TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kayihura avudde mu mbeera naakola enkyukakyuka mubasirikale be, abeekyejo abatutte mu byalo

Kayihura avudde mu mbeera naakola enkyukakyuka mubasirikale be, abeekyejo abatutte mu byalo

Added 14th February 2015

Enkyukakyuka ezaakoleddwa Gen. Kale Kayihura mu baduumizi ba poliisi naddala mu Kampala ziddiridde obumenyi bw’amateeka okweyongera, okwemulugunya kw’abasuubuzi naddala mu Kikuubo. JOSEPH MUTEBI akubye ttooci mu nkyukakyika zino.

Enkyukakyuka ezaakoleddwa Gen. Kale Kayihura mu baduumizi ba poliisi naddala mu Kampala ziddiridde obumenyi bw’amateeka okweyongera, okwemulugunya kw’abasuubuzi naddala mu Kikuubo. JOSEPH MUTEBI akubye ttooci mu nkyukakyika zino.


SSP JAMES RUHWEZA
: Abadde RPC wa Kampala South atwaliddwa Sipi mu Kapachorwa. Ono okuva lwe yafuluma nga kadeti abadde akolera mu Kampala. Yasookera mu Ndeeba nga OC, n’atwalibwa e Kira Road nga DPC gye yava n’akuzibwa okuba RPC wa Kampala South. Abadde muganzi nnyo mu bakama be ne kivaako okugayaala nga tewali amukuba ku mukono.

Abadde afunye amawaggali ng’anyooma abamu ku bakama be. Gye buvuddeko yalumbye omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo mu Kampala n’emiriraano, ACP/ Anatoli Muleterwa ku mawulire ga Bukedde TV ku buvuyo obwali ku ppaaka enkadde baddereeva ba takisi ab’ekiwaayi kya Mayambala bwe balwanagaana n’aba TAPSCOM aba Ssematimba ng’abamu balumiriza Muleterwa okubaako oludda lwawagira. Ruhweza n’agamba nti bagenda kunoonyereza ku Muleterwa ekintu ekyali kityobola mukama we amusinga amayinja.

Alemeddwa n’okukkakkanya olutalo mu Kikuubo, abasuubuzi b’ekibinja kya Mafende nga balwana n’aba Haji Katimbo abalina amaduuka n’akeedi.

SSP JAMES RUHWEZA: Abadde RPC wa Kampala South atwaliddwa Sipi mu Kapachorwa.

SSP /SIRAJE BAKALEKE: Y’abadde RPC wa Kampala East n’azzibwa mu Kampala South. Okutwalibwa mu kitundu kino yayongeddwa buvunaanyizibwa era okuva lwe yafuluma ku bwakadeti abadde akolera mu Kampala.
Yasooka kukulira bikwekweto ku poliisi ya Kampalamukadde n’aweebwa obwa OC oluvannyuma n’afuuka DPC wa Kampalamukadde okumala emyaka etaano era nga ye DPC akyasinze okulwayo.

Yafuulibwa DPC e Kawempe gye yaggyibwa n’afuuka RPC wa Kampala East. Naye muganzi nnyo olw’obukozi n’obutattira bamenyi ba mateeka ku liiso. Teyeebaka asula alawuna era yaweze bw’agenda okufaafaagana n’ababbi.
Muwagizi wa Museveni.

Wadde Musiraamu taliiko ludda lw’awagira. Agamba nti ab’e Kibuli, Kampalamukadde oba awalala bantu ba Allah.
SP/ CEASER Tusingwire: Y’abadde DPC w’e Wandegeya n’asindikibwa Adjumani nga DPC . Abadde n’obutakkaanya obwamaanyi ne SSP/Sam Omara abadde mukamawe ng’ate Omara muganzi nnyo ewa Gen Kayihura olw’enkola ye ey’emirimu.

Abadde alwanyisibwa nnyo abafere ababba abayizi b’e Makerere abawala era nga bakola nnyo okuteeka ssente mu lugambo okumwonoona eri bakama be.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde yayayanjulwa mu bazaala mukazi we ku mukolo ogw’amaanyi ogwamulabisa ng’alina ssente ennyingi banne ze balowooza nti tayinza kuzifuna mu mulimu gwe.

SP/ ANDREW KAGGWA: Yaggyiddwa Adjumani gy’abadde DPC n’awebwa obwa RPC Kampala East.
SP / MICHAEL SABIRA MUSANI: Yafuuliddwa DPC wa CPS ng’ava ku kitebe kya poliisi e Naguru.

SP / Katwalo: Y’abadde akulira poliisi y’e Kiteezi. Yafuuliddwa DPC w’e Wakiso. Disitulikiti erimu obufere obw’amaanyi obw’ettaka ate nga mwetaaga omuntu atatya biduduma atayinza kutiisibwa bafere.

ASP Jackson Mucunguzi: Y’abadde akulira poliisi y’e Makerere. Yafuuliddwa DPC w’e Wandegeya. Akyali muvubuka nvumuulo aweereddwa obuvunaanyizibwa obunene kubanga Wandegeya y’emu ku poliisi ezisinga okukola ku misango eminene.

Bano beebamu ku basirikale abakyusiddwa

ABASERIKALE ABAYIMIRIZIDDWA

SP /Henry Kintu: Y’abadde DPC wa CPS: Kayihura yamwekwatidde nga tatadde baserikale babiri mu bbaasi eyali ebatwala okukuuma ekiro.

Kayihura yatondawo akabinja okumuyambako okulondoola engeri abaserikale gye bakola emirimu. Aduumira poliisi alina okufulumya olukalala lw’abagenze okukola ekiro n’okukakasa nga bagenze ku mulimu. Kayihura bwe yabuuza Kintu yamulimba nti tebaliiwo kyokka nga weebali.
Bakimuteekako okubaako oludda mu mivuyo egiri mu Kikuubo wakati w’ekibinja kya Haji Katimbo ne Mafende.

SP/ Apollo Kyangungu: Y’abadde DPC Wakiso: Ono abali mu bufere bw’ettaka bakoze kinene okumwonoona mu bakama be. Gye buvuddeko Muky. Sarah Namugabi yaggyibwako enju abasamize bwe beekobaana n’abafere. Bino byalema Kyangungu okugonjoola.

AIP Eliatu: Y’abadde avunaanyizibwa ku mirimu ku CPS. Kigambibwa nti abadde attire ku liiso abaserikale abazzizza emisango n’atabatwala mu kitongole ekikwasisa empisa.

ASP/ Aron Baguma: Ye OC wa CPS. Asigadde mu kifo kye yayise ku lugwanyu kubanga obunafu obumuvunaanibwa tebumukwatako butereevu akolera wansi wa Kintu.

Bino bizzeewo nga Kayihura yaakakola enkyukakyuka. Ababadde baduumira ebikwekweto mu Kampala okuli Sam Omara abadde aduumira mu Kampala North n’amuzza ku kuduumira ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano ate Kasalawo ne bamutwala okukulira ebikwekweto by’abatujju e Mayuge ne Busoga yonna.

Aduumira ebikwekweto mu ggwanga AIGP/Andrew Felix Kaweesi yagambye nti Kayihura agezaako okutereeza ebyokwerinda mu Kampala era yeddizza obuyinza ye yennyini okulondoola emirimu bwe gitambula mu kibuga.
 

Kayihura avudde mu mbeera naakola enkyukakyuka mubasirikale be, abeekyejo abatutte mu byalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...