
Bya Ahmed Mukiibi
WAKATI wa February ne June w’omwaka guno, ebibiina by'obufuzi byonna mu ggwanga bigenda kulangirira abantu be bigenda okusimbawo okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.
Okuggyako NRM emanyiddwa nti ejja kusimbawo Pulezidenti Museveni, aba DP ne UPC bo Konsitityusoni zaabwe zikirambika bulungi nti Pulezidenti w'ekibiina y'abeera kandidate waakyo mu kulonda kw'obwapulezidenti.
Kino kitegeeza nti Nobert Mao ne Olara Amato Otunnu be bagenda okukwata bendera za DP ne UPC mu kalulu ka 2016.
Naye balina kufuba ksigala mu bifo byabwe mu ttabamiruka w'ekibiina ebyo asuubirwa gye bujjako.
Ttabamiruka wa FD wa mu April era mwe banaasalirawo ekibiina gwe kireeta ku bwapulezidenti.
Pulezidenti wa FDC, Maj. Gen. Gregory Mugisha Muntu alina emikisa nga 60 ku 100 okuwangula tikiti ya ya FDC wabula ne Dr. Kizza Besigye, waliwo abakyamulinamu essuubi okuwangula obwapulezidenti!
Omuntu omulala mu FDC ayinza okwesimba ku Muntu mu kamyufu ye mubaka Nathan Nandala Mafabi bwe baavuganya ku bwapulezidenti bwa FDC mu 2013.
Obubiina obutono obusoba mu 30 obuli mu Uganda, nga bulijjo obusinga obungi tebusuubirwa kusimbawo bantu ku bwapulezidenti ng'oggyeeko Federal Alliance ekya Beti Kamya, People Development Party (PDP) ekya Abed Bwanika, ne JEEMA ekikulirwa Asuman Basalirwa.
Waliwo n’abantu abatandise okufuna ekinyegenyege ky’okufuga ku ggwanga lino.
Muno mulimu Loodi Meeya Erias Lukwago, eyali omumyuka wa Pulezidenti. Polof. Gilbert Bukenya, abadde Katikkiro wa Uganda, Amama Mbabazi, Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ne Gen. David Sejjusa.
Kino kitegeeza nti akakonge k'akalulu ka 2016 koolekedde okubaako abantu bano:
Yoweri Museveni, Mugisha Muntu/Dr. Kizza Besigye, Nobert Mao, Olara Otunnu, Erias Lukwago, Gilbert Bukenya, Amama Mbabazi, David Sejjusa, Nandala Mafabi, Abed Bwanika n'abalala.
BESIGYE
Ab'oludda oluvuganya abasuubirwa okwesimbawo mu 2016, tekuli muntu gw'olabamu ssuubi linyeenya Pulezidenti Museveni ne bw'aba Dr. Besigye!
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Wafula Oguttu agamba nti embeera nga bw’eri, ab'oludda oluvaganya bateekwa okukkaanya kati mu muntu omu gwe balina okusimbawo olwo lwe banaawadaawadako mu kalulu ka 2016. Wadde Besigye yaakeesimbawo enfunda ssatu ng'agwa, abantu bangi bakkaanya nti mu bakulembeze b'oluda oluvuganya abaliwo y’abasinza ettuttumu n'emikisa okukamula Museveni akatuuyo mu 2016. Besigye alina enkizo kubanga amanyiddwa mu buli kanyomero k'eggwanga, ate alina emikwano okuva mu mawanga ag'ebweru abasobola okumussaamu ensimbi.
Obuzibu Besigye bw'ayinza okufuna singa addamu okwesimbawo, kwe kumatiza abalonzi nti tabamalirira budde ku luno.
LUKWAGO ATUUSE?
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago y’omu ku bakulembeze abalina ettuttumu era abamu ku batutuuliddwa okukwata enkasi y’eggwanga nga Museveni avuddeko.
Lukwago wa kibiina kya DP kyokka mu kwesimbawo ku bwa Loodi Meeya yavuganya nga talina kibiina n’awangulira waggulu nnyo.
Ng’ebizibu byafunidde mu KCCA obitaddeko ku bbali, Lukwago akyalina ettuttumu ddala mu Kampala n’ebitundu bya Buganda era kigambibwa nti alina enteekateeka y’okwesimbawo ku bwapulezidenti bwa DP okuliivula Nobert Mao n’oluvannyuma avuganye ne Pulezidenti.
Wabula abamu balowooza nti Lukwago yeetaaga okulaga eggwanga nti ettutumu lye mu Kampala ne Buganda lisala Kiyira n’ensalo za Buganda zonna. Ekifo ky’obwameeya Lukwago asobola okukyeyambisa okulamuza obwapulezidenti, bameeya bangi mu Afrika n’ensi yonna bakikoze.
Mao ne Otunnu baakukwata ensawo ya Museveni
POLOF. BUKENYA KAZANYIGIRIZI?
Okuva lwe yaggyibwa mu kifo ky'omumyuka wa Pulezidenti mu June wa 2011, Polof. Bukenya yeesunguusula n'atandika okwogerera NRM ne Pulezidenti Museveni amafuukuule era kati awera kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016.
Ennaku zino, Polof, Bukenya ateetera n'ab’akakiiko ka SDP, era yatandise okulambula ebifo eby’enjawulo mu Kampala ng'agezaako okwepimaapimamu era ndowooza yategedde nti akyalina omulimu munene ddala okumatiza ab'oludda oluvuganya okumussaamu obwesige.
Ekisooka, Bukenya akyali wa NRM, ye ssentebe wa disitulikiti y'e Wakiso ne kkaadi ya NRM agirina lwakuba baamunyiiza abamu kye bagamba nti singa ebyamunyiiza mu NRM bikolwako, ajja kuddayo 'eka'.
Singa yali akitegeeza okwesimbawo mu 2016, yandibadde yalekulira ebifo byonna by'alina mu NRM, n'atandikawo ekibiina kye oba ye yeegatta ku bibiina ebiriwo nga DP oba SDP.
Awo Bukenya yandisobodde okwepipama obulungi amaanyi ge kubanga asobola okuddamu ne yeesimbawo mu Busiro North n'alaga NRM nti akyali w'amaanyi, ne kimuyamba okulaga ab'oludda oluvuganya nti ye muntu omutuufu.
AMAMA MBABAZI
Mbabazi n'okutuuka olwaleero akyagaanyi okuvaamu omwasi ku nsonga yonna okuggyako mpozzi okwogerera ku bantu abalala ng'omuzimu ate nga nabo bye boogera tebikwatagana. Abamu bagamba nti Mbabazi alina ttabamiruka wa NRM avuganya Pulezidenti Museveni ate abalala nti ajja kwesimbawo ku bwapulezidenti k'etonnye ka gwake!
Mbabazi okusirika tekiyambye bawagizi be era abamu batandise n'okuddayo ewa Pulezidenti nga kino kyeyolekedde mu kibinja ky'abavubuka be abeeyita;Poor Youth Forum abakulirwa Adam Luzindana ne Omodo Omodo okusinkana Pulezidenti Museveni ne bamukakasa nti bagenda kumuwagira mu 2016.
MAO NE OTUNNU
Ebyava mu kalulu ka 2011 biraga nti Norbert Mao yafuna obululu 147,917 mu Uganda yonna ate munywanyi we Olara Otunnu owa UPC ye yasobola okufunayo obululu 125,059. Bombi Lukwago yabasinza obululu kubanga yafuna 229,325 mu kampala yekka. Bano mperekeze mu 2016!
NANDALA MAFABI
Omubaka Nandala Mafabi abadde n’ettutumu w’abeeredde ssentebe w’akakiiko akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo. Wabula Maj. Gen. Muntu yamusikamu akatima.
Besigye ne ‘mahogani’ Bukenya ani ayinza okukamula Museveni akatuuyo mu 2016?