TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri amawanga gye geegatta okulwanyisa omuyaga Escobar

Engeri amawanga gye geegatta okulwanyisa omuyaga Escobar

Added 17th June 2015

WUUNO omuyaga Pablo Escobar akyasinze okussa ensi ku bunkenke. Kyaleetera amawanga okwegatta ne gamussaako ebibiina ebisinga obukambwe okumunoonya ne ssente empitirivu attibwe.


Bya MUSASI WAFFE

WUUNO omuyaga Pablo Escobar akyasinze okussa ensi ku bunkenke. Kyaleetera amawanga okwegatta ne gamussaako ebibiina ebisinga obukambwe okumunoonya ne ssente empitirivu attibwe.

Baali bamulanga okulima, okusuubula n’okukukusa enjaga gye yasaasaanyanga mu mawanga ag’enjawulo omuli Amerika, Mexico, Panama n’olukalu lwa Bulaaya abaaginywanga ne bagwa n’eddalu abamu ne bafiira ddala n’oluusi okulemesa abantu okukola.

Ono ye Pablo Emilio Escobar Gaviria eyali akulira ekibiina ky’abayaga ba Medellin. Yazaalibwa mu 1949 n’attibwa mu 1993 nga ssente z’alina naye tazimanyi muwendo. We yafiira ng’ezimu tajjukira bisaka mwe yazikukulira.

Okumuffeffetta attibwe yali asusse n’okwewaanira mu muze gw’enjaga ng’akaziddwaako n’amannya nga: El Doctor (okulimba abantu nti enjaga ddagala ate ye musawo), El Patron (y’akulira ekibiina ky’abayaga), El Padrino, Don Pablo (yeeyita mugabi wa buyambi), El Senor, El Magico (yali yeeyita mufuusa), El Sar de la Cocaina (akulira abayaga) n’amalala.


Ggeeti eyingira mu maka ge agaali ku yiika musanvu, akanyonyi ke yasooka okugula yakawanika waggulu ku geeti.

OBUGAGGA BWE:
Mu 1993 yali abalirirwamu obuwumbi 30 obwa doola (eza Uganda obuwumbi 90,000). Buli lunaku ng’ayingiza obukadde 60 obwa doola (eza Uganda obuwumbi 180).

Mu 1989 akatabo ka Forbes magazine kaamussa mu bagagga 227 abasinga mu nsi olwo ng’abalirirwamu obuwumbi busatu obwa doola.

GAVUMENTI EMUSSAAKO EKIBONEREZO EKIKAKKALI

Gavumenti ya Colombia yasooka n’emusaba yeeweeyo asonyiyibwe n’agaana. Gavumenti yalangirira okumukwata aggulweko emisango nga bwe gimusinga asibwa emyaka 60.

Emisango egyali gimuvunaanibwa kuliko: Okukukusa enjaga n’okugitunda, ettemu, okutega bbomu, okuwa enguzi, okukunga abantu okulima enjaga, okumala gasaasaanya ssente mu bantu, okugaba enguzi n’ebirala.

Wadde nga Gavumenti yali emunoonya kumutta, abantu ba wansi bamwagalanga nnyo olw’okubawa ssente nga kigambibwa nti ye yassa ne ssente mu ttiimu ya Medellin's Atletico Nacional n’ewangula ekikopo kya Copa Libertadores mu 1989.

YEEWAAYO MU GAVUMENTI
Yasooka ne yeewaayo eri Gavumenti ye eya Colombia mu 1991 nga bakkaanyizza okumusonyiwa emisango egimu kyokka n’atoloka mu kkomera mu 1992 ng’azudde nti ayinza okutwalibwa avunaanibwe mu Amerika awazibu.

Bwe yatoloka, wassibwawo ebitongole ebimuyigga ebyali bikulirwa ekya United States Joint Special Operations Command nga wansi waakyo waliyo US Navy Seals (ekyatta Osama Bin Laden), Delta Force, Centra Spike n’ebirala nga byonna bya Bamerika. Amerika yamussaako ennyonyi enkessi ezeemukettesanga kkamera ez’amaanyi buli w’alaga.

Ekitongole kya Search Bloc nga kiri wansi wa poliisi ya Colombia n’ekitongole kya Los Pepes nga kirimu abantu abatamwagala n’ebirala byetaba mu muyiggo ogwamala emyezi 15.

Mu bbanga eryo, poliisi ya Colombia eraga nti, mu kwetaasa ku bamuyigga Pablo yagula abatemu ne batta abantu 25,100 mu 1991 n’abalala 27,100 mu 1992 abaawangayo amawulire agamukwatako nga ku abo kuliko abapoliisi 600.

Bwe baakwatanga basajja be ng’agulirira abalamuzi ba bayimbule, bwe baagaananga nga ssente z’abadde abawa azissa mu batemu ne battamu abalamuzi.

OLUKWE LW’OKUMUTTA
Olukwe lwava ku Escobar kukuba ssimu era wano Abamerika baakozesa amasannyalaze gaayo okumanya we yali agikubidde kubanga nnamba ye baali bagimanyi ne bamulumba nga tategedde.

Yali awujjaddeko ku kizimbe waggulu ne bamukuba ekyasi n’agezaako okudduka ng’abuuka ekizimbe agwe ku kirala ne bamwongera ekirala mu kutu n’afa.

Kyokka abamuwagira baagamba nti, yetta yekka kubanga yali yabategeezaako nti, bwe balimusalako ng’enjogera bw’eri, alyekuba essasi mu kutu. Yaziikibwa abantu 25,000.

PABLO YASOOKA KUZIIKULA BAFU
Okumanya yali muzibu, yasooka kubbanga mayinja ag’ebbeeyi ge bassanga ku ntaana z’abagagga mu ‘limbo’ n’agaguza abagakolamu ebikomo eby’ebbeeyi. Bwe waabangawo omugagga aziikiddwa n’ebyobugagga ng’emikuufu, nga Escobar ajja kumuziikulayo abikuggyeko abitunde.

YALI MULIMI WA MBOGA
Omusajja ono Pablo Escobar yali mugezi nnyo era ng’akozesa obukodyo obwa buli kika okukukusa enjaga eno. Yalimanga emboga era nga bwe ziba zitandika okusiba nga bagikwekamu.

Bwe zaakulanga nga bazitikka ne zitwalibwa mu Amerika. Emu baagikukusizanga mu mipiira gy’ennyonyi emikadde n’emipya nga bagiyita gya ‘sipeeya’ era Payiroti eyagituusanga mu Amerika ng’afuna doola 500,000.

Yali amanyi okuvuga ennyonyi ng’ate alina n’ez’obwannannyini omuli ez’ekika kya Learjet n’eza nnamunkanga. Akanyonyi ke yasooka okugula, yakassa ku ggeeti y’ekyalo kya mayiro musanvu kye yagula n’azimbako amaka ge ge yatuuma Naples Estate ku kyalo Puerto Triunfo.

Yassaako ekkuumiro ly’ebisolo, awavugirwa mmotoka z’empaka n’emizannyo egy’enjawulo n’ebisanyusa ebirala. Buli lunaku yakukusanga kkiro 1,000.

Abawagizi ba Pablo (ku kkono) nga bawagira ttiimu ye ey’omupiira. Ate ku ddyo, we baalabiranga emizannyo gy’ebisolo.

ATEREKA SSENTE MU NSIKO
Amerika, Colombia n’amawanga amalala gye yatundanga enjaga bassa envumbo ku byobugagga bye ne ssente mu bbanka olwo n’atandika kuzitereka mu biswa, ebibira, ebisaka n’ensuwa nga n’ezimu zaaliibwanga emmese n’enkuyege ne zifa. Buli wiiki yagulanga ‘rabba bbandi’ za bukadde busatu okusiba ssente.

Engeri amawanga gye geegatta okulwanyisa omuyaga Escobar

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...