TOP
  • Home
  • Emboozi
  • OLUBIRI OLUSINGA OBUNENE MU NSI; Abantu 11,000 be balulambula buli lunaku

OLUBIRI OLUSINGA OBUNENE MU NSI; Abantu 11,000 be balulambula buli lunaku

Added 20th May 2015

BULI nsi erina ebyafaayo byayo ebinyuma era ebyanaamiriza. Enjawulo eriwo, z’ensi ezimu okudibaga ebyafaayo byazo ne zisigala kubinyumyako bunyumya mu kifo ky’okubikuuma okusobola okubiraga abaana n’abazzukulu n’okufunamu omusimbi.


Bya AHMED MUKIIBI
BULI nsi erina ebyafaayo byayo ebinyuma era ebyanaamiriza. Enjawulo eriwo, z’ensi ezimu okudibaga ebyafaayo byazo ne zisigala kubinyumyako bunyumya mu kifo ky’okubikuuma okusobola okubiraga abaana n’abazzukulu n’okufunamu omusimbi.

Ezimu ku nsi ezissa ekitiibwa n’okukuza ebyafaayo byazo ye Turkey (Butuluuki). Ensi eno esangibwa wakati mu ntabiro ya Ssemazinga wa Asia ne Bulaaya.

Turkey erina ebyafaayo ebinyuma era ebyanaamiriza naawe by’olabako n’amaaso go awatali muntu mulala okukunyumiza oluusi n’okukulimba gw’ate onaamuwakanyiza ku ki?

Abamu ku Bannayuganda abaalambudde Olubiri Topkapi.

Ku byafaayo bya Turkey ebingi mwe muli n’Olubiri obwaguuga. Lwe lumu ku mbiri ezoogerwako ng’ezisinga obunene mu nsi yonna. Luvuganya embiri endala nga olwa Istana Nurul Iman olwa Kabaka w’e Brunei n’olwa Forbidden City olw’e China.

Wabula Bannansi ba Butuluuki bo balemerako nti olwabwe luno oluyitibwa ‘Topkapi Palace’ lwe lusinga obunene n’obukadde mu nsi yonna. Lukuumibwa amagye essaawa 24. Buli lunaku lufuna abalambuzi abali wakati wa 4,000 ne 11,000.

Olubiri Topkapi nga bwe lufaanana ng’osinzidde mu nnyanja Bosphorus Strait eyawula Asia ku Bulaaya.

Lwatandika okuzimbibwa mu 1459 ne luggyibwako engalo mu 1465 gy’emyaka 9 nga luzimbibwa. W’osomera bino nga lwakamala emyaka 556 era ab’ekibiina ky’ensi yonna abavunaanyizibwa ku byobuwangwa ekya UNESCO kyalutongoza mu 1985 ng’Olubiri olusingayo obukadde mu nsi yonna era ng’ekyobulambuzi ky’ensi yonna “ World Heritage Site”.

Olubiri luno olwazimbibwa ku mulembe gwa Sultan Mehmed ‘The Conqueror’ omu ku bafuzi b’Obwakabaka bwa Ottoman Empire mu kyasa ekya 14.

Okumanya Olubiri luno lunene, ebizimbe byalwo biriko obugazi bwa yiika 173 ng’ate Olubiri ne bbugwe biri ku yiika 8,000.

Abamu ku balambuzi nga basimbye layini bayaayaana okuyingira Olubiri.

Olubiri luno lwebunguluddwa bbugwe wa mayiro 20 bw’oba wa kulwetooloola. Lwazimbisibwa bbulooka ez’amayinja ag’enjazi agakomolebwa mu bwegendereza.

Buli bbulooka emu kumpi eyagala kwenkana emmeeza. Olubiri luno lwawundibwako amayinja ag’omuwendo n’okussibwako eminaala okulwetoolola era bw’oba oli mu nnyonyi, olulengera okyali mu bire.

Ebyafaayo biraga nti Olubiri luno lwazimbibwa abantu abasoba mu 80,000 ng’abamu baalusuulamu n’akaba olw’amayinja okubakuba, abalala baafa bulwadde bwe baafuna olw’okukola ennyo.

Ku ntikko ky’Obwakabaka bwa Ottoman Empire, Olubiri luno lwali lusulamu abantu 4,000 okwali ab’enju ya Sultan wamu n’abakozi mu mitendera egy’enjawulo.

Mu 1923 ng’Obwakabaka bwa Ottoman Empire buggyiddwawo, Turkey lwe yatondebwawo, Olubiri Topkapı Palace lwafuulibwa ekifo eky’ebyafaayo ‘ Museum’, nga April 3, 1924.

Olubiri luno n’ebyafaayo byalwo biddukanyizibwa minisitule ey’Ebyobulambuzi n’Obuwangwa mu Turkey.

Mu byafaayo ebiri mu lubiri luno ng’oggyeeko ebizimbe ebikadde okufa obufi, mulimu entaana z’abamu ku ba Sultan abaafuga Ottoman Empire, engoye zaabwe omuli n’amajolobero, ebyokulwanyisa byabwe okuli emmundu, engabo, emiggo, ebitabo eby’eddiini, n’amateeka kwe baafugiranga, ebikomo, ebitanda, ebintu ebikozesebwa awaka n’ebyobugagga byabwe eby’amayinja ag’omuwendo.

Ekimu ku bizimbe ebikadde mu Lubiri Topkapi ekimaze emyaka 500.

Abalambuzi okuva mu Bulaaya, Asia, Amerika, ne Afrika beekulumulula buli ssaawa okulambula ekifo kino. Okusinziira ku bakungu ba Minisitule ey’Ebyobuwangwa, abalambuzi abali wakati wa 4,000 ne 7,000 be balambula ekifo kino buli lunaku nga mulimu n’abaana b’amasomero okuva mu bitundu bya Turkey eby’enjawulo n’abagwiira okuva mu Bulaaya, Amerika ne Asia.

Okugeza mu 2012, abalambuzi 3,700,000 be baasasula okuyingira mu Lubiri luno.

Okulambula munda mu Lubiri luno kwa kusasula okusinziira ku kifo ky’oyayala okutuukamu nga tikiti ziva ku pawanda 5 (eza Uganda 22,000/- ) okutuuka ku pawunda 10 (eza Uganda 44,000/-).
Bw’osasula pawunda kkumi

OLUBIRI OLUSINGA OBUNENE MU NSI

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...