TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kagame atadde mutabani we mu ggye erimukuuma

Kagame atadde mutabani we mu ggye erimukuuma

Added 30th October 2014

PAUL Kagame owa Rwanda naye atadde mutabaniwe mu ggye erikuuma pulezidenti oluvannyuma lw’omuvubuka ono okumaliriza emisomo mu ttendekero ly’amagye ery’amaanyi mu Amerika.

Bya MUSASI WAFFE

PAUL Kagame owa Rwanda naye atadde mutabaniwe mu ggye erikuuma pulezidenti oluvannyuma lw’omuvubuka ono okumaliriza emisomo mu ttendekero ly’amagye ery’amaanyi mu Amerika.

Kino kitaputiddwa ng’akamu ku buboneroobulaga okuteekateeka mutabaniwe okulya ebimu ku bifo ebisava mu Gavumenti ne mu magye.

Cyomoro Ivan Kagame 24, ye mwana omukulu owa Kagame ne mukyalawe Jeannette Nyiramongi Kagame 52. Yazaalibwa mu December 1990, e Nairobi.

Mu kiseera kino Kagame yali mu kutendekebwa mu Amerika gye yasindikibwa gavumenti ya Uganda. Kyokka oluvannyuma yavaayo ne yeegatta ku bayeekera abaalumba Rwanda ne bawamba obuyinza mu 1994.

Mu kuteekateeka mutabani, Kagame ow’emyaka 57 yasooka kumuyingiza magye ga Rwanda aga ‘Rwanda Defence Forces (RDF)’ mu 2009 nga wa myaka 18 n’afuna okutendekebwa okusooka era bwe yakumaliriza n’aweebwa eddaala lya Second Lieutenant oluvannyuma Kagame n’amusindika mu Amerika mu ttendekero ly’amagye erimu ku gasingayo ekitiibwa mu nsi yonna eriyitibwa ‘United States Military Academy,(USMA) e West Point mu ssaza lya New York.

Famire ya Kagame mu kampeyini za 2010

Mu ttendekero lino, Ivan yabadde omu ku bayizi bannamukisa 58 okuva mu mawanga 37 abaakaziddwaako erya ‘CLASS OF 2013’ nga baayise mu kutendekebwa okuzibu ennyo olwa pulogulaamu y’ettendekero lino erimu emisoso emizibu olw’obukodyo n’ebintu ebirala eby’ekikugu abayizi bye baayisiddwaamu mu bbanga ery’emyezi 47 gye bamaze nga batendekebwa emisana n’ekiro.

Emisomo gy’ebyekijaasi mu USMA, Ivan yagimaliriza omwaka oguwedde n’addayo e Rwanda nga kati kitaawe yamuyingizza mu ggye erikuuma Pulezidenti wa Rwanda ng’Ofiisa avunaanyizibwa ku kulumika n’okuketta.

Kagame naye nga yatendekebwako mu Amerika mu ttendekero lya bofiisa erya ‘Command and General Staff College e Fort Leavenworth mu ssaza ly’e Kansas, yakyaliddeko mutabaniwe mu Amerika bwe yabadde akyali mu kutendekebwa.

Okuva ku kkono: Obama, Kagame muwala wa Kagame Ange ne Mitchell Obama.

Mu ttendekero lino e West Point, Kagame gye yasinziira n’ategeeza nti yeenyumiriza nnyo mu ttendekero eryo kubanga limanyiddwa mu kuteekateeka ab’akulembeze ab’enkya era kino kyayogeza ab’e Rwanda obwama nti Kagame agenda kukola nga bakulembeze banne aba Afrika abasuumuusa abaana baabwe nga babateekateeka okubasikira ku Bwapulezidenti.

Omukutu gw’amawulire ogwa ‘Think Africa Press’ gwategeezezza nti, Kagame okuyingiza mutabaniwe amagye n’amusindika ne mu ttendekero ery’amaanyi erya USMA, kabonero ak’enkukunala akagala nti aliko by’amuteekerateekera ebinene era ensi teyeewuunya olumu bwe bulikya ng’omwana oyo ye Pulezidenti wa Rwanda.

Kagame yaakafuga Rwanda emyaka 14 okuva mu March 2000 lwe yadda mu bigere bya Pasteur Bizimungu nga kati afuga kisanja kyakubiri eky’emyaka musanvu kye yawangudde mu kulonda kwa August 2010 nga kiggwaako mu August 2017.

Wano era baali mu kampeyini za 2010

Konsitityusoni ya Rwanda eyakolebwa mu 2003 eragira omuntu okufuga ebisanja bibiri byokka wabula abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba nti Kagame akyasobola okukyusa Konsitityusoni n’aggyawo ebisanja ne yeeyongera okufuga.

Abamu ku Bannakibiina kya Rwanda Patriotic Front (RPF) n’abawagizi ba Kagame baatandise okutalaaga eggwanga nga balaga obwetaavu bw’okukyusa mu Konsitityusoni okuggyamu ebisanja, kisobozese Kagame okufuga ekisanja ekirala.

Minisita w’ensonga ez’omunda mu Rwanda Sheikh Musa Fazil Harelimana, yategeeza gye buvuddeko nti Rwanda yeetaaga okuggya ekkomo ku bisanja mu Konsitityusoni yaayo, kiwe omukisa dimokulaase okubukala mu Rwanda nga bannansi balonda abantu baabwe be baagala awatali kubakugira.

Abooludda oluvuganya e Rwanda bakissa ku Kagame nti alina entegeka singa binaaba bitambudde bulungi, Ssemateeka n’akyusibwa, ajja kufuna ekisanja ekyokusatu aveeko mu 2024.

Mu kiseera ekyo ne mutabani we Ivan aliba amaze okuteekebwateekebwa obulungi era aliba omu ku boofiisa b’amagye ab’oku Ntikko. Singa aba RPF balimusemba olwo aliba asobola okukwata enkasi.

Ivan muvubuka mutono muwanvu asinga ne kitaawe. Ivan aliko obuwanvu bwa ffuuti mukaaga ne yinsi mukaaga.

Ebbanga ly’obulamu bwe erisinga alimaze mu Amerika gye yasomera siniya ne yunivatite. Siniya yagisomera mu ‘Brooks School’, mu ssaza ly’e Massachusetts erimu ku masomero agasinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Mu kulonda kwa 2010, Ivan yeenyigira nnyo mu kkampeyini za kitaawe kubanga yamuwerekera kumpi ku buli lukungaana lwa kampeyini ng’ali ne baganda be basatu.

Ange muwala wa Kagame ne mikwano gye.

ABAANA BA KAGAME;
Ng’oggyeeko Ivan, Kagame alina abaana abalala basatu nga bonna bazaalibwa mukyala we Jeannette bwe baakamala mu bufumbo emyaka 25. Baafumbiriganwa mu 1989.

Omwana adda ku Ivan ye muwala Ange Kagame 22, era naye muwanvu asinga kitaawe. Ange Kagame naye ebbanga ly’obulamu bwe erisinga alimaze mu Amerika gy’abadde mu ssaza ly’e Massachusetts gy’asomera.

Mu August wa 2014, Pulezidenti wa Amerika Barack Obama bwe yakyazizza abakululembeze ba Afrika abasoba mu 50, Kagame yawerekeddwaako muwalawe Ange ne beekubye ebifaananyi kyonna nga Ange asinga Obama ne mukyala we Michelle obuwanvu.

Abaana ba Kagame abalala bombi balenzi nga ye; Ivan Kagame ne Brain Kagame. Bombi basomera mu Amerika mu ssomero ly’ekisulo eriyibwa Eaglebrook Junior Boarding School ery’abalenzi bokka nga lisangibwa Deerfield mu ssaza ly’e Massachusetts.

Ivan ne Angel abamu ku baana ba Kagame

 

Ivan ne nnyina muky. Kagame

Wano baali mu kampeyini za 2010

 

Kagame atadde mutabani we mu ggye erimukuuma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....