekalakaasa n’okwegugunga nga bawakanya okulonda kuno.

Kyegattibwako ebibiina by’abakozi, ebya bannaddiini n’eby’abayizi gwe wamma ne gubula asala.

Brig. Aucamp yanzikiriza okuwandiikira ku mukyala wange Winnie ebbaluwa ne nsanyuka nnyo.
Kino yali takinkolera ng’ekirabo wadde ng’abasibe abaasalirwa edda tebakkirizibwanga kuwandiikira
bantu baabwe.

Wabula bakama be baali bakigendereramu okufuna ebirowoozo byange bafune obujulizi bwe balumiriza Winnie. Maama ne mutabani wange baafa ndi musibe.

Ekiseera kino tekyali kyangu kubanga ku makya egimu mu 1969 nga maze okumanya nti Winnie akuumirwa mu kaduukulu, ate mutabani wange Makgatho, yampeereza essimu empandiike ng’erimu olunyiriri lumu nga lugamba nti mutabani wange omukulu Madiba Thembekile yali attiddwa mu kabenje ka mmotoka e Transkei.

Yalina emyaka 25 gyokka egy’obukulu era yaleka abaana babiri. Jjukira nti nali nnaakafiirwa mmange, mukyala wange yali asibiddwa nga takkirizibwa kulabibwako muntu yenna oba wadde okubaako gw’awuliziganya naye, ate laba ne mutabani wange lw’afiira mu kabenje!

Nadda ku kitanda kyange ne neebaka. Kw’olwo ssaagenda kulya kyaggulo. Walter Sisulu yajja n’afukamira ku kitanda n’ambuuza ogubadde ne mmulaga essimu empandiike.

Teyaddamu kigambo okuggyako okukwata omukono gwange n’aguwanirira mu kunsaasira. Nnali
simanyi lwe ndiva mu kkomera!

Nasaba Abakabbulu banzikirize ne ng’enda nziike nga bantaddeko obukuumi era ne neeyama okukomawo mu kaduukulu mu kkomera ne bagaana.

Banzikiriza kuwandiikira mukyala wange omukulu, Evelyn ebbaluwa ekubagiza. Najjukira mutabani wange lwe nnakoma okumulaba nga yeenaanise mu ssuuti yange, eyali emwambadde. Olwo lwe lwakoma!

Mandela :‘Twateganga bbomu mu bifo by’Abazungu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...