TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mbuulira ekizibu kyo nkulage Omujulizi anaakuwolereza

Mbuulira ekizibu kyo nkulage Omujulizi anaakuwolereza

Added 30th May 2014

ABANTU beeyiwa e Namugongo okujjukira Abajulizi abattibwa Ssekabaka Mwanga emyaka egisoba mu 100 egiyise.



  • Bruno Sserunkuuma awolereza batamiivu
  • Atanansi Bazzekketta awolereza bamanerenda 
  • Kizito Omuto wa baana

Bya EDWARD SSERINNYA  NE OLIVE NAGAWA

ABANTU beeyiwa e Namugongo okujjukira Abajulizi abattibwa Ssekabaka Mwanga emyaka egisoba mu 100 egiyise.

Ku mulundi guno lwe giwera emyaka 50 bukya balangirirwa mu lubu lw’abatuukirivu.

Wabula abantu abagenda e Namugongo naddala ku ludda lw’Abakatoliki babeera n’Abajulizi baabwe be bakkiririzaamu. Ekibuuzo kiri nti, nsaba ki entuufu gy’okozesa ng’oyita mu Mujulizi wo essaala n’etuuka ewa Katonda? 

Rev. Emmanuel Lutaaya ow’ekkanisa y’e Bbira mu Wakiso agamba nti, mu Kkanisa tebalina nkola ya muntu kubeera na Mujulizi we.

“Wabula ffe tusaba nga twetuukira ewa Katonda, wabula Abajulizi bano tubatwala nga bantu bamuwendo nnyo era abaafirira eddiini, n’olwekyo tulina okubagulumiza,” bwe yagambye. 

Ono awagirwa Omulabirizi w’e Mityana, Dr. Stephen Kazimba Mugalu, agamba nti bbo Abakristaayo basaba nga bayita mu Yesu nga bwe baayigirizibwa mu Matayo 7:7.

“Kale mu mbeera eno ffe tetusaba nga tuyita mu Mujulizi yenna, wabula tukuza olunaku luno ng’ekyokulabirako kuba baali bazira abaasobola okutambula olugendo lwabwe ne balumalako. Era essira tuliteeka mu kujjukira emirimu gyabwe naffe okutambulira mu bigere byabwe nga bwe tusaba Yesu okutunyweza,” Dr. Kazimba bw’agamba.

Abajulizi Abakatuliki ne bye baakola  nga Fr. Joseph Muwonge avunaanyizibwa ku byafaayo by’Abajulizi e Namugongo nga bw’annyonnyola; 

Kalooli Lwanga: Ono muwolereza w’abavubuka n’ab’enkola Enkatoliki, ono abavubuka bamuyitamu okusobola okukola ku bizibu byabwe. 

Matia Mulumba: Ono awolereza abaami ne bassemaka, era kwe bayigira amazima n’obukkakkamu, kale mu mbeera eno Mulumba abafumbo bamuyitamu okwegayirira.

Doyoniziyo Ssebuggwaawo: Muwolereza w’abayimbi kuba naye yali muyimbi mulungi n’abakuba ebivuga, mu mbeera eno abayimbi basobola okumusaba nga bamuyitamu wabula buli omu asobola okumuaba. 

Andrea Kaggwa: Omuwolereza w’abasomesa ba Klezia n’abasomesa abasomesa mu masomero kwe balabira byonna era bayita mw’ono okwegayirira. 

Ponsiano Ngondwe: Ono awolereza abakola mu byokwerinda byonna okugeza abaserikale abamagye, poliisi n’abakuumi.

Atanansi Bazzeketta: Ono muwolereza w’abantu abakola mu byensimbi okugeza bbanka ne SACCO mu bawanika n’abalala nga batambulirwako ebyensimbi. Omuwanika omwesigwa munkuluze ya Kabaka awolereza abawanika bonna.

Gonzaga Gonza Bato: Omutuukirivu atenkanika kisa eri abo abalina ebizibu eby’amaanyi n’abasibe era abali mu mbeera eno bakubirizibwa okumukowoola.

Noah Mawaggali: Omukozi atasosola mirimu era omwagazi w’abaavu, okwo ssaako abayiiya okuli ababazzi, abaavu bamakanika n’abantu abanoonya emirimu n’abali mubeera embi basaanye okumusaba. 

Lukka Baanabakintu: Ono yali muvubi ku nnyanja ya Wamala ate era nga y’agirabirira, muwolereza w’abavubi, Abalunnyanja era bano wadde basobola okusaba Abajulizi abalala naye ono ye waabwe.

Gyaviira Musoke: Ono yava mu maka masamize, era kitaawe Ssemalago yali musamize e Sseguku ku ludda e Ntebe, era ono ye mwana eyali ow’okumusikira. Muwolereza w’abalina ebizibu ebyekuusa ku kusamira n’eddogo.

Anatooli Kiriggwajjo: Ono awolereza abalimi, abalunzi n’abayizzi, era naye yennyini yali muyizzi.

Akirewo Kiwanuka: Muwolereza w’abamawulire era naye yennyini yagaagalanga nnyo era klezia kye yava emukwasa kino. 

Kizito Omuto: Ono w’abaana, era abaana basaanye okumwegayirira nga balina kye bamwagalako.

Bruno Sserunkuma: Awolereza abalina ekizibu ky’okunywa omwenge, n’abalina obusungu obwettumbiiizi n’abalina ekizibu ky’obwenzi.

Yoanna Maria Muzeeyi: Abasawo, abazaalisa, amalwaliro kyokka nga awolereza n’abayizi. Wabula omuntu asobola okuyita ne mu bajulizi abalala abatamenyeddwa n’asaba by’aba ayagala. 

 

Mbuulira ekizibu kyo nkulage Omujulizi anaakuwolereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...