TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebyapa bya Owino: Abasuubuzi balwanye olutalo lwa myaka 4 okubifuna

Ebyapa bya Owino: Abasuubuzi balwanye olutalo lwa myaka 4 okubifuna

Added 25th September 2014

KYADDAAKI Abasuubuzi b’omu katale ka St. Balikuddembe bafunye ebyapa byonna eby’ettaka okuli akatale kaabwe ke bagenda okwezimbira okukatuusa ku mutindo gw’ensi yonna.

Bya AHMED MUKIIBI

KYADDAAKI Abasuubuzi  b’omu katale ka St. Balikuddembe bafunye ebyapa byonna eby’ettaka okuli akatale kaabwe ke bagenda okwezimbira okukatuusa ku mutindo gw’ensi yonna.

Wabula ebyapa bino (ekya Plot M34, Poloti 20-22 ne Plot 24) abasuubuzi  bano abeegattira mu kibiina ki SSLOA (Space, Stalls and Lockers’ Association) kyenkana babiggye mu mannyo ga Mpisi olw’olutalo lwe balwanye  okumala emyaka ena be ddu nga bazuuzumba ne KCCA ebadde yabigaanira.

Olutalo olw’okuggya ku KCCA ebyapa by’akatale kano edda akaayitibwanga Owino,  balulwanidde ku buli mutendera era buli awali obuyinza batuuseewo; ewa Pulezidenti Museveni,  ewa Kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG), ewa  Katikkiro wa Uganda ne mu Palamenti, kyokka ng’aba KCCA bakyeremye okutuuka ensonga lwe zaasibidde mu  kkooti, abalamuzi ba mirundi ng’ena ne bawa KCCA ebiragiro okuwa abasuubuzi ebyapa.

Kkooti yalagidde Kaminsona avunaanyizuibwa ku kuwandiisa ebyapa mu Minisitule y’Ebyettaka okukolera ab’akatale ka St. Balikuddembe ebyapa ebyenjawulo (special) era bye baafunye.

Eno y’ensonga lwaki nnamba z’ebyapa aba St. Balikuddembe bye baasooka okusasulira nga bafuna liizi okuli; Plot 24B, 24C, M582, M584, M585 ne M853 zaawukana ku byapa bye baafunye okuva mu Minisitule y’Ebyettaka kuba bibadde ebyapa bisatu byokka; Plot M34, 20-22 ne 24 wabula ng’obunene bw’ettaka busigadde bwe bumu.

 

OLUTALO LWATANDIKA mu 2009

Olutalo lw’okufuna obwannanyini ku katale, abasuubuzi baalutandika mu January 2009, Pulezidenti bwe yawandiika ng’alagira Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okubawa liizi ku ttaka lya Owino.

Enteeseganya zaatwala omwaka omulala mulamba okutuusa nga February 3, 2010, akakiiko akagaba kontulakiti mu KCC (mu biseera ebyo nga tennafuuka KCCA) bwe kakkiriza aba Owino okufuna liizi.

Enkeera nga February 4, 2010, Meeya wa Kampala ebiseera ebyo, Nasser Sebaggala n’awandiikira aba SSLOA ng’abatageeza nti Liizi ebaweereddwa.

KCC yasalira abasuubizi obuwumbi 4 eza liizi n’endala obukadde 200 eza busuulu obwa buli mwaka era abasuubuzi nga bayita mu kibiina kyabwe ekya SSLOA baddukira mu bbanka ya DFCU ne beewola ssente ezo ne bazisasula mu KCC ne baweebwa ne lisiiti. 

Ssente ezo zaasasulwa mu bitundu bibiri (2) ng’ezaasooka obuwumbi buna) aba SSLOA baazisasula March 4, 2010 ate endala obukadde 200 zaasasulwa nga March 29, 2010.

Nga basasudde, baalindirira KCC okubakwasa ebyapa nga buteerere, ebyali eby’obulungi ne bifuuka bya kwereega wakati w’abakulembeze ba SSLOA n’aba KCCA abadda mu bigere by’aba KCC.

 Dayirekita wa KCCA, Jennifer Musisi yatuuka n’okuyitibwa mu Palamenti okunnyonnyola ekimugaanyi okuwa abasuubuzi ebyapa byabwe n’ategeeza ababaka nti obukulembeze bwa St. Balikuddembe bulimu ebiwayi n’enkaayana, ye tamanyi kiwayi kituufu ky’alina okukwasa ebyapa by’akatale.

Ebiwayi Musisi bye yali ayogerako ye; St. Balikuddembe (Owino Market) Produce Traders & Vendors Cooperative Society Ltd ekikulirwa JB  Kivumbi n’ekibiina ekiyitibwa ‘Bamufuna Mpola’ ekikulirwa Andrew Ssozi nga babbinkana n’ekya SSLOA  ekikulirwa Godfrey Kayongo Nkajja.

Ekiwayi kya Kivumbi kyatuuka n’okutwala aba SSLOA ne KCC mu kkooti mu 2001 kkooti n’egezaako okubatabaganya ne bigaana okutuusa, omusango lwe gwatandika okuwulirwa, mu July 2011. Mu nsala ye gye yawa mu August 2011, Omulamuzi Joseph Mulangira yagoba omusango ekiwayi kya Kivumbi gwe kyawawaabira aba SSLOA ne KCCA, omulamuzi n’alagira Kivumbi okusasula aba SSLOA.

Nga Kivumbi ameggeddwa,  obwanga, aba Kayongo baabwolekeza KCCA nga baluubirira okugiggyako ebyapa  by’akatale, basobole okutandika ku pulojeketi ey’okukazimba katuuke ku mutindo gw’ensi yonna. 

Pulojeketi eno ya bukadde bwa doola 110 (eza Uganda obuwumbi 275) ng’akatale kano  kasuubirwa okubeera ka myaliiro 13 nga katudde ku ttaka lya yiika nga 8.

Mu kwahhanga KCCA, aba SSLOA baali baluubirira ebintu bibiri; eky’okuggya ku KCCA ebyapa by’akatale n’okuwakanya ekiragiro KCCA kye yawa aba SSLOA mu February 2012 ng’ebagaana okusolooza empooza kubanga ssente ze baali basolooza okuva mu 2010 babadde tebazituusa mu KCCA.

Gavt ekakasizza ebyapa bituufu
 
Omwogezi wa Minisitule ey’Ebyettaka,  Henry Irumba yategeezezza Bukedde nti ebyapa bya St. Balikuddembe bye baawadde eba SSLOA bituufu okuggyako nga kkooti ebisazizzaamu.
 
Wabaddewo okutya mu bamu ku basuubuzi nga bagamba nti ebyapa Kayongo ne banne bye baafunye bifu kuba omusango gukyali mu kkooti. Irumba yagambye nti bo mu kufulumya ebyapa ebyo baali bagoberera kiragiro kya kkooti.
 
POLOTI 24 yaffe - KCCA
 
Wabula omwogezi wa KCCA, Peter Kauju yategeezezza nti omusnago gukyali mu kkooti kubanga baajulira nga bawakanya ensala y’Omulamuzi Mulangira era okujulira kwabwe kwa kuwulirwa nga December 1, 2014.
 
Kauju yagambye nti kye bawulira nga KCCA kwe kuba nga waliwo ebyapa bibiri ebyaweereddwa aba SSLOA kyokka n’atangaaza nti ekyapa ekyokusatu ekya Plot 25 kya KCCA era eryo ttaka lya KCCA sso si Kampala Land Board.

Ebyapa bya Owino: Abasuubuzi balwanye olutalo lwa myaka 4 okubifuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...