TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Dr. Senyonyi: Kakensa mu kubala, naye kati abuulira njiri!

Dr. Senyonyi: Kakensa mu kubala, naye kati abuulira njiri!

Added 25th October 2014

Dr. John Senyonyi y’omu ku bayivu Uganda b’erinawo. Wadde mubuulizi wa njiri naye y’omu ku bakakensa b’okubala abali mu ggwanga!

Bya LAWRENCE KITATTA 

Dr. John Senyonyi y’omu ku bayivu Uganda b’erinawo. Wadde mubuulizi wa njiri naye y’omu ku bakakensa b’okubala abali mu ggwanga!

Mu kiseera kino y’amyuka akulira ettendekero lya Yunivasite y’Abakristaayo e Mukono. 

Dr. Senyonyi alina PHD mu kubala (Mathematical Statistics)  gye yasomera mu Australia, Melbourne University mu 1984; e Nairobi yafunayo  diguli mu byassaayansi (University of Nairobi, 1978). 

Yasomesaako okubala e Makekere okuva mu 1978- 1980 n’okuva mu 1984 okutuuka mu 1987 n’awummula okusomesa. 

Kwe kutandika okubuulira enjiri era mu 1992 yakwatagana n’aba Trinity Evangelical  School mu Amerika era  eno yafunirayo diguli mu byeddiini. 

 Rev.Dr. Senyonyi y'ani?

Rev. Dr. John Senyonyi mutabani wa Eriakim Kajja, 90,  ne maama Efrance Kajja ababeera ku kyalo kazinga mu disitulikiti y’e Luweero. 

“Kitange yali musomesa omutendeke owa Grade II era nga yabusomera wano wennyini e Mukono mu myaka gya 1940 nga giggwaako. 

Ng’amaze okusoma yaweebwa omulimu gw’okukulira Nakasongola C/U Primary School. 

Mu 1956 banzaalira ku kitooke mu lusuku, nnali wakusatu ku baana kitange be yazaala. 

Mu 1961 natandika okusoma mu Nakasongola C/U. Nakula mmanyi nti kitange erinnya lye ye ‘Hedimasita’ kuba nagenda okutegeera nga buli omu bw’amuyita! 

 Wabula bwe natuuka mu P6, taata baamukyusa ne bamuzza mu ssomero eddala,  nze ne nsigalayo kuba nali nneetegekera P7.

P7 nnagituula emirundi ebiri nga njagala okugenda e Buddo naye ne nnemwa.  Mu 1967 ku mwaka gwaffe gwennyini, baalinnyisa obubonero obw’eddaala erisooka okuva ku 110 omuyizi bwe yalina okufuna okuyingira e Buddo okutuuka ku 130 kyokka nze nafuna 125, eyo yali Super B. 

Taata yeegayirira bampe ekifo e Buddo ne bagaana, kwe kuddamu P7 n’akyusa n’essomero n’erinnya anti mu kiseera ekyo nga Gavumenti tekkiriza kuweerera mwana kibiina kimu mirundi ebiri. 

Ku mannya gange yayongerako erya Musisi Mubiru. Natuulira Bbowa C/U Primary School. 

Ku olwo era baayongera obubon ero okutuuka ku 170, era  nnayitira mu Super B! 

Kwe kugenda e Ndejje SS gye nnasomera okutuuka mu S4, olw’okuba nnayita bulungi, aba Budo SS bampa ekifo era gye nnakolera S6. 

S6 nnagikola mu 1975 ne mpita bulungi ne bampa mu University of Nairobi  e Kenya  gye nasomera diguli mu  byassaayansi n’okubala era nze omu ku baayitira waggulu ennyo.

Bwe nnakomawo wano, Gavumenti yansindika okukola mu ‘Customs Public Service’ naye nga nze njagala busomesa. Nagenda mu Yunivasite e Makerere ne bampa omulimu ne nsomesaayo emyaka ebiri.  Nafuna sikaala okugenda mu MelbourneUniversity  mu Australia gye nnamala emyaka etaano. Nnakomawo ne bampa okusomesa e Makerere okumala emyaka emirala esatu ne mpummula. 

Rev. Can. Dr. John Senyonyi ne mukyala we Ruth Nantege Senyonyi ne famire yaabwe.

Yunivasite y’Abakristaayo

Mu 2001 nneegatta ku UCU nga Chaplain okumala emyaka ebiri n'ekitundu olwo mu 2003 ne banfuula  omumyuka w’akulira yunivasite akwasaganya ebyensimbi okumala emyaka esatu.

Mu mu 2006 waaliwo ekifo ekipya ekyassibwawo ku Yunivasite era bannonda ng’omumyuka w'omukulu w’ettendekero avunaanyizimwa ku kulisakira obuyambi n'okulisaggulira emikwano.

Kino ekifo nnakimalamu  emyakaena, mu 2010 ne bannonda okuba omumyuka wa Yunivasite ya UCU mu butongole. 

Mu bulamu, nneebaza Mukama nti nnaakawandiika ebbaluwa emu yokka esaba omulimu, nga nsaba ekifo ky’obumyuka bw’ettendekero lino. 

 NDOKOKA 

Okuva mu buto nnali nnina abantu be nneegomba era nga basajja ba Katonda ddala. Kuno kuliko omubuulizi gwe nali nsinga okwagala eyali atusumba, Can. Waluwo, byonna bye yakolanga nga ndaba omuntu alimu Katonda. 

Wabula bwe natuuka e Kenya nalina ekibinja kye nali ntambuliramu nga tulina eddalu eritagambika. Wabula nnali ndi mu mwaka gwange ogwokubiri, mukwano gwange Mneitheru Munjama yambuulira enjiri ne ndokoka. 

Nakyuka omulundi gumu ne nneesalako emikwano gyonna nga ne bwe bampita okutambulako mu Nairobi sigenda!

Bwe nawummula obusomesa nneegatta ku kitongole kya African Evangelistic Enterprise okubunyisa ekigambo kya Katonda mu mawanga ag’enjawulo. 

Mu 1989 ekibiina kino kyantwala mu Amerika okweyongera okusoma ebyeddiini, nnagenda ne mukyala wange ye n’asoma obwakansala obw’okubudaabuda abasobedwa. 

Namalayo emyaka 13, aba UCU gye banzigya okukola nga Chaplain wa Yunivasite mu 2001. 

Mukyala wange twasisinkana ku Palamenti

Nga nnaakamala emyaka ebiri mu Australia, nnakomawo wano okuwummulako. Tuba tuli ne mukulu wange Peter Nyombi  okumpi ne Palamenti nga tutambula ne tusisinkana abantu basatu okwali ne Ruth Nantege oluvannyuma eyafuuka mukyala wange.

Land Cruiser Prado V6, Dr. Senyonyi gy’avuga.

Nnali sibamanyi, nga munnange y’abamanyi. Nnafuba okukwatagana n’omuwala gwe nnayagalirawo, okumala emyaka ebiri nga mmuwandiikira naye nga simwatuliranga kye mmulowoozeza.Nga  April 06,1983 lwe namubuulira nti mwagala, era oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga April 13,1985 ne tufumbiriganwa.

Embaga yaffe n’eya mukulu wange Peter Nyombi yaliwo olunaku lumu, ffembi ne tugattibwa e Namirembe, abagenyi ne tubasembereza e Lugogo.  Mukama yatuwa abaana bana. 

Teri bufumbo butaliimu makuuli, bubaamu obusozi n’omukko. Obufumbo bulina kwesigamizibwa ku Katonda, olwo lw’ovvuunuka ebizibu. 

Olina okweyabiza munno, obufumbo bwonna obutaliimu kweyabiza muntu yenna gw’oyagala tebuba bufumbo. Ffe tetusiba busungu, ekitunyiiza tukyogerako. 

Ebyenjigiriza ennaku zino 

Ebyenjigiriza ebyasooka twasomanga amasomo abiri ate byalwawo  nga tebikyusiddwa. 

Twayiganga eby’omu kibiina n’empisa wabula ab’ennaku zino basoma busomi kyokka ate n’abazadde tebafudeeyo kuba tebalina budde bwa baana baabwe. 

Sirabaasi bwe yakyusibwa bagiddusa nnyo, erimu ebintu bingi nnyo ebikooya abayizi. N’ebintu bingi bye basoma!

Ekisinga okwennyamiza ennaku zino, a abavubuka tebakyatya Katonda, bangi bamanyi bumanya nti Katonda gy’ali naye ebikolwa byabwe bikontana ne Katonda by’ayagala. 

Ebiseera bino w'osanga omuntu eyasoma wabula ng’alinga eyagendera obwereere ku ssomero. Bangi basoma naye tebayiga!” 

Dr. Senyonyi agamba nti  talina bingi by’aboze naye alina amaka e Bbunga, ettaka lya mirundi ebiri e Mukono n’ebirala ebitonotono.

Dr. Senyonyi: Kakensa mu kubala, naye kati abuulira njiri!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...