
OLUVANNYUMA lw’omusajja Robert Turyamureeba okuvaayo n’ategeeza nga Kibwetere bwe yafa mu 1998, Dr. Ssembatya nnannyini ddwaaliro lya Busabala Road Nursing Home avuddeyo n’ategeeza nti tekisoboka kuba nga Kibwetere mu 1998 yali afudde.
Yagambye nti ye yamujjanjabako mu 1999 ng’ebula emyezi mitono nnyo ayokye abantu abasoba mu 1000 e Kanungu mu ddiini ye ey’amateeka ekkumi.
KIBWETERE YAJJANJABWAKO MU 1999
Omwami omu Ssekiwala akolera e Juba yampadde amawulire nti Kibwetere yajjanjabwako mu ddwaaliro lya Busabala Road Nursing Home ku lw’e Busaabala mu 1997. Bwe nagenze ku ddwaaliro lino, nnyini lyo Dr. Ssembatya yang’ambye:
Kituufu omuliro we gwayokera abantu, Kibwetere yali mulwadde waffe omwaka gumu emabega, ng’atawaanyizibwa ekirwadde ky’omutwe.
Wabula amannya ge yatugamba gaali si ge gano ge tumanyi . Yeewandiisa mu mannya malala. Ffe twamutegeera omuliro gumaze kwokya bantu nga tulaba ekifaananyi kye ne twewuunya!
Twali twamuwa ekisenge mwe tumujjanjabira wabula ng’ajja n’abakyala babiri nga bambadde ng’abasiisita nga be bamulabirira. Ekyatwewuunyisanga nga bwe tumuwa ekitanda tafuluma bweru!
Abakyala abaali bamulabirira nabo baalabikanga bbalirirwe nga bamuleetedde emmere. Embeera yaabwe yalinga nzibu nga tebaagala kubategeera nnyo.
Bwe yatereeranga, nga basasulirawo nga bagenda. Yajjiranga mu mmotoka y’ekika kya Caribu enzirugavu, olulala nga bamuleetera mu Prado era nga atugamba nti yali avanga Kansanga!
JUDE NATUHWERA
Nze bazadde bange baali ba ddiini eno kuva dda era nange bannyingizaamu nga nkyali muto. Nnali nsomera mu ssomero lya Kibwetere e Rwashamire mu Ntungamo eyo gye nava ne nzira ku ssomero ly’e Kanungu.
Bankyusanga era mu 1992 bandeetako n’e Kampala ku masomero gaabwe. Era nnali nfuuse nga mwana wa waka. Mu luwummula lwa 1999, naddayo ewaffe wabula bwe natuuka, maama n’ansindika ng’ende ewa Kibwetere ndabe ekyali kigenda mu maaso kubanga baali beetegekera ensi okugwawo mu 2000.
Nasanga Kibwetere ali ne Keredonia n’abalala era ne bankakasa nti ensi yali egenda kuggwaawo era Kibwetere yali ayagala nsigaleyo naye Keredonia n’agaana nti nzireyo.
Yangerera olugero olwali lugamba nti, ‘Bwoba olina enjuki n’ozikumamu omuliro ziggwaawo zonna!’ naye ssaalutegeera ekiseera ekyo.
Nze namwerabirako n’amaaso gange mu 1999, kati bwe bagamba nti yafa mu 1998 si kituufu.
''Lwe nnajjanjaba Kibwetere nga muyi mu 1999''