TOP

Lwaki 'DP Buganda' etabudde Mao

Added 9th March 2015

SSENKAGGALE wa DP, Nobert Mao yatandise oluwummula lw’agenda okumalamu ekiseera ekitali kigere nga takola mirimu gya kibiina. Alugenzeemu ng’akukkuluma olwa kye yayise olukwe lw’abakulembeze ba DP mu Buganda okumusuuza obwapulezidenti bw’ekibiina.

Bya Ahmed Mukiibi

SSENKAGGALE wa DP, Nobert Mao  yatandise  oluwummula lw’agenda okumalamu ekiseera ekitali kigere nga takola mirimu gya kibiina. Alugenzeemu ng’akukkuluma olwa kye yayise olukwe lw’abakulembeze  ba DP mu Buganda   okumusuuza obwapulezidenti bw’ekibiina.

Mao  yategeezezza nti abasawo be baamuwadde amagezi asooke awummule leebuleebu w’ebyobufuzi okusobola okubeera katebule mu kalulu ka 2016.

Agamba nti waliwo  obubondo obutondeddwaawo abamu ku bakulembeze ba DP mu Buganda nga baluubirira okumuggyako nga Pulezidenti wa DP.

Akukkulumira,  omubaka Ssebuliba Mutumba  nti agenda atalaaga  Buganda ng’atondatondawo obubondo obutali mu mateeka.

“Ng’enda kuwandiikira buli ttabi lya DP   nga nnung’amya ekiteekeddwa okukolebwa kubanga waliwo abakola emirimu gy’ekibiina nga tebagoberera mateeka,” Mao bwe yagambye. 

 Mutumba ye mumyuka wa Pulezidenti wa DP atwala Buganda.  Yategeezezza nti tewali kintu kyanjawulo ky'akola  Mao ky'atamanyi. Agamba nti omulimu ogw’okukunga bammemba ba DP mu Buganda yagutandika mu  November wa 2013 era Mao akimanyiiko.

“ Twakizuula nga waliwo okusunguwala  n’okwetemamu  munda mu DP. Enjawukana zaava mu kwetegekera okulonda kwa 2011 naddala mu ttabamiruka w’e Mbale  ne tusalawo ng’aba DP mu Buganda okutandika ku kaweefube w’okukomyawo abantu bonna abaali basunguwadde omuli bammemba baffe abeegatta ku bibiina ebirala n’abamu abaali batandiseewo ekibiina kya SSUUBI”, Mutumba bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti omuwendo gw’ababaka  14 bokka DP b’erina mu Palamenti ey’abantu 380, guswaza era Mutumba yagambye nti kaweefube gwe baliko nga DP  Buganda, kwe kukola ekisoboka waakiri okuweza ababaka 50 mu Palamenti eddako mu 2016.

Mu kaweefube ono, Mutumba agamba nti basobodde okutalaaga Disitulikiti 20 kw’ezo disitulikiti za Buganda 24 era bakyatambula n’annyonnyola nti mu ntegeka eno basobodde okuzza abaali baagenda mu kibiina kya SSUUBI  n’ekibinja  ekiyitibwa eky’oku ‘JOHNSTONE’, edda awaabeeranga ekitebe kya UYD.

“ Abantu nga Loodi meeya Erias Lukwago, Dr. Lulume Bayiga, Sam Lubega Mukako n’abalala tusobodde okubakomyawo era tutambulira wamu”, Mutumba bwe yagambye.

Ssentebe wa DP Buganda, Kato Lubwama yategeezezza nti ekiruubirirwa kyabwe si kuggyako Mao ku bwapulezidenti wabula kuteekateeka Buganda akalulu ka 2016 kagende okutuuka ng’abantu b’omu Buganda basobola okulonda ng’ekitole.

“ Twagala okutuuka mu 2016  nga Buganda yonna obululu bwayo bwa DP olwo kituwe enkizo mu kukola omukago n’ebibiina ebirala. Singa Nandala Mafabi naye anyweza obuvanjuba ne Okumu Reagan n’anyweza obukiikakkono, olwo tusobola okuteesa ku mukago nga naffe tuwera”, Lubwama bwe yagambye.

 Omuwabuzi wa DP mu byamateeka, Fred Mukasa Mbidde,  naye takkaanya na mukama we Mao era agamba nti  Mao yabadde mukyamu okulumba mu lujjudde bakulembeze banne bali mu kuzza obulamu mu kibiina.

Mbidde agamba nti DP, erina abamyuka ba Pulezidenti bana (4) nga buli omu atwala ekitundu kye era akirinako obuyinza obujjuvu  n’olwekyo Mutumba okukunga abantu okuwagira DP  ali mu mateeka.

Wabula Ssaabawandiisi wa DP, Matthias Nsubuga agamba nti Mao tannayimiriza  kaweefube wa Mutumba okukunga abantu wabula yamuwabudde okutambuza pulogulaamu ze ng’agoberera Konsitityusoni ya DP.

Mutumba agamba nti talina  katundu konna mu konsitityusoni ya DP ke yamenye. “ Buli we tutuuse abantu basanyufu era kati bazzeemu okuwanika ekikonde nti ‘DP EGUMIRE’ ekitabaddeewo”, Mutumba bwe yagambye.

EBITABUDDE MAO

Wabula ensonda mu DP zaategeezezza nti Mao abadde akkiriziganya bulungi ne  Mutumba kyokka  emberebezi we yavudde be bantu  abaavuddeyo okwesimbawo ku bifo eby'enjawulo ate okuggyiramu n’abeegwanyiza  ekifo kya Mao.

Konsitityusoni ya DP nga bw'eri kati eragira ttabamiruka okutuuzibwa buli mwaka,  n’ekifo kya Ssenkaggale kivuganyizibweko  mu buli ttabamiruka. Kyokka ttabamiruka yakola kutuuka mu 2010, Mao lwe yalondebwa e Mbale.

Bamemba ba DP ab’enjawulo baagala  Konsitityusoni y’ekibiina essibwemu ekitiibwa, ttabamiruka n’enkiiko z’ekibiina zituuzibwe mu biseera nga bwe birambikiddwa.

 Mu bantu abaagala okwesimbawo ku bwapulezidenti bwa DP kuliko  Loodi Meeya Lukwago, Dr. Lulume Bayiga, Fred Mukasa Mbidde ne Sam Lubega Mukako ate ng'olulalala lusuubirwa okweyongera okuwanvuwa.

Mao bwe yakitegedde nti mu nkiiko Mutumba z’agenda akuba mu Buganda mulimu n’ebyokukyusa obukulumbeze bwe n’ava mu mbeera.

TTABAMIRUKA WA DP WA JUNE 2015

Mao bwe yabadde asiibula yategeezezza nti y’akyali Pulezidenti wa DP, tannalekulira  wabula yagaanyi okukakasa oba addamu okwesimbawo ku bwapulezidenti.

Ku Lwokuna nga February 27, Mao yatuuzizza mu kyama  olukung’aana lwa DP  olufuzi olwa NEC   ku wooteeri ya Eureka e Ntinda  ne yeegeyaamu ne banne ku biki ebituukiddwaako n’ebiremye mu pulogulaamu ze baali bategese okukola wakati wa 2011 ne 1016. Ssaabawandisi Nsubuga yagambye nti bakkiriziganya  ku pulogulaamu y’okuzza obugya ekibiina nga basookera ku kulonda okw’oku byalo okutuuka ku disitulikiti  n’oluvannyuma  beesogge ttabamirukamu wa June 2015  n’okutegeka akamyufu k’ekibiina mu July wa 2015.

AKAKIIKO KA MUTUMBA 

Ssebuliba Mutumba, Dr. Lulume Bayiga, Namayanja Florence,  Kato Lubwama, Samuel James Kibanga, Ivan Bwowe Kakungulu (Pulezidenti w’e Makerere), Ffeffekka Serubogo, Kamulegeya William,  Musa Lusembo, Ssali Bogere, Charles Lubega, Priscilla Nansubuga Kalibbala, Anifa Nabukeera, ne Steven Kaggo be bali ku kakiiko.

Mutumba y’akola nga Pulezidenti w’akakiiko kano, Kato Lubwama ye ssentebe, James Kibanga muteesiteesi ne Musa Lusembo muwanika.

Kato Lubwama agambye nti bakozesa ssente zaabwe okutalaaga Buganda era buli  gye batambula   bamemba ba DP be bassaamu ssente zaabwe kyeyagalire kubanga baagala ekibiina kyabwe.

Ng’oggyeeko akakiiko kano , waliwo n’akakiiko akalala akagazi  nga ka bantu 73 akakolera wansi wa Mutumba.

ABASUNSUDDWAAMU OKWESIMBAWO MU 2016

 • Deo Kiyingi (Bukomansimbi)
 • Namaganda Susan (Bukomansimbi) 
 • Prince Nakibinge Joe (Ntenjeru South)
 • Matovu Judith (Nakifuma
 • Nabukeera Hanifa (Mukono mukazi)
 • Kiwanuka Abdalla (Mukono North
 • Mutema Derek (Mukono South)
 • Jude Mbabaali (Bukoto Central)
 • Babirye M. Kabanda (Masaka mukazi)
 • Muzzanganda David (Katikamu South
 • Ssekitoleeko (Robert Bamunanika)
 • Mukalazi Haruna (Katikamu North)
 • J B Kakooza( Bujumba)
 • Sserwanga Wakibi Mawogola
 • Ssembatya Kiwanuka (Youth Central)
 • Kasita Bukenya (Busiro North)
 • Walusimbi Abubaker (Ntebe municipality)
 • Teddy Nambooze (MPigi mukazi)
 • Dr Kasozi (Mawokoota south)
 • Tebusweke Mayinja (Mawokota North)
 • Ssebuliba Mutumba (Kawempe south)
 • Kawempe North (Latif Ssebagala )
 • Kato Lubwama Paul (Rubaga South
 • Moses Kasibante (Rubaga North)
 • Rajab Ssenkubuge (Makidye East)
 • Makidye West(Allan Ssewanyana)
 • Buikwe South (Dr Lulume Bayiga)
 • Opondo Opondo (Buikwe North)
 • Sserubula Steven (Buikwe West)
 • Bugembe Sylvia (Lwengo)
 • Ntambi Ronald (Bukoto Mid west)
 • Kaggwa Kakuuto
 • Nansubuga Priscilla Kibuuka (Kyotera)
 • Kalanzi Ivan (Kalungu East)
 • Waliggo Aisha (Kalungu Woman MP)
 • Ssewungu Gonzaga (Kalungu West)
 • Lumu Richard (Mityana South)
 • Kibanga Samuel J.(Kyaddondo North)
 • Sempala Ssekigozi (Busiro south)
 • Namagembe Pauline M. (Wakiso  mukazi)
 • Medard Lubega Sseggona (Busiro East
 • Nambooze Betty (Mukono Municipality
 • Muwanga Kivumbi (Butambala)
 • Mathias Mpuuga (Masaka Municipality)
 • Namayanja Florence (Bukoto East)
 • Nabukenya Brenda (Luwero Woman )
 • Kisaakye Harriet (Nakaseke Woman )
 • Florence Nakiwala (Kampala Woman )
 • John Mary Ssebuufu (Kooki)
 • Kyagaba Charles (Gomba)
 • Nassozi Christine (Gomba mukazi )
 • Grace  Nalubega (Rakai mukazi)
 • Dr. Mayengo  (Kalangala mukazi )
 • Kakande Keneth Paul (Nakawa)
 • Dr. Sentongo JBM (Kassanda South)
 • Eddy Yawe (Kyaddondo East)
 • Harriet Kisakye ( Nakaseke Woman )
 • Ssempala Kigozi (Kyaddondo South)
 • Luttamaguzi  Ssemakula (Nakaseke North)
 • Mathias Nsubuga (Bukoto South)
 • Nansikombi Jennifer( Kiboga mukazi)
 • Sekikubo Theodore (Lwemiyaga)
 • Kyewalabye Male Kiboga East)
 • Iga Ronald  (Kiboga West)

Lwaki ''DP Buganda'' etabudde Mao

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....