TOP
  • Home
  • Emboozi
  • DP Ssebaggala yagyabulira mu 2011 ani addako ?

DP Ssebaggala yagyabulira mu 2011 ani addako ?

Added 10th November 2014

EYALI Ssenkaggale wa DP, Dr. Paul Kawanga Ssemogerere atandise kaweefube ow’okutabaganya abakulembeze b’ekibiina ekyo n’aba Ssuubi ng’omu ku kaweefube w’okukituusa mu kulonda kwa 2016 nga kibiina kya muzinzi.

EKIBIINA kya DP kiri mu mivuyo egitakoma egitera ‘okukigwira’ buli kulonda lwe kutuuka. Ahmed Kateregga alaze ekibiina we kiyimiridde ng’abanene mu kibiina balwanira ebifo.

EYALI Ssenkaggale wa DP, Dr. Paul Kawanga Ssemogerere atandise kaweefube ow’okutabaganya abakulembeze b’ekibiina ekyo n’aba Ssuubi ng’omu ku kaweefube w’okukituusa mu kulonda kwa 2016 nga kibiina kya muzinzi.

Ssaabawandiisi wa DP, Mathias Nsubuga Birekeraawo yantegeezezza, nti ensonga z’okutabaganya obukulembeze bwa DP obukulemberwa Nobert Mao nga Ssenkaggale n’owa Ssuubi obwatta omukago ne FDC ne JEEMA ogwa IPC okusimbawo Dr. Kizza Besigye mu kulonda kwa 2016, zaakakasibwa Dr. Ssemogerere nti era zigenda bukwakku.

Yagaanye okubaako ky’ayongerako ng’agamba nti asobola okujjula ebitannaggya.
Mao ye Senkaggale ng’amyukukibwa John Baptist Kawanga, Ssaabawandiisi ye Mw. Nsubuga ng’amyukibwa Dr. Lulume Bayigga,omuwanika Haji isa Kikungwe, omumyuka wa ssenkaggale atwala Buganda, Ssebuliba Mutumba Muddwalira, n’abalala bangi.

Mu ba DP abali mu Ssuubi mwe muli omukwanaganya waayo Mathias Mpuuga Nsamba, Loodimeeya wa Kampala Al Haji Ssaalongo Eria Lukwago, omubaka Betty Nambozoe Bakireke (Mukono Municipality), Moses Kasibante (Lubaga North) , Muwanga Kivumbi (Butambala), Brenda Nabukenya (Mukazi/Luweero) n’abalala.

Gye buvuddeko omumyuka w’omwogezi w’ekibiina, Paul Kenneth Kakande naye yatabuka ne Mao, ne yeegatta ku mukago gwa IPC ogutuula ku Katonga Road.

Nsubuga yagambye nti tebasobola kukkiriza kufiirwa bantu baabwe abali mu Ssuubi, era nti bakola buli ekisoboka okulaba nga babakomyawo ku mugendo bakome okulabika nga kaasa.

Omukulu wa DP mu Buganda, Ssebuliba Mutumba yagambye nti abantu bangi omuli n’aba Ssuubi abasongwamu nti baagala okwesimbawo mu lukiiko ttabamiruka olw’ekibiina olusuubirwa mu February w’omwaka ogujja.

Mu bano mwe muli Mathias Mpuuga ne Dr. Lulume Bayiga abeegwanyiza obwassenkaggale.

                 Aba DP amaanyi g’okuzinira ku mikolo bakyagalina

Mpuuga yategeezezza nti ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse, asobola okwesimbawo okuvuganya ku bwassenkaggale, nti kyokka mu kiseera kino, waakulaba nga DP kigogolwa, buli mmemba akyegazaanyizeemu nga bwe gwabanga edda.
Kyokka Mao naye agamba nti ekisanja ekyokubiri akyakyagala nti era akyogera lunye nti kino ky’ekisanja kye ekinaasembayo.

Ku bumyuka bwa ssenkaggale, mu basongwamu mwe muli abuliko John Baptist Kawanga. Ono baabwefuka ne Mathias Mpuuga ne baawukana nga ba bigwo Kawanga bwe yawangula okusunsulwamu kwa DP kyokka Mpuuga ne yeesimbawo ku lulwe era n’awangula.

Mukasa Mbidde yagala okuvuganya ku bumyuka bwa ssenkaggale mu 2010 ne bakimulemesa nga tannaweza myaka 10 mu kibiina n’abuukayo na bulung’amya mu by’amateeka.

Mathias Nsubuga obwassaabawandiisi akyabwagalira ddala. Kyokka bwe nnayogeddeko naye, teyagaanye oba okukkiriza okuggyako okutegeeza nti ekiseera eky’okulangirira mu butongole ku bifo by’okwesimbawo mu DP tekinnatuuka nti kubanga buli ayagala ajja kuba waddembe okujjuza ffoomu esaba ekifo ky’ayagala okwesimbako. “Ffe ewaffe ebifo byonna bivuganyizibwako…” bwatyo bwe yagambye.

 

Agava ku kitebe kya DP gagamba nti munnamateeka Francis Wazairwahi Bwengye naye ayinza okukomawo avuganye ku bwassenkaggale bw’ekibiina!

Ono yayatiikirira nnyo nga Ssaabawandiisi wa DP mu kulonda kwa 1980, n’agenda mu nsiko okulwana olutalo olwasiguukulula Gavumenti ya Obote ll era n’awaguka ku Dr. Paul Ssemogerere mu mwaka gwa 2000 ne yeesimbawo ku bwapulezidenti mu 2001 ng’ali ne Zachary Olum nga Ssaabawandiisi, Haji Ali Sserunjogi nga ssentebe, Dr.Lulube Bayiga nga Ssaabawandiisi, n’abalala, nti ku luno akomyewo era ayagala bwassentebe bwa kibiina.

Betty Nambooze yandikomawo mu kintu kya DP

BETTY Nambooze eyayatiikirira ennyo ng’omwogezi wa DP ng’amyukibwa Patrick Mwesigwa, kyategeezeddwa nti
bombi ekifo ekyo bakyagala.

Kyalimu Lutukumoi n’asala eddiiro ne yeesogga NRM era n’alondebwa ku bumyuka bwa RDC e Lira.

Ku by’omukago gwa IPC Mw.Msubuga yagambye nti enteeseganya zaagwo bakyazirimu naye nga teyakigenze wala.

 

Wabula bwe yatuuse ku by’okukola ennongoosereza mu mateeka g’okulonda ne mu Ssemateeka yennyini, Nsubuga
yagambye nti babadde ku kizinga e Zanzibar, ng’ebibiina ebikiikirirwa mu Palamenti nga NRM yakulembeddwaamu
omumyuka wa ssentebe atwala obuvanjuba bwa Uganda Capt. Mike Mukula n’omusigire wa Ssaabawandiisi Muky. Dorothy Hyuha, ne babaako bye bakkaanyizzaako nti era biri kumpi okwanjulwa mu Palamenti.

Gye buvuddeko ku mukolo gw’okujjukira omugenzi Ben Kiwanuka, eyali ssenkaggale wa DP, Katikkiro wa Uganda eyasooka era Ssaabalamuzi Munnayuganda eyasooka, Dr. Paul Ssemogerere yeebazizza Pulezidenti Museveni okwanukula ebirowoozo bye bye yassa mu mawulire gye buvuddeko naye n’amusoomooza bagasimbagane mu lukiiko ttabamiruka olw’eggwanga lyonna.

Pulezidenti yagambye nti ogwo mulimu gwa Palamenti. Ebizibu bya DP tebiri mu bukulembeze ku mutendera gw’eggwanga gwonna. Ne mu bitundu, ababaka b’ekibiina bali mu bizibu.

Okugeza mu Bukoto Central, Jude Mbabaali, bammemba ba DP tebamwagalirayo ddala. Bagamba nti
yafuna ekyogyamumiro okuva ew’omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi, n’aggya omusango mu kkooti, gwe yali awaabidde Ssekandi mu 2011, olw’omukubba obululu. 

Kati abakulira DP e Masaka bategeka kuleeta Lukyamuzi Batemyetto y’aba akwata bendera y’ekibiina mu kalulu ka 2016.

Embeera y’emu y’eri mu bitundu ebirala! 

DP ERINA OMUKISA MU 2016?

Kino kye kimu ku bibuuzo ebizibu ensangi zino, kuba ekibiina kyasigala mu mitima gy’abantu, naye abasinga balaga tekirina mukisa kutwala bukulembeze.

Omwaka gumu oguyise, Loodi Meeya Erias Lukwago bwe ‘baamutwala nga kaguddeyo’ okuva mu City Hall,
mu bamu ku be yasongamu olunwe abaamugobya ku bukulu buno yali Norbert Mao.

Lukwago abaddenga akyogera nti Mao yakolagana ne bakansala ba DP ku lukiiko lwa KCCA ne bamusekeeterera okutuusa lwe baamusuula.

Wadde Mao bino abyegaana, naye abadde alwana entalo nga zino bukya alya bwassenkaggale.
Ekibi nti Mao yalemwa okuwangula obuwagizi mu bammemba b’ekibiina mu Buganda. Kye baamukola mu 2011, ebikonge bya DP mu Buganda bwe byegatta ne bikola omukago gwa Ssuubi ate ne gukolagana ne FDC bye
birabika okubaawo naye mu 2016.

Ekibi nti Mao takolagana na FDC okuva lwe yagaana okwegatta ku mukago gwa Inter-Party Cooperation (IPC),
ebibiina ebivuganya NRM mwe byalina okulonda omuntu omu avuganye ku bwapulezidenti okusobola okuwangula Mw.
Museveni.
Mao alowooza nti omukago guno guyamba FDC, nti era okulonda nga kuwedde, abawagizi b’ebibiina ebirala bayinza okulemera mu FDC.

Ebibiina ebivuganya byali era biweze ababaka baabyo okwetaba mu kalulu k’ababaka abanaakiika mu Palamenti ya East Afrika, kyokka Mao n’akkiriza aba DP. Kale, wadde obukuku obumu buyinza okuba nga bwavaawo, era nga Mao ennaku zino abadde mu nkiiko n’abakulembeze ba FDC ne UPC, nga okulonda kwa 2016 kubindabinda, obukuku bwe bumu buyinza okuttuka.

Mu September, Mao yaleeta n’ekirowoozo nti osanga ebibiina ebivuganya bwe bisingawo omuntu omu okuvuganya Museveni mu 2016 kiyinza okusingako, naye ayinza okuba nga kino yakyogera kubanga alaba mu bonna abayinza okuwadaawadako y’asigadde.

Anti Gen. Mugisha Muntu (FDC), Lukyamuzi (CP), Beti Kamya ( UFA) n’abalala tebalina buwagizi nga ye Mao y’alinaalinako! Naye ng’omukago gwa Ssuubi gukyesambye DP ya Mao, sirowooza nti DP erina akakisa konna mu 2016.
Nambooze yandikomawo mu kintu kya DP Betty Nambooze John Kawanga Aba DP amaanyi g’okuzinira ku mikolo bakyagalina.

 

DP Ssebaggala yagyabulira mu 2011 ani addako ?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...

Katikkiro Mayiga (mu kkooti) ng'abuuza ku Ssaabasumba Kizito Lwanga, minisita Muyingo. asembye ku ddyo ye Bp. Ssemwogerere.

'Ssaabasumba abadde assa ek...

Buganda ebadde esula Ssaabasumba Lwanga ku mutima era abadde omutumbuzi w'ennono n'obuwangwa. Mu kufa kwa Dr.Lwanga,...

Okidi ng'alya obulamu ne Nnaalongo we e Kalangala.

Bawangudde okulambula mu bi...

Oluvannyuma  lw'akazannyo akaategekebwa ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board akamanyiddwa...

Kibowa (mu kiteeteeyi ekya kyenvu) n'abakyala be yabadde asisinkanye.

Abakyala basabye Museveni a...

SSENTEBE w'obukiiko bw'abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asabye gavumenti okubongera ssente kibayambe okwongera...