TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Watya Mbabazi asigaza Obwassaaba wandiisi mu ttabamiruka wa NRM?

Watya Mbabazi asigaza Obwassaaba wandiisi mu ttabamiruka wa NRM?

Added 8th December 2014

KU Mmande nga December 15, 2014, Namboole agenda kuwuuma ng’olukiiko ttabamiruka olw’ekibiina kya NRM olusuubirwa okubeera olw’ebbugumu lutandika. Ahmed Mukiibi akulaga by’olina okusuubira mu lukung’aana luno.

KU Mmande nga  December 15, 2014, Namboole agenda kuwuuma ng’olukiiko ttabamiruka  olw’ekibiina kya NRM olusuubirwa okubeera olw’ebbugumu lutandika. Ahmed Mukiibi akulaga by’olina okusuubira mu lukung’aana luno.

Essaawa zinaagenda okuwera  4:00 ez’oku makya ng’abakiise abasoba mu 10,000 bakkalidde buli omu mu bifo kye mu kisaawe e Namboole okumpi  n’e Bweyogerere mu disitulikiti y’e Wakiso.

Notisi eyita olukung’aana luno, Ssentebe Museveni  yagissaako omukono nga October 25, 2014 nga waakayita ennaku mbale ng’olukiiko olufuzi olwa NRM oluyitibwa Central Executive Committee (CEC) lutudde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe nga October 20, 2014, ne lusemba Ssaabawandisi w’ekibiina, Amama Mbabaza okugenda mu  luwummula okutuuka nga December 31, 2014,

Olukiiko lwa CEC  lwasemba Amama Mbabazi okukwasa omumyuka wa Ssaabawandisi, Samali Dorothy Hyuha ofiisi agitambuze ebbanga ly’anaamala mu lumuwwula era mu mbeera eno Hyuha y’ali wakati  mu nteekateeka z’okutuuza ttabamiruka.

Amama yakkiriza okugenda mu luwummula era yawandiikira Ssentebe  Museveni nga October 20, 2014 ng’agamba nti abadde amaze emyaka  mwenda ng’akola emirimu gy’obwassaabawandiisi nga tawummulamu n’olwekyo  atutte ‘liivu’ okuva nga  October 20, 2014 okutuuka  December 31, 2014.

Lwagenda mu   luwummula, Pulezidenti kwe kuyita ttabamiruka nga kino kyaddirira enkiiko  za CEC ez’ekyama   ezaalimu okugulumba okw’amaanyi nga bammemba ba CEC abasinga obungi  batadde akazito ku Amama  Mbabazi alekulira  obwassaabawandiisi  kyokka  ng’agugubye.

Ttabamiruka  ono si wabulijjo era ssentebe  Museveni yayise olukung’aana luno  mu ngeri yanjawulo  okwanjulira abakiise  ensonga  ezigulumbya ekibiina bazinogere eddagala.

Ensonga enkulu ezigulumbya NRM  mu kiseera kino ziri bbiri. Esooka ya kifo kya Ssaabawandisi w’ekibiina ekirimu Mbabazi  n’eyookubiri   Pulezidenti Museveni obutavuganyizibwa mu kamyufu wa NRM  mu nteekateeka  eyatuumiddwa  ‘Sole Candidate’.

Okuggyako entaanya  gye bagamba etta amenvu, ttabamiruka   ono ow’olunaku olumu anaagenda okukomekkerezebwa  nga Amama Mbabazi eyaakamaamulwa ku Bwakatikkiro  wa Uganda, bamaze okumutemerako ettaka, takyali Ssaabawandiisi.

Omusango  gwa Mbabazi si mulala, wabula  yeegwanyiza   ntebe  y’obwassentebe  bwa NRM  n’obwapulezidenti, nga nnanyini  ntebe  zombi   akyali mulamu, n’atuuka n’okukola obubinjabinja n’obukuukuulu mu kibiina,  abamu ku bammemba kye bageraageranya ku mwana ayagaliriza kitaawe olumbe afe ye atwale ebyobugagga!

Pulezidenti Museveni  yagobye  Amama Mbabazi ku bwakatikkiro  bwa Uganda  nga September 18, 2014 n’amusikiza Minisita w’ebyobulamu Dr. Livingstone Ruhakana Rugunda

Oluvannyuma   Museveni yasinziira ku leediyo ya  BBC n’annyonnyola nti ekyamugobezza Mbabazi si kutya kuvuganyizbwa wabula  yabadde tayinza kugumiikiriza muntu atemaatema mu NRM “Sitya  kuvuganyizibwa  kyokka  siyinza kugumiikiriza muntu yenna yeenyigira  mu bikolwa ebyawulayawula mu kibiina”, Museveni  bwe yategeeza.

Mbabazi n’okutuusa  kati tannavaamu mwasi kunnyonnyola ku ntegeka  ze naddala  oba aneesimbawo ku bwapulezidenti,  abamu ku bammemba ba NRM kye bamulumiriza ky’agoba lwa kwesirisa.

Mbabazi wiiki ewedde yategeezezza nti ajja kwetaba mu ttabamiruka  e Namboole  era talina nteegeka yonna ya kutabulatabula lukung’aana luno ng’abamu bwe bakimussaako  kyokka n’akisimbako amannyo nti y’akyali Ssaabawandisi wa NRM  okutuuka ng’ekisanja kye kiweddeko  mu September wa 2015.

Mbabazi yalondebwa ku  bwassaabawandisi wa NRM mu September wa 2010  oluvannyuma lw’okumegga  eyali omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya , Minista Kahinda Otafiire n’abalala. Mbabazi yafuna obululu 5,695, n’addirirwa  Otafiire  n’obululu  1,256,  Polof. Bukenya  n’akwata kyakusatu n’obululu 903.

Wabula ekifo ky’obwassaabawandisi Mbabazi  alabise  okukifiirwa nga bwe yafiirwa obwakatikkiro olw’olukwe olukoleddwa  olukoleddwa  okukimusuuza mu ttabamiruka wa Mmande.

Pulezidenti Museveni ne Mbabazi ku ttabamiruka eyasembayo e Namboole.

Ensonda mu NRM zigamba nti  Pulezidenti Museveni ayagala wabeewo  okukyusaamu  mu buwaayiro obumu obwa Konsitityusoni ya NRM  okwongera ssentebe obuyinza

Obumu ku buwaayiro bwe baagala okukyusaamu,  mu muli n’okuggyawo  enkola ey’olukiiko ttabamiruka okulonda Ssaabawandiisi, obuyinza busigirwe  Ssentebe w’ekibiina  nga ye yeerondera  n’okugoba  Ssaabawandisi  nga talina gwe yeebuuzizzaako.

Okuva  October  25, 2014, Pulezidenti lwe yayisa notisi eyita ttabamiruka ,   wabaddewo akeetalo  nga baminisita n’abakungu ba NRM  batalaaga eggwanga  bagenda bamatiza abakiise  okuwagira  eky’okuwa Ssentebe Museveni  obuyinza okwerondera  Ssaabawandisi.

Mu nkung’aana ze babadde bakuba, baminisita  era babadde  bafalaasira  abakiise  okuwagira ekya Pulezidenti Museveni  obutavuganyizibwa mu NRM  nga kandideeti  w’ekibiina mu kulonda kwa 2016.

Pulezidenti Museveni naye abadde tatudde, azze esisinkana ebibinja by’abakulembeze ba NRM ab’emitendera gyonna  omuli bassentebe ba disitulikiti, bakansala, n’aboobukiiko obufuzi   bonna ng’enjiri ebaliisibwa ya kuwa  ssentebe wa NRM obuyinza okwerondera  Ssaabawandisi n’okuwagira  ekintu kya ‘Sole Candidate’.

Eky’okuwa ssentebe wa NRM obuyinza okwerondera  Ssaabawandisi kyetaagisa kukyusa mu Konsitityusoni ya NRM  era kino mu notisi , Pulezidenti Museveni gye yawadde ng’ayita ttabamirika kiri ku nnamba nnya  (4) ku lukalala lw’ebigenda okuteesebwako.

Ebirala ebigenda okuteesebwako  mulimu okwogera kwa ssentebe, lipoota y’akola nga Ssaabawandiisi, okukubaganya ebirowoozo, okuteesa n’okuyisa ennoongesereza  mu Konsitityusoni  n’ebirala ebinaaba bikkaanyiziddwaako okuteesebwako

Ng’oggyeeko okuwa ssentebe obuyinza okweronda Ssaabawandisi,  waliwo  n’ennongoosereza endala  ssentebe Museveni  z’ayagala zikolebwe mu Konsitityusoni kyokka zikyakuumibwa nga za kyama.

Ensonda mu bakiise ababaddeko mu nkiiko za NRM, Pulezidenti Museveni z’azze atuuza mu muka g’Obwapulezidenti e Ntebe zaategeezezza nti  Museveni ky’asinga okwagala kwe kussaawo obumu  mu kibiina era  waliwo ennoongoosereza mu Konsitityusono z’ayala  aweebwe obuyinza okukangavvula abatemaatema mu kibiina.

Museveni era ayagala,  Ssaabawandisi wa NRM  abeere nga yeemalira mu bujjuvu ku mirimu gy’ekibiina n’agamba nti  embeera  ebaddewo, “ennimiro ya NRM tebaddeeko agikoola era ebadde ezisse nnyo lwa Ssaabawandiisi awambagatanya emirimu.

Ttabamiruka wa Mmande asuubirwa okuba ow’ebbugumu olw’ebigambibwa nti n’oludda lwa Mbabazi lubadde mu kakuyege  nga  lukunga abakiise obutawagira kya Sssentebe kuweebwa buyinza  bwa nkomeredde  kubanga kigenda kutta ekibiina.

Ensonda zaategeezezza nti muka Mbabazi, Jacqueline Susan Mbabazi, y’abadde asisinkana abakiise ba ttabamiruka mu kyama mu bifo ebyekusifu ng’abakuutira obutava mu  bba Mbabazi

Aba Mbabazi bawera nti bajja kulemesa  eky’okukyusa mu Konsitityusoni y’ekibiina okuwa Ssentebe obuyinza okwerondera Ssaabawandisi nga bagamba nti ekyo kubeera kuwamba buyinza bwa  ttabamiruka.

Eky’okuwa ssentebe obuyinza okulonda Ssaabawandisi ng’okitadde ku bbali,  ekintu ekisinga  okubobbya ab’oludda lwa Mbabazi omutwe  kye kya Pulezidenti obutavuganyizibwa mu kamyufu  ka NRM era ekyo bawera okufiirawo e Namboole .

Ab’enkambi ya Mbabazi  bagamba nti baagala abakiise ba ttabamiruka bakiwakanye, Mbabazi n’abalala bonna abaagala okuvuganya Museveni babeere n’eddembe okwesimbawo nga bagamba nti singa Museveni abawangula   mu kamyufu nga bamusimba emabega   kyokka singa  bo (aba Mbabazi) bamuwangula naye (Museveni)  ng’asimba Mbabazi emabega  mu kulonda kwa 2016.

Minisita mu ofiisi ya Katikkiro Polof. Tarsis Kabwegyere  yagambye nti ekizibu kya Mbabazi , kwe kugaana okuvaayo mu lwatu  ng’omusajja ategeeze  eggwanga kiki ky’ayagala wabula asirise busirisi ebbanga lyonna.

Mu lumu ku nkiiko za CEC ezaatudde e Ntebe, kigambibwa nti Katikkiro Rugunda  yeesimbye mu maaso ga Mbabazi n’amugamba nti, “ Ssebo tubuulire ky’oteekateeka, oyagala okuvuganya ku bwapulezidenti oba nedda?’, Kyokka Mbabazi yamutunuulidde butunuulizi nga takkiriza era nga tagaanye!

Mbabazi yategeezezza gye buvuddeko mu mukutu gwe ogwa ‘Twitter’ nti  ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse ajja kwogera enteekateeka ze kyokka n’agamba nti  wa NRM  kaswa, tayinza kuva mu kibiina era tewali asobola kumugobamu.

Buli omu waakufuna emitwalo 50

Enteekateeka z’okutuuza ttabamiruka ziri mu ggiya nnene .

Pulezidenti Museveni yategeeza ab’akakiiko ka CEC  nti  kyetaagisa  obuwumbi nga butaano okutuuza ttabamiruka  n’agamba nti agenda kulaba engeri gy’azinoonya. Buli mukiise asuubirwa okusasulwa ssente ezitakka wansi wa mitwalo 50. Ssentebe Museveni yalonzeewo  obukiiko obw’enjawulo nga bwonna awamu buliko  abantu 47 okuteekateeka olukung’aana luno

ABAGENDA  MU TTABABIRUKA?

 Abantu abasoba mu 10,000 be bagenda okwetaba mu ttabamiruka wa NRM  era mu kiseera kino  abasinga bamaze okufuna kkaadi z’okubayingiza e Namboole.

Muky. Hyuha yategeezezza bannamawulire wiiki ewedde nti  enteekateeka z’okutuuza ttabamirika kyenkana ziwedde nga buli muntu ajja okwetaba mu lukung’aana luno yaweerezeddwa ebbaluwa emuyita.

Hyuha yagambye nti ebitongole  ebyokwerinda bigenda kwekebejja buli anaayingira e Namboole  n’alabula abateekateeka okukola effujjo obuteetantala kulinnya kigere Namboole kubanga bajja kukwatibwa.

Maj. Gen. Jim Muhwezi , akulira akakiiko ak’ebyokwerinda yagambye nti NRM  basazeewo okweyambisa ba RDC  okusengejja  ababiise okukakasa nti ddala abatuufu be baweebwa kkaadi ezibayingiza e Namboole.

Wabula waliwo  abavumirira ekikolwa kya NRM okweyambisa ba RDC nga bannamateeka bagamba nti okwo kumenya mateeka kwennyini kubanga ba RDC bakozi ba  Gavumenti sso si NRM ng’ekibiina.

Abasuubirwa mu ttakamiruka

Abaakakiiko akafuzi CEC, ababaka ba Palamenti aba NRM,  ababaka ba Palamenti ya East Afrika aba NRM,  bassentebe ba NRM aba disitulikiti  n’amagombolola  n’obukiiko bwabwe obufuzi, bakansala ba NRM bonna ab’oku disitulikiti,  ne Munisupaali zonna  mu Uganda, bammemba ab’obukiiko okuli obw’enjawulo okuli: ak’abakozi,  abalema, abasuubuzi, abakyala, Abavubuka, abakadde, Abaazirwanako.

 

Watya Mbabazi asigaza Obwassaaba wandiisi mu ttabamiruka wa NRM?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...