TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Sam Kutesa: Munnayuganda asoose okukubiriza ttabamiruka w'ekibiina ky'amawanga amagatte

Sam Kutesa: Munnayuganda asoose okukubiriza ttabamiruka w'ekibiina ky'amawanga amagatte

Added 14th June 2014

MINISITA w’ensonga ez’ebweru Mw. Samuel Kahamba Kutesa eyalondeddwa ku bwapulezidenti bw’olukiiko ttabamiruka olw’ekibiina ky’amawanga amagatte, agambye nti mu nnaku ezikulembedde okulondebwa kwe, abadde ng’omugole ali mu kisenge afumbirirwa.



Bya AHMED KATEREGGA

MINISITA w’ensonga ez’ebweru Mw. Samuel Kahamba Kutesa eyalondeddwa ku bwapulezidenti bw’olukiiko ttabamiruka olw’ekibiina ky’amawanga amagatte, agambye nti mu nnaku ezikulembedde okulondebwa kwe, abadde ng’omugole ali mu kisenge afumbirirwa.

“Wiiki ejja nja kudda mu Uganda nzize omuzigo,” Kutesa eyaliko Minista w’ebyamateeka era Ssaabawabuzi wa Gavumenti ku mulembe gwa Gen. Tito Okello lutwa mu 1985 bwe yagambye.

Kutesa ye yakiikirira Uganda mu lutuula ttabamiruka olw’omwaka ogwo n’alwogereramu. Ajjukirwako okugamba nti, “Wano mu Uganda tewaliiwo kibiina kimu bwe kiti, ka kibe kya byabufuzi, ddiini oba wadde eggwanga ekisobola okumalawo ebizibu eggwanga bye lirimu.” Teyamanya nti emyaka 29 oluvannyuma lw’agenda okuba nga y’akubiriza olukiiko olwo.

Mw. Kuteesa yagambye nti ababaka ab’enkalakkalira ab’amawanga amagatte gonna okussa ekimu ng’enkuyege ne bamulonda kabonero akooleka obwesige bwe bamulinamu ne bwe balina mu Uganda.

Yagambye nti, “Olukiiko ttabamiruka lusaanidde okussa ennyo amaanyi mu kulwanyisa obwavu, embeera y’obudde ekyukakyuka buli kiseera n’okutuuka ku mwenkanonkano wakati w’abasajja n’abakazi ng’ate abasinga okukosebwa tebalina busobozi kwerwanako, kyetaagisa tufungirize wamu okubinogera eddagala.” 

Kwe kugattako nti, “Ekibiina ky’amawanga amagatte kiriwo kugonjoola bizibu mu kaweefube ow’okufungiriza awamu." 

Ekibiina ky’amawanga  amagatte

Kuteesa yasooka okwogerera mu lukiiko luno mu 1985 nga Minista w’ebyamateeka era Ssaabawabuzi wa Gavumenti ku mulembe Gen. Tito Okello Lutwa.  Kw’olwo yagamba nti ku bizibu ebyali mu Uganda ng’abayeekera ba NRM/NRA abaali bakulemberwa kati Pulezidenti Museveni basazeeko Katonga, nga n’ekibuga Kampala kigabaniddwa ebifiififi by’ebibiina ebirwanyi nti “Tewali kibiina kimu bwe kiti, ka kibe kya byabufuzi, ddiini oba wadde ggwanga, ekisobola okugonjoola kyokka ebizibu bino.”

Aba NRM olwawamba ne bakola gavumenti ey’ekintabuli eyalimu ebibiina byobufuzi byonna n’ebibiina ebirwanyi byonna. Yaddamu okulwogereramu mu 2006 ng’afuuse Minista w’ensonga ez’ebweru.

Abamuwagidde

Kutesa olukondebwa okukulira ttabamiruka wa UN yawagiddwa nnyo Minista w’oludda oluvuganya ow’ensonga ez’ebweru Ambasada Wamanga Wamai. 

Minista omubeezi avunaanyizibwa ku nkolagana ya Uganda n’amawanga ag’omuliraano Mw.Asumani Kiyingi yagambye nti buno bwabadde buwanguzi bwa Uganda ne Afrika yonna.

Gwe yaddidde mu bigere, James Ashe yamulaamidde okuguggubira ku kulaba ng’ebiruubirirwa by’ekibiina ky’amawanga amagatte eby’ekyasa ebigenderera okutumbula ebyenfuna n’okusitula embeera z’abantu bituukibwako.

Mw. Asumani Kiyingi yagambye nti okulondebwa kwa Kutesa buwanguzi bwa Afrika n’amawanga amalala agakyakula mu, Buwalabu, Asia, Latin Amerika, Atlantic, Carribean ne Pacific ne yeebaza buli yenna eyafubye okulaba nga kino kituukibwaako.

Imaamu Idi Kasozi owa JEEMA yayozaayozezza Kutesa kyokka n’agamba nti amusuubira okuzannya ebyobufuzi ebiyonjo mu ssaza ly’e Mawogola gy’akiikirira mu Paalamenti okusinga bwe gubadde naddala mu biseera bya kampeyini. 

Kutesa ye Munnayuganda era Omuddugavu okuva mu buvanjuba bwa Afrika asoose okulya ekifo kino. Omufirika akyasembyeeyo okubeeramu ye Ali Treki owa Libya, yakirimu mu 2009. Kuteesa waakutandika okukubiriza olutuula olwa 69 olw’olukiiko luno okuva mu September w’omwaka guno.

Eyali akulira poliisi y’e Nanasana Muhammad Kirumira naye yamuyozaayozezza  kyokka n’amukubiriza okulaba ng’okulwanyisa obwavu, endwadde n’obutamanya bikoma okuba olujeejeemo wabula kussibwe mu nkola.

Issa Kirarira ne Rahim Kayondo ab’ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe mu masekkati ga Afrika baagambye nti bamusuubiramu bingi ne bamukalaatira obutayiwaayo bantu abamutaddemu ennyo obwesige.

Abalala abaali bafunyeeko ku bifo

Bannayuganda abalala abafunye ku bifo ebinene mulimu musajjamukulu Paul Oro Etiang, eyaliko omubeezi wa Ssaabawandiisi wa OAU mu biseera bya Idi Amin, era nga yakola kinene mu kutuuza olukiiko olwa OAU olw’enjawulo mu kibuga Lagos ekya Nigeria gye baakolera enteekateeka y’okukolerawo omwava obutale obw’awamu nga PTA/COMESA, SADC, ECOWAS ne Al Maghrib.

Ambasada Olara Otunnu, yali mubaka ow’enkalakkalira mu kibiina ky’amawanga amagatte okuva mu 1979 okutuusa mu 1985 era yaleeta kuno eyali Ssaabawandiisi waakyo, Perez De Queller mu 1984 . yabulako katono okumuddira mu bigere singa yawagirwa Uganda.

Muky. Florence Mugasha, ye yali omumyuka wa Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza, olwatuula mu Kampala mu November wa 2007. 

Dr. Ruhakana Rugunda y’abadde omubaka wa Uganda ow’enkalakkaluira mu kibiina ky’amawanga amagatte era ng’akubiriza akakiiko k’eddembe, bwe yagumala n’akomawo n’adda mu Gavumenti.

Kutesa yagambye nti ajja kusigala ku bifo bye ebirala mu Gavumenti ne Palamenti, kuba ky’afunye kya kiseera buseera. 

Omwogezi wa minisitule y’ensonga ez’ebweru, Fred Opolot yayongeddeko nti Kutesa tagenda kubeera mukozi wa kbiiina ky’amawanga amagatte wabula waakusigala nga mukozi wa gavumenti ya Uganda nti era y’ejja okumusasulanga omusaala n’ensako.

Kutesam bamuzaala Mawogola, munnamateeka, ebyobufuzi yabitandikira mu DP n’akiirira essaza ly’e Nyabushozi mu Paalamenti ku ludda olwali luvuganya Gavumenti ya Obote ll okuva mu 1980 okutuuka mu 1985.

Yabeerako Minisita w’ebyamateeka era Ssaabawabuzi wa Gavumenti ya Gen.Tito Okello Lutwa okuva mu 1985 okutuusa mu 1986, n’alondebwa mu lukiiko lwa Ssemateeka mu 1994, era okuva mu 1996 n’abeera Minista omubeezi ow’ebyenteekateeka n’okutumbula ebyenfuna, n’oluvannyuma avunaanyizibwa ku bamusigansimbi.

Yaggyibwamu obwesige mu mwaka gwa 2000 kyokka n’addako mu 2001 mu kifo kye kimu gye yava okufuuka Minisita w’ensonga ez’ebweru ky’alimu kati.

 

Sam Kutesa: Munnayuganda asoose okukubiriza ttabamiruka w’ekibiina ky’amawanga amagatte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...