TOP
  • Home
  • Emboozi
  • PETER NYOMBI: Entalo 10 eziyinza okuba nga zaamugobezza mu Gavt.

PETER NYOMBI: Entalo 10 eziyinza okuba nga zaamugobezza mu Gavt.

Added 5th March 2015

PETER Nyombi eyagobeddwa ku bwassaabawolereza abadde musajja kasobeza. Abadde n’enkaayana (ziyite njawukana) kumpi buli wamu!

Bya Ahmed Mukiibi

PETER Nyombi eyagobeddwa ku bwassaabawolereza abadde musajja kasobeza. Abadde n’enkaayana (ziyite njawukana) kumpi buli wamu!

Ekifo kye yagobeddwaamu kirambikiddwa mu Konsitityusoni y'eggwanga naye ye akikoze gadibengalye ng’embwa etunda omuzigo! 

Obuvunaanyizibwa bwe obukulu  bwa kubeera omuwabuzi omukulu owa Gavumenti  n'ebitongole byayo mu byamateeka era y'avunaanyizibwa ku kutaputa Konsityusoni ku lwa Gavumenti.

Kuno kw'agatta obuvunaanyizibwa  obw'obubaga n'okukakasa  kontulakita, n'endagaano zonna eza  Gavumenti n'ebiwandiiko eby'amateeka  ku lwa Gavumenti. Nyombi  ye mubaka wa akiikirira Nakasongola. We baamugobedde ng’abuzaayo emyezi esatu gyokka okukoonola emyaka ena mu kifo kya Ssaabawolereza kye yalondebwamu nga May 27, 2011  ng'adda mu bigere bya Dr. Edward Khidu Makubuya.

Endooliito n'entalo  z'abadde alwanagana ne baminisita banne, abalamuzi, bannamateeka,  ab'ebitongole bya Gavumenti, ababaka ba Palamenti ne bannabyabufuzi abalala  osanga ze zimugobezza.

Pulezidenti Museveni waamukwatidde ku nkoona, Nyombi abadde nti mbiranye ey'amaanyi ne Kaliisoliiso wa Gavumenti ne baminisita abamu naddala ab'omu Minisitule y'ebyenguudo  olwa kontulakita z'ebyenguudo ne pulojeketi ey'okuzimba eggaali ey'omukka.

Ab'ekibiina omwegattira bannamateeka  ekya Uganda Law Society (ULS)  ne Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga bo baasanyuse byansusso era Sipiika Kadaga  mu kuyozaayoza Ssaabawolereza omupya Fred Ruhindi yagambye nti  Pulezidenti yalonze omuntu omutuufu mu kifo ekituufu!

OBUWUMBI 12 EZA LOOYA TWINOBUSIGYE

Mu October wa 2011, Palamenti   yayisa ekiteeso okussaawo akakiiko okubuuliriza ku bigambibwa nti  eyali Katikkiro Amama Mbabazi ne baminisita Sam Kutesa ne Hillary Onek baalya enguzi ya buwumbi n'obuwumbi ku kkampuni y'amafuta eya Tullow okugifunira ddiiru ey'okusima amafuta e Bunyoro

Looya  Severino Twinobusingye yadduka mu kkooti  n'awakanya  Palamenti okussaawo akakiiiko okubuuliriza ku baminisita.

Ssaabawolereza Nyombi yali asuubirwa okuwolereza Palamenti mu kkooti kyokka yeesulirayo gwannagamba okukkakkana ng'omusango Twinobusigye aguwuuse mu December wa 2012.

Ekyasinga okuwuniikiriza Bannayuganda, ze ssente obuwumbi 12 n'obukadde 900,  kkooti etaputa Konsitityusoni ze yasalawo  nti Gavumenti z'eba  eriyirira  Twinomusigye olw'okumegga Palamenti. Ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti teyajulira!

ABAALI ABAKOZI  BA CMB

Abaali abakozi b'ekitongole ky'emmwaanyi ekya CMB 264  abaasalwako ku mirimu wakati wa 1991 ne 1998 baludde nga bali mu kkooti gye baatwala Gavumenti nga babanja akasiimo kaabwe ga  buwumbi 11.

Nyombi yasooka n'awa Pulezidenti amagezi mu  2011 nti abantu abo basasulwe akakiiko kaabwe  kyokka ate ne yeefuula  mu 2013 nti ate  tebasasula okutuusa ng'omusango gumaze okuwulirwa mu kkooti ejulirwamu.

Kino kyatuusa ababaka b'akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byamateeka okumukunya mu September wa 2013 nga beebuuza Ssaabawolereza ki awa okuwabula mu byamateeka okutakwatagana?

GEN. NYAKAYIRIMA

Nga May 24, 2013, Pulezidenti yalonda Gen. Aronda Nyakayirima  nga Minisita w'ensonga ez'omunda.

Waaliwo ensitaano mu Palamenti ng'ababaka bagamba nti Gen. Aronda tasobola kulya bwaminisita okuggyako ng'asoose okuwummula amagye. Kyokka Nyombi  yawandiikira  Palamenti ng'awabula ababaka nti tewali kawaayiro mu Konsitityusoni oba mu tteeka lya UPDF kakugira Gen. Aronda kulya bwaminisita n'anokolayo akatundu  113  aka Konsitityusoni  nti kawa Pulezidenti obuyinza okulonda baminisita  mu bifo by'aba ayagadde.

Oluvannyuma Pulezidenti Museveni yayita ababaka aba NRM nga be basinga obungi ku kakiiko akakakasa abalondeddwa  n'abafaalasira okuyisa Aronda era kye baakola. Waliwo looya Eron Kiiza eyatwala omusango mu kkooti mu June wa 2013 ng'awakanya okulondebwa kwa Aronda era omusango gukyali mu kkooti.

BENJAMIN ODOKI

Nga August 9,  2013, Pulezidenti yawandikira Sipiika Kadaga ng’amutegeeza  bw’agenda okuzza omulamuzi Benjamin Odoki ku bwassaabalamuzi. Kino kyasiikuula emmeeme  ab’akakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi akaali kaasemba abantu abalala basatu mu kifo kino. Odoki yali asussizza emyaka 70.

Ne mu Paalamenti waaliwo okutakkaanya mu kakiiko akakakasa abalondebwa  Pulezidenti nti Odoki  takyasobola kubeera Ssaabalamuzi.

Kyokka ye Nyombi ensonga yaziraba bulala, n’afunvubira okulaba nti Odoki akakasibwa Palamenti era yawandika ebbaluwa za mirundi ebiri ne birema.

Gye byaggweera, omubaka Gerald Karuhanga yatwala Gavumenti mu kkooti era omusango yagusinga mu August  wa 2014,  kkooti etaputa Konsityusoni bwe yasalawo nti okulondebwa  kwa Odoki kutyoboola  Konsitityusoni  bwatyo  Nyombi n’aba nga yatomeza Pulezidenti.

ABABAKA BAKYEWAGGULA

Mu April wa 2013, ekibiina kya NRM kyagoba  ababaka  Mohammad Nsereko, Theodore Sekikubo, Wilfred Niwagaba  ne  Barnabas Tinkasiimire nga balangibwa obwamawale.

Bwe baagobwa mu kibiina, abakulira NRM ne basalawo nti  ababaka abana  bateekwa n’okufiirwa ebifo byabwe mu Palamenti kyokka Sipiika Kadaga mu May wa 2013  yagaana okubagoba ng’agamba anoonyezza akatundu mu Konsitityusoni mw’asinziira okubagoba nga takalaba.

Nyombi yawandiikira Kadaga ng’amulagira okugoba ababaka abo.

Kadaga gwe yagaana, NRM n’eddukira mu kkooti etaputa Konsitityusoni era Pulezidenti Museveni nga ssentebe wa NRM ne Mbabazi eyali Ssaabawandiisi baawa obujulizi obuwandiike  nga beesimye ku kuwabulwa kwa Nyombi.

 Mu kkooti Nyombi nga ssaabawolereza wa gavumenti yalina okuwolereza Palamenti kyokka yasalawo okudda ku ludda lwa NRM, ekikolwa ekityoboola Konsitityusoni.

Emyaka gigenze okwetoola ng’ababaka abana bakyali mu Palamenti oluvannyuma lwa kkooti ey’oku ntikko okusemba basigaleyo!

LOODI MEEYA LUKWAGO

Mu November wa 2013, Loodi Meeya Erias Lukwago yaggyibwamu obwesigye, kanso eyakubirizibwa  Minisita wa Kampala Frank Tumwebaze.

Wabula nga kanso tennatuula, omulamuzi wa Kkooti enkulu Yasin Nyanzi yali amaze okuwa ekiragiro ekiyimiriza Tumwebaze okutuuza kanso era ekiragiro kyali kiweereddwaako Nyombi nga Ssaabawolereza wa Gavumenti wabula n’akiziimula.

Nga Lukwago agobeddwa mu ofiisi, bannamateeka be beekubira enduulu mu kkooti  ne bawangula  nga nga March 28, 2014, omulamuzi Lydia Mugambe bwe yalagira Lukwago adde mu ofiisi.

Wabula  Nyombi yamutyobola bwe yategeeza nti, “ Bwe ng’amba nti abalamuzi  basiru  nnyinza okutegeerwa obubi naye ebikolwa by’abalamuzi  abamu bindeese okulowooza bwentyo!”

GAVUMENTI NE MMENGO

Mu December wa 2014,   Nyombi yategeeza nga Gavumenti bwe yali  eyimirizza ku ntegeka z’okuddizza Mmengo ebyapa by’ettaka n’ebintu bya Buganda ebirala.

Nyombi yategeezezza nti Mmengo yali ekaluubirizza enteeseganya, ebbaluwa ze bagiwandiikira teziddibwamu ne mu nteeseganya mwe bayitibwa tebalinnyayo.

Ab’e Mmengo baagamba nti ekyabatabula ne Nyombi y’engeri ey’ekifuulannenge gye yali ataputa endagaano ya Mmengo ne Pulezidenti wamu n’amateeka era bo kwe kumwesonyiwa.

OLUGUUDO LW’E KATOSI

Bwe kyategeerekeka  mu  September wa 2014 nti  abafere  baali bafeze Gavumenti obuwumbi 24 mu ddiiru y’okukola oluguudo lw’e Mukono-Kyetume-Katosi-Nyenga  olwa  kiromita 74,  kaweefube eyakolebwa ebitongole bya Gavumenti okuli Poliisi, Minisitule y’ebyenguudo, UNRA n’ebirala  okulaba nti embeera etereezebwa n’abafere babasesemya ssente.

Nyombi yawabula Pulezidenti ne Minisitule y’ebyenguudo nti kkampuni ya CICO teteekeddwa kufiirwa kontulakita kubanga ensobi ezaakolebwa EUTAW si zaabwe wabula  ku luno tebaamuwuliriza.  

EGGAALI Y’OMUKKA 

Nyombi we bamukwatidde ku nkoona ng’ali ku mbiranye ne Minisita w’ebyenguudo John Byabagambi n’abakungu ba Minisitule olwa pulojekiti ey’okuzimba oluguudo olw’eggaali ey’omukka .

Entabwe yava ku  kkampuni bbiri eza China; China Civil Engineering Construction Corporation (CCECC) ne China Harbour Engineering Company (CHEC) okubbinkanira  kontulakita  eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...