TOP
  • Home
  • Emboozi
  • By'olina okukwata obweso ku bajeti ya Uganda

By'olina okukwata obweso ku bajeti ya Uganda

Added 14th June 2015

BAJETI y'eggwanga eyasomwa Minisita Matiya Kasaija ku Lwokuna, bannabyabufuzi bangi bagenda kugyesigamako nga ba¬saba abalonzi obululu nga naawe omulonzi kisaana n’oba ng’olina ky’ogimanyiiko, baleme kukuguza mpewo

Bya Margret Nankinga

BAJETI y'eggwanga eyasomwa Minisita Matiya Kasaija ku Lwokuna, bannabyabufuzi bangi bagenda kugyesigamako nga ba¬saba abalonzi obululu nga naawe omulonzi kisaana n’oba ng’olina ky’ogimanyiiko, baleme kukuguza mpewo. Bukedde Ku Ssande akufundirizza bajeti eno mu nsonga 30 z’olina okumanya era ezijja okukuyamba okuba omu¬manyi ku mbeera y’ebyenfuna nga bw’etambula mu ggwanga.
1 Ebyenfuna bya Uganda bibalirirwamu obutabalika 75 n’obuwumbi 183.
2 Ebyenfuna bigenda kukula ebitundu 5.8 ku buli 100 omwaka guno ogw'ebyensimbi 2015/2016.
3 Densite z’eggwanga gavu¬menti ze yaleese zaakukozesebwa bbanka n’ebibiina ebiwozi okusala¬wo omuntu asaanidde okuwolwa ensimbi.
4 Banka y’eggwanga ey’ebyokwekulaakulanya (Uganda Development Bank) gavumenti egyongeddemu essente okuva ku buwumbi 100 okutuuka ku buwumbi 500.
5 Ssente ze tukozesa okusuu¬bula ebintu ebweru zikubisaamu ebiri ezo ze tufuna mu bintu bye tutunda ebweru. ( Okuva mu 2014 okutuuka mu March 2015, twakozesa ddoola obukadde 5,048.9 okusuubula ebyamaguzi ebweru kyokka ne tufuna ddoola obukadde 2,701.6 zokka mu bintu bye twatunda ebweru). Embeera eno egenda kweyongera kuba mbi omwaka guno anti ddoola esuubira okulinnya ebitundu 8.5 ku buli 100.
6 Bbeeyi ya ssiringi bw’ogigeraageranya ne ddoola yeeyongera kugwa buli lukya kubanga bye tusuubula ebweru ebitwetaagisa okuba ne sseente za ddoola bingi okusinga bye tutunda ebweru ebireeta ddoola mu ggwanga.
7 Gavumenti esuubira ok¬wongera ku bungi bw’ebintu bye tutunda ebweru ng’eyita mu makolero agongera omutindo ku birime n’ebiva mu bulunzi
8 Bajeti ya Uganda ey’omwaka gw'ebyensimbi guno gwokka ya buwumbi 23,972.
9 Emisolo gye tusasula gisuubirwa okuvaamu obuwumbi 11,333 so ng'omwaka ogwaggwa gyavaamu obuwumbi 9,799
10 Ebyokwer¬inda bissiddwaako obuwumbi 1,632 n'obukadde 890 ng’okusinga zijja ku¬genda mu kutendeka abakuumaddembe n’okubafunira ebikoz¬esebwa ebiri ku mulembe.
11 Obuwumbi 479 n'obukadde 960 eziteereddwa mu byobulimi n’obulunzi zigenda kusaasaany¬izibwa mu kufunira abalimi ebikozesebwa, okwongera omutindo ku birirme, oku-noonyereza, okukola ebidiba n’okulwanyisa endwadde.
12 Gavumenti ezudde ettaka e Kaweweta ly’eyagala bw’eneeba eriguze okuzimbako ekkolero erisun¬sula ebintu by'etunda ebweru okunaaba ekyuma ky’amata, eky’ennyama, ekikola ebintu okuva mu bibala, ekikola engoye n’ekikola eddagala mu middo.
13 Ensimbi obu¬wumbi 30 n'obukadde 800 zissiddwa mu byabulambuzi.
14 Ssiringi obuwumbi 3,328 n'obukadde 790 zissid¬dwa ku byantambula nga zaakumaliriza en¬guudo omuli: Masaka - Nnyendo, Seeta – Namugongo, Kyaliwajala - Kira, Naalya - Kyaliwajjala - Namugongo Ring Rd (olugenda ku kiggwa ky’abajulizi n’olw'e Nakasongola. Endala ku¬liko; Kampala – Ntebe Express, Mpigi – Kanoni, Kampala Northern Bypass, Kanoni – Sembabule – Villa Maria, Mukono – Katosi/ Kisoga – Nyenga, Mukono – Kayunga – Njeru n’endala mu bitundu bya Uganda ebirala.
15 Enguudo empya ezigenda okutandikibwako kuliko Mity¬ana - Mubende, Kibuye - Ntebe, Kampala – Mu¬kono, Nansana – Busunju, Masaka – Bukakata, Luuka – Kalangala n’endala
16 Ssente zino zigenda kukozesebwa n’okuddaabiriza ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.
17 Abantu abalina obusimu obw’omu ngalo mu Uganda bali obukadde 19 mu emitwalo 50.
18 Abalina yintaneeti bali obukadde buna mu emitwalo 30
19 Obuwumbi 2,029 ezissiddwa mu byenjigiriza zaakukozesebwa okwongera ku bungi bwa ssente gavumenti z’ewa amasomero ga bonna basome, okuzimba amasomero 293, okutendeka abakulu b’amasomero n’abasomesa okwongera ku bungi bwa ssente eziwolebwa abayizi ba ssaayansi ku yunivasite, ng’abayizi 1,000 bagenda kweyongera ku muwendo gw’abayizi 1,201 abaawolebwa omwaka oguwedde
20 Abasomesa ba yunivasite babongezza emisaala nga kati polofeesa afuna obukadde 6 mu emitwalo 30 buli mwezi.
21 Ebyobulamu bissiddwaamu obuwumbi 1,270.8.
22 Okufuna amazzi amayonjo n’ebyobuyonjo bissiddwaako obuwumbi 547 n'obukadde 300 nga zino ziriko ez’okuzimba eddongosezo ly’amazzi e Kinnawattaka.
23 Omusolo ebitundu 10 ku 100 gussiddwa ku migaati n’ebiriibwa ebigwa mu ttuluba lino ne ku bibajje n’ebiweesebwa.
24 Omusolo ebitundu 5 ku 100 gussiddwa ku woyiro w’ebidduka
25 Omusolo gussiddwa ku kuzza obuggya layisinsi z’emmotoka ezisaabaza abantu n’ebyamaguzi.
26 Omusolo ku mmotoka enkadde ezitali za byamaguzi gulinnyisiddwa okuva ku bitundu 20 okudda ku bi¬tundu 35 ku 100 ku mmotoka enkadde ez’emyaka 5 - 10 so nga ezo ezisinzaawo emyaka omusolo gulinnyisiddwa ne gudda ku bitundu 50 ku 100.
27 Omusolo ku paasipoota gulinnye okuva ku 120,000 okudda ku 150,000/- kyokka bw’oba ogyagala mu lunaku lumu osasula 300,000/-.
28 Bajeti etusaba kingi naye era esuubiza kingi nnyo ekitiisizza abantu nti ddala ky’esuubiza en¬eekituukiriza?
29 Gavumenti ya Uganda ebanjibwa obutabalika 22 n'obuwumbi 800 ezirina okusasulibwa nga ziva mu musolo gwe tusasula.
30 Bajeti yakoleddwa ng'esinziira ku kubala abantu akwakaggwa okwalaze nti Banna¬yuganda bali obukadde 34.9.

 

By''olina okukwata obweso ku bajeti ya Uganda

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...