TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Enkyukakyuka 15 mu Konsitityusoni ezinaawoomesa akalulu ka 2016

Enkyukakyuka 15 mu Konsitityusoni ezinaawoomesa akalulu ka 2016

Added 12th January 2015

GAVUMENTI emalirizza entegeka z'okukola enkyukakyuka mu Ssemateeka w'eggwanga okwongeramu obuwaayiro obupya.

Bya Ahmed Mukiibi


GAVUMENTI emalirizza entegeka z'okukola enkyukakyuka mu Ssemateeka w'eggwanga okwongeramu obuwaayiro obupya.

Enkyukakyuka mu Konsitityusoni gavumenti ezireeta okwetegekera akalulu ka 2016, n'okunyweza enfuga ey'ebibiina ebingi.

Konsitityusoni ya Uganda eyabagibwa mu 1995, yaakakyusibwamu omulundi gumu, mu June wa 2005. Ku mulundi ogwo, ababaka baggyawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti ne bakyusa n'enfuga okuva ku ya Muvumenti , ebibiina byobufuzi ebyali byawerebwa mu January wa 1986 ne biggyibwako envumbo.

Gavumenti etegese ennongoosereza 57 z'eyagala okukola mu Konsitityusoni era zaawedde okuteesebwako mu lukiiko lwa baminisita ne zikakasibwa.

Ennongoosereza zino zaasengekeddwa mu lipoota, Ssaabawolereza wa Gavumenti Peter Nnyombi n'aziweereza mu kakiiko akavunaanyizibwa ku kukyusakyusa mu mateeka aka Uganda Law Reform Commission (ULRC) zigattibwe mu birowoozo ebyakung'aanyiziddwa mu bantu ba bulijjo n'ebibiina eby’enjawulo.

Akakiiko ka ULRC kamaze kumpi omwaka mulamba nga kakung'aanya ebirowoozo by'abantu ku bye baagala okulongoosa mu Konsitityusoni era ebirowoozo byabwe byakukwasibwa Minisita w'Ebyamateeka Maj. Gen. Saverino Kahinda Otafiire wiiki eno.

Omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti, Fred Ruhindi yategeezezza nti ng'oggyeeko lipoota omuli ebirowoozo, akakiiko ka ULRC kasuubirwa n'okukola ebbago ly'etteeka omuli ennongoosereza mu Konsitityusoni nga lino (ebbago) lye ligenda okutwalirwa Palamenti omwezi ogujja ng'ababaka bavudde mu ggandaalo.

Wabula ng'ebbago lino terinnatuuka mu Palamenti, lijja kusooka mu kabinenti, baminisita balikubaganyeeko ebirowoozo nga bw'eri enkola ku mateeka amapya gonna gavumenti g'ereeta era bwe linaakakasibwa baminisita olwo, Minisita Kahinda Otafire alyanjule mu Palamenti.

OBUYINZA bwa PULEZIDENTI

Okusinziira ku lipoota omuli enkyukakyuka Gavumenti z'eyagala okukola, Pulezidenti ayongeddwa obuyinza ku bintu eby'enjawulo.

1. Kabinenti yasembye Pulezidenti okuweebwa obuyinza okulonda Baminisita ab'ekiseera, okukola mu bifo eby'enjawulo mu biseera nga Palamenti tennakakasa baminisita nga bwe kiragibwa mu Konsitityusoni.

Kino kitegeeza nti Palamenti ne bw'ebeera tennakakasa baminisita, omuntu yenna asobola okukola mu kifo Pulezidenti ky'abeera amulonzeemu ng'eno Palamenti bw'erindirirwa okubakakasa.

2. Pulezidenti era bamuwadde obuyinza okugoba omuwaabi w'emisango gya Gavumenti (DPP) singa alemwa okukola emirimu gye oba yeeyisa mu ngeri evumaganya ofiisi oba abeera mu mbeera ey'obulamu etemusobozesa kukola mirimu gye.

Mu kiseera kino, Konsitityusoni eragira nti DPP alina okwetongola ng'akola emirimu gye era okuggyibwa mu ofiisi, alina kuyisibwa mu mitendera ng'egigobererwa ng'Omulamuzi wa kkooti enkulu aggyibwa mu ofiisi.

3. Obuyinza obulala obwongezeddwa Pulezidenti mulimu okusalawo ku nkola erina okugobererwa Poliisi y'eggwanga era akatundu 212 aka Konsitityusoni akakwata ku Poliisi kagenda kulongoosebwamu okulambika obulungi obuyinza bwa Pulezidenti.

4. Obuyinza obulala bwe bongedde Pulezidenti bukwata ku bajeti z'ebitongole n'obukiiko bwa Gavumenti obw'enjawulo. Kabinenti esemba Pulezidenti abeere n'obuyinza okusala oba okulinnyisa bajeti y'ebitongole n'obukiiko obwo.

Akatundu 155(2) aka Konsitityusoni kalagira ebitongole n'obukiiko obwetongodde okuweereza bajeti zaabwo era mu katundu 155(3), Pulezidenti talina buyinza kukyusa mu bajeti ezo wabula alina kuziweereza mu Palamenti okukakasibwa kyokka Kabinenti yasembye nti Pulezidenti aweebwe obuyinza okukyusa mu bajeti ezo nga bw'aba asazeewo.

EBYETTAKA

Kabinenti yasembye Pulezidenti okubeera n'obuyinza obulagira ettaka lyonna ery'obwannannyini okutwalibwa, Gavumenti okulikolerako ekintu eky’omugaso eri eggwanga. Kino kigenda kukolebwa ng'akatundu 26 aka Konsitityusoni kakyusibwa.

Akakiiko k'Ebyettaka aka Uganda Land Commission, mu nkyukakyuka empya kagaaniddwa okutunda ettaka lya Minisitule n'ebitongole bya Gavumenti okuggyako nga kasoose okufuna olukusa okuva mu minisitule n'ebitongole ebyo.

ENNONDA Y'AKAKIIKO  K'EBYOKULONDA

Kabinenti era yasembye ennonda y'akakiiko k'Ebyokulonda okukyukamu era akatundu 60 aka Konsitityusoni akakwata ku kakiiko k'Ebyokulonda kagenda kukyusibwamu.

Pulezidenti agenda kusigaza obuyinza okukalonda kyokka ng'ajja kukikola nga yeebuuza ku bakulembeze b'ebibiina byobufuzi.

Ab'oludda oluvuganya Gavumenti bawera obuteetaba mu kulonda kwa 2016 okuggyako ng'ennonda y'akakiiko k'ebyokulonda ekyussiddwaamu nga balumiriza nti akakiiko akaliwo kati akakulirwa Dr. Badru Kiggundu kalina kyekubiira kubanga kaalondebwa Pulezidenti Museveni nga talina gwe yeebuuzizzaako.

Ebirala ebigenda okukyusibwa mu Konsitityusoni

 Konsitityusoni essiddwaamu akawaayiro akalagira omubaka yenna okufuumuulwa mu Palamenti singa agobwa mu kibiina kye.

Abalonzi baweereddwa obuyinza mu Konsitityusoni mwe basobola okuyita okuggya mu Palamenti, omubaka waabwe singa abeera tabakiikirira bulungi.

Konsitityusoni eyongeddwaamu amawanga amalala abiri(2) okuli Abagabo n'Abakingwe.

Kaliisoliiso wa Gavumenti ayongeddwa obuyinza nga kati asobola okuwaaba butereevu emisango mu kkooti nga tayise wa Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Konsitityusoni egenda kussibwamu akawaayiro akalambika nti IGG asobola okuggyibwa mu ofiisi mu ngeri y'emu egobererwa ng'omulamuzi wa kkooti enkulu aggyibwa mu ofiisi.

Emyaka Abalamuzi kwe balina okuwummulira gyongezeddwaamu emyaka etaano nga kati Ssaabalamuzi, omumyuka wa Ssaabalamuzi, akulira Abalamuzi, Abalamuzi ba kkooti ey'oku ntikko bajjanga kuwummulira ku myaka 75 sso si 70.

Ssaabalamuzi aweereddwa obuvunaanyizibwa obulala obw'okubeera ssentebe w'Akakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi.

Abalamuzi ba kkooti ey'oku ntikko bwe banaabanga bawulira okujulira okuvudde mu kkooti etaputa Konsityusoni, bajjanga kutuula Abalamuzi musanvu sso si bataano nga bwe guli kati.

Amatendekero aga waggulu n'amatendekero g'ebyekijaasi galagiddwa okusomesa Konsityusoni y'eggwanga ng'essomo.

Konsitityusoni era egenda kussibwamu akatundu akassaawo akakiiko akagereka emisaala gy'abakozi ba gavumenti akayitibwa “Salaries and Remuneration Board”.

Akakiiko kano kajja kulondebwanga Pulezidenti nga ke kalina okugereka emisaala gy'abakozi ba Gavumenti bonna n'ababaka ba palamenti.

 

Enkyukakyuka 15 mu Konsitityusoni ezinaawoomesa akalulu ka 2016

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu