TOP

Ssentamu afudde n'esswaga'

Added 17th February 2015

BW’OYOGERA ku basajja enjasabiggu ne weerabira taata w’omuyimbi Bobi Wine, Mzee Willington Jackson Ssentamu eyakazibwako erya Bulaaya oba ng’atalina ky’okoze.

 Bya JOSEPHAT SSEGUYA  NE HAFSWA NANKANJA

  • Ye yasooka okukola faamu y’ente nnusubulaaya  e Gomba
  • Y’omu ku baasooka okugula mmotoka ya Peugeot ku kyalo

BW’OYOGERA ku basajja enjasabiggu ne weerabira taata w’omuyimbi  Bobi Wine, Mzee Willington Jackson Ssentamu eyakazibwako erya Bulaaya oba ng’atalina ky’okoze. 

Eky’okuleka abaana abasoba mu 40 okuli n’ow’emyaka 4 sso nga Mzee afiiridde ku myaka 80, n’aleka bannamwandu munaana (omu yafa) kyongera kukakasiriza ddala nti Ssentamu abadde musajja Omuganda omutabaazi.
 
Ssentamu yazaalibwa 1935 n’afa ku Lwokubiri nga February 10, 2015. Yaziikiddwa nga February 13, 2015 e Wasinda - Kanoni mu disitulikiti y’e Ggomba. 
 
Eky’okubeera omusawo w’ebisolo mu Ssaza ly’e Ggomba kyamwanguyiza okutabaala Ggombolola n’ebyalo olumu n’asulangayo era olumu yeekanganga akozeeyo amaka. 
 
Ssentamu y’ani?
 
Yazaalibwa wa Mzee Francis Walakira ow’e Bubuule - Mawokota. Baazaalibwa abalenzi babiri n’omuwala omu nga ye mukulu, Ssentamu n’addako.  Taata wa Bobi yalaba ekizibu kya famire n’asalawo okuzaala ennyo.
 
Mulekwa Kabanda Ssentamu ,4, omuggalanda ng’ali ne nnyina omuto.
 
Okusinziira ku kkojja w’oluggya G.W. Ssemukasa, agamba nti ne kitaawe w’omugenzi Ssentamu GW. Walakira naye yali MunnaDP nnyo eyayeekerako ne mu nsiko ne Pulezidenti Museveni era yafiira Lubaga ku lutikko gye yaggibwa ng’olutalo luwedde n’atwalibwa e Bubuule.
 
Nnyina w’omugenzi yali Muky. Mulokole Malita.
 
 
Ssentamu agenda e Ggomba
 
Yasindikibwayo nga musawo wa bisolo nga muvubuka muto yaakava mu ssomero. 
 
Yasomera e Lubaga Boys, St. Savio Kisubi, St. Henry’s College Kitovu n’agenda e Ntebe Veterinary Center gye yakugukira mu busawo bw’ebisolo. 
 
Mu myaka gy’enkaaga nga giggwaako, yagabibwa mu Ssaza ly’e Ggomba okukola ng’omusawo w’ebisolo era gye yakola amaka.
 
Yajjanjabako abantu
 
Fred Nyanzi eyakazibwako erya Chairman nga mutabani w’omufu agamba nti, mu lutalo olwaleeta Pulezidenti Yoweri Museveni mu buyinza, Ssentamu yakolako ng’omusawo w’abantu e Ggomba naddala e Buyanja okuliraana e Maddu gye yakola ‘kiriniki’ oluvannyuma lw’okulaba abantu abafa awataali ddwaaliro. Okujjanjaba abantu yakuyigira ku mukyala we Margret Nalunkuuma eyali omusawo e Mulago nga kati yafa.
Mzee Ssentamu yaliko omutabaganya w’amaka e Kanoni Catholic Church.
 
Eby’obugagga by’alese
  • Alese enju ezipangisibwa za mirundi ena.
  • Amaka agapangisibwa ga mirundi esatu.
  • Ettaka okuli ebirime eby’enjawulo n’ebirala, nga byonna bisangibwa Kanoni mu kibuga.

.........................................................................................................................................

Ebirala ku Mzee Ssentamu....

..........................................................................................................................................

 
Bakyala ba  Ssentamu

Alice Nantumbwe 
 
Ono Ssentamu alese yamuzimbira ennyumba ku kijja e Wasinda we yaziikiddwa. Yamuzaalamu abaana musanvu ng’abasinga basomesa n’abasuubuzi.
 
Namale Ssentamu
 
Ye mukyala wa Ssentamu omukulu era ow’empeta. Abeera Kanoni mu kibuga era w’alina ennyumba n’abaana be 10 we yabakuliza. Abasinga basuubuzi, basomesa ne balooya. 
 
Margret Nalunkuuma 
 
Ono Ssentamu yamusisinkana mu ddwaaliro e Mulago gye yali akolera ogw’obusawo.  
 
Nalunkuuma yazaalibwa omugenzi Modecai Kiyingi eyali abeera e Kamwokya Church Area zooni. Abaana ba Nalunkuuma abasinga bayimbi nga nnyaabwe kuba yayimbiranga mu kkwaaya y’oku lutikko y’e Kasaka.
 
Alina abaana 11 ng’omu yafa. Ye nnyina w’abayimbi omuli: Bobi Wine, Eddie Yawe, Banjoman, Mickie Wine, Bugembe Daks n’abalala.
 
Lwaki yakazibwako erya Bulaaya
 
Ssentamu abadde wa ‘sswaga’ ng’abaana be era yagendako e Bulaaya ate nga y’omu ku Bannagomba abaasooka okuvuga mmotoka ekika kya Peugeot 404 nga mu kiseera ekyo abaalina emmotoka mu Ggomba batono. 
 
Bwe yagattako faamu mwe yaleeta ente za nnusubulaaya era nga y’omu ku basoose olwo ne bamukazaako erya ‘Bulaaya’ ne faamu ye n’agituuma Bulaaya Ranchers.  
 
Ebimujjukirwako
 
Yali musajja wa Dp lukulwe nga mu myaka gy’ensanvu n’ekinaana yaliko ssentebe w’ekibiina kino mu Ssaza ly’e Ggomba. 
 
Kabaka amusiimye
 
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, yaweerezza obubaka obusaasira aba famire ya Ssentamu n’amwebaza okuweerera abaana ate n’abakkiriza okusoma bye baagala na ddala okuyimba. 
 
Yanokoddeyo Bobi Wine Omubanda wa Kabaka, Eddie Yawe n’abalala. 
 
Katikkiro Charles Peter Mayega naye yaweerezza obubaka nga bwonna bwasomeddwa Minisita w’abavubuka e Mengo, Henry Ssekabembe. 

 

Ssentamu afudde n’esswaga’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.