TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MEERE NALULE: Alese alabudde abakazi obutagalabanja bufumbo nga bwe yakola

MEERE NALULE: Alese alabudde abakazi obutagalabanja bufumbo nga bwe yakola

Added 9th September 2014

MEERE Nalule nga tannaba kufa yalese ekiwandiiko kye yakwanze mutabani we James Semwezi Lutaaya mwe yalese ng’asibiridde abakyala abafumbo entanda, okufumbira ddala, nga tebamagamaga!

 Bya KIZITO MUSOKE

MEERE Nalule nga tannaba kufa yalese ekiwandiiko kye yakwanze mutabani we James Semwezi Lutaaya mwe yalese ng’asibiridde abakyala abafumbo entanda, okufumbira ddala, nga tebamagamaga!

Semwezi agamba nti nnyina bulijjo aludde ng’amugamba afune olupapula awandiike ebyafaayo bye, kyokka nga ye takitwala ng’ekikulu, okutuusa lwe yamugambye nti ojja kutuuka okubimbuuza nga nsirise, ekintu ekyamuwalirizza okufuna olupapula n’awandiika buli ky’amugamba.

Mu bigambo bya Nalule , ebikwata ku byafaayo bye ne gy’avudde abyogerako bwati; 

“Amanya gange mu bujjuvu mpitibwa Costance Mary Mariam Nabanoba Nantege Nalule. Ensonga eyantuumisa amannya gano gonna mu bungi, lwakuba kitange Yosia Mabiriizi, yandeka mu lubuto lwa nnyabo Gertrude Namutebi. Ku ludda lwa nnyabo ndi muzzukulu wa Sulumaani Mukasa naye eyeebase e Bukerekere.

Nga Kitange amaze okufa maama yafumbirwa empeta e Namutamba-Mityana, naye eno nze nagenderayo mu lubuto, ne banzaalirayo. Eno era maama yazaalirayo mwanyinaze Paul Kazibwe ow’e Gayaza- Bulamu.

Maama aba akyali mu bufumbo ate bba wa mukulu we, Dr. Kalibbala e Bulemeezi n’alwala era n’asalawo okugenda okumujjanjaba, yagenda okudda omwa taata Zziwa e Namutamba nga mu bufumbo temukyali kifo kye. Kale abakyala mwenna abafumbiddwa mbawa ga bwereere nti ng’okyalinawo akakisa, fumbira ddala, tolekaawo mwaganya, tomagaamaga.

Nalule nga teyeefeebya.

Maama bw’afubutuka e Namutamba, yapaalira wa Kamaani eyali minisita e Mmengo naye ng’amaka ge gaali Lungujja.

Eno yafumbayo ebbanga okutuusa lwe yalabagana ne taata Kataza gye yazaala muto wange Night Nalunkuuma.

OKUKULA KWANGE

Taata Paul Kawuma (mugenzi) yannona e Namutamba okuva nga nnina emyezi mwenda era ye yansomesa n’okundabirira.

Yankwasa jjajjange amuzaala, Tezira Womwoyogwe eyalina ekibanja e Kalambi ku lw’e Mityana. Jjajjange ono yandaga omukwano obutanjuza, era y’ensonga lwaki banziikanga Bute, era munteekanga mu bigere bya jjajjange Tezira Womwoyogwe.

ENKYUKAKYUKA

Wakati awo wajjawo ekyukakyuka ku luguudo lw’e Mityana bwe baatema olupya, twasenguka ne taata Kawuma wamu n’embwa yaffe Mooni eyali enkambwe ennyo. Taata baagimuwa mu Bazungu ba Gayle & Roberts gye yakoleranga. Twasenga e Lukuli – Nang’anda.

Nga twakatuuka e Lukuli nadduka ku taata ne ng’enda e Busujju ewa maama Yayeeri Nansubuga, era gye bambatiriza mu kkanisa e Kaggulwe.

OKUSOMA KWANGE

Okusoma nnatandikira mu Bbira Primary school, Bulooba College School, Kanyange Primary school gye nnava nga bampadde sikaala okugenda e Ggombe S.S.S Nnasomerako ne mu Aggrey Memorial School gye nnava okwesogga essomero ly’Abayindi okusoma ebyobusubuzi. Eno nakolerayo kyokka ne mbavaako olw’obutasasula bulungi.

Emirimu nnasookera ku gwa kukunga bakozi okuyingira ‘trade union’ nga nnyamba ku basomesa omwali Polof. Mwiru.

Nakolerako ku National Theatre, nze nnali nnyingiza abagenyi nga nfuna omusaala gwa 115/- omwezi.

Nakolako mu Bata- Kenya gye nnava ne neesogga New Stanley Hotel - Kenya, ng’ayaniriza abagenyi omwali n’abakulembeze b’amawanga abaasulangayo. Omu ku be nzijukira obulungi ye Dr. Apollo Milton Obote.

Nakomawo mu Uganda ne nfuna omulimu mu Lake Victoria Hotel, bwe nnava okutandika okuzaala abaana.

Nalule ng’ali ne muwala we Can. Nabawanuka n’omuzzukulu bwe yabadde tannafa.

Oluvannyuma naddamu okufuna omulimu mu kkolero ly’engoye erya UGIL eryayatiikirira ennyo mu myaka gy’ensanvu n’ekyenda olw’amasaati gaalyo agaabanga amalungi .

Eno nnakolanga “machine operator”, ecanga ecuuma okuwandula amasaati. Nakulungulayo emyaka 20 ne mpummula mu 1996.

ABAANA BANGE

Mu nsi nazaala abaana basatu kyokka omu yafa, abalamu nninawo James Lutaaya Semwezi ne Can. Nabawanuka.” Ebyo bye byabadde mu kiraamo kya Nalule.

Mulekwa James Semwezi Lutaaya yagambye nti okumanya nnyina Nalule yaliwo mu myaka gye, omuyimbi Elly Wamala yatuuka n’okumuyimbako mu luyimba olumu ng’agamba nti ‘nze Nalule gwe njagala!’ Jimmy Kizito, omutuuze w’e Wabigalo agamba nti yatandika okulaba Nalule mu myaka gy’ekinaana, ku kyalo yajjiranga mu mmotoka ez’ebbeeyi nga bamuvuga.

Nalule abadde n’ettaka mu kibuga Mityana, kyokka ng’asobodde okulikuuma nga talitunzeeko.

 

MEERE NALULE: Alese alabudde abakazi obutagalabanja bufumbo nga bwe yakola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...