TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lwaki loole ezisoba mu 50 ezitwala obwennyanja obuto e Kasese buli lunaku tezikwatibwa

Lwaki loole ezisoba mu 50 ezitwala obwennyanja obuto e Kasese buli lunaku tezikwatibwa

Added 5th June 2014

OKUVUBA ebyennyanja ebito kye kimu ku bisinze okwonoona ennyanja Nalubaale kubanga ekikolwa kino kifiiriza Bannayuganda obutafuna mukisa gulya ku byennyanja ebikuze n’abasuubuzi abayimiriddewo ku mulimu guno.



Bya PATRICK TUMWESIGYE 
OKUVUBA ebyennyanja ebito kye kimu ku bisinze okwonoona ennyanja Nalubaale kubanga ekikolwa kino kifiiriza Bannayuganda obutafuna mukisa gulya ku byennyanja ebikuze n’abasuubuzi abayimiriddewo ku mulimu guno.

Newankubadde ng’ebitongole eby’enjawulo bissiddwaawo okulwanyisa envuba embi ku nnyanja naddala okukwata ebyennyanja ebito, kino tekirobedde bantu bano kugenda mu maaso n’okutambuza bizinensi y’obwennyanja obuto ekintu eky’obulabe eri ennyanja.

Buli wiiki emmotoka ezisoba mu 50 ez’ekika kya FUSO ezibeera zitisse ebyennyanja ebito ziyingira e Kasese okutunda ebyennyanja bino mu butale obuliranyeewo kyokka abavunaanyizibwa okukwata ebyennyanja bino ne batabafaako.

Haji Abubakar Munyagwa, akulira okulwanyisa envuba emenya amateeka e Wakiso agamba nti ebyennyanja ebito naddala engege n’empuuta bye bisinga okutunuulirwa n’okutangirwa okuvubibwa nga bito.

Engege yonna ekwatibwa ng’eri wansi wa yinsi 11 ebeera nto ate empuuta etaweza yinsi 20 nayo tekkirizibwa kuvubibwa era omuvubi n’omusuubuzi akwatibwa nabyo avunaanibwa.

OBWENYENJA OBUTO GYE BUSINGA OKUVA
Haji Munyagwa agamba nti okusinziira ku bumanyirivu bw’aliba olw’ebbanga ly’amaze ng’alwanyisa envuba embi, disitulikiti ezisinga okuvuba obwennyanja obuto mulimu Busia, Wakiso, Bugiri, Iganga, Kampala, Mpigi, Kalungu, Masaka, Rakai, Kalangala.

Emyalo egisinga okugobako obwennyanja obuto, Haji Munyagwa agamba nti kizibu okuggyamu omwalo gwonna nti gwo gugobako byennyanja bikulu byokka kubanga abavubi abasinga babivuba wabula waliwo emyalo egimanyidwa nga gyo gye gisinga okugobako obwenyanja buno.

Kasenyi gwe mwalo ogusinga okugobako ebyennyanja ebito era kino kiri kiti kubanga ebyennyanja ebiva e Kalangala ebisinga kwe bituukira. Emyalo emirala kuliko Bukakata, Kasensero mu Rakai ne Lwampanga.

Ebyennyanja ebito ebisinga biggweera mu DR Congo (Zaire) wabula Abakongo okubitwala e Kasese waliwo akatale akanene obwennyanja buno obuto gye butuukira akayitibwa Mpondwe-Bwera ku nsalo ya Uganda ne DR Congo.

Bano babisanga Kasese. Haji Munyagwa agamba nti waliwo n’obutale obulala obuli ku nsalo nga Ishasha ne Bunagana wabula buno businga kutuukirako bwennyanja obuto kuva ku nnyanja Kyoga.

Babutambuza batya?
Abasuubuzi b’obwennyanja buno, bakozesa abantu be baakazaako erya luutu maneja (Route managers) nga bano babeera n’emmotoka ennene era be bagenda ku myalo ne batikka obwennyanja bw’abasuubuzi oluvannyuma lw’okusuubizibwa omutemwa omunene ne bagitwala mu butale olwo bbo ne balinnya bbaasi.

Baluutu maneja basinga kukozesa makubo abiri okutuuka e Kasese okuli erya Kampala- Masaka ne Kampala Fort Portal. Okusinziira ku Haji Munyagwa abantu bano babeera bazibu okukwata kubanga batambula kiro ate bamanyi obukubo bungi naddala nga bava ku myalo.

Ekirala abasuubuzi babawa ssente ze bayita ez’ekkubo nga zino ziba za kuliyirira baserikale ababakwatira ku makubo okutuusa lwe batuusa ebyennyanja bino.

Ekyewuunyisa nti mu bitundu ebyo waliwo abalwanyisa okutundibwa kw’ebyennyanja ebito gye bali naye balinga abatabafaako.

Haji Munyagwa annyonnyola nti olw’okuba ng’abantu bano babeera n’emmotoka ennene, babegezaamu emirundi mingi okubatomera kubanga babeera tebaagala kubalemesa ebyamaguzi byabwe.

Lwaki loole ezisoba mu50 ezitwala obwennyanja obuto e Kasese buli lunaku tezikwatibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...