TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Brig Kasirye Ggwanga alaze engeri gye yakuzaamu abaana be; Yagaana okuzaala mu mukazi atali muganda

Brig Kasirye Ggwanga alaze engeri gye yakuzaamu abaana be; Yagaana okuzaala mu mukazi atali muganda

Added 21st June 2015

LEERO lunaku lwa bataata mu nsi yonna, ng’abantu balukozesa okufumiitiriza ku birungi bakitaabwe bye babatuusizzaako era ‘okubasiima. Munnamagye Brig. Kasirye Ggwanga amanyiddwa ng’omusajja omukambwe, namwatulira, ateeguya era ng’okubamu akafaananyi ku ngeri gy’abeeramu awaka n’engeri gye yakuzaamu

Bya KIZITO MUSOKE

LEERO lunaku lwa bataata mu nsi yonna, ng’abantu balukozesa okufumiitiriza ku birungi bakitaabwe bye babatuusizzaako era ‘okubasiima. Munnamagye Brig. Kasirye Ggwanga amanyiddwa ng’omusajja omukambwe, namwatulira, ateeguya era ng’okubamu akafaananyi ku ngeri gy’abeeramu awaka n’engeri gye yakuzaamu abaana be ne bikulema w’obitandikira.Kyokka eri batabani be ye taata akyasinze:

GARVIN KASIRYE GGWANGA: Taata yatukuza ng’atwagala nnyo era ng’atutambuza mu bifo eby’enjawulo ng’atukubiriza okwetegereza embeera y’ensi. Mmujjukira bwe yatuteekanga ku mmotoka ng’asaba akalulu k’obwassentebe bwa disitulikiti y’e Mubende.

Yatukuliza mu bulamu obweyagaza, ng’atutuusaako buli kyetaago omuli okutuweerera mu masomero amalungi era nze diguli nagisomera Buyindi.

Kye nsinga okumujjukirako kwe kutuyigiriza okukola, wadde twasomeranga mu bisulo, kyokka nga mu luwummula tukola nnyo. Bwe twalimanga ng’atusasulamu ssente ze twaddangayo nazo nga poketi mmane ku ssomero.

Kino kyatuleetera okukolanga ennyo tusobole okufuna ku ssente ezeegasa nga tuddayo. Kyatuyamba nnyo okubeera abakozi mu nsi nga tetweyinudde nti kasita taata alina.

Kyokka yali musajja mukambwe era ng’atukuba n’embooko ng’obadde oso¬bezza. Wayinzanga okumunyiiza n’agenda, kyokka nga wonna w’akomerawo w’atandikira n’abuuza nti, ‘ggwe saabonerezza ajje mmutandikireko’.
Ekintu ekyasinganga okumunyiiza kwe kumulimba, era kino kyatukubyanga.

Yatuyigiriza empisa z’omu bantu, nti bw’obeera obuuza omuntu olina kumutunula mu maaso. Era yatugamba nti omuntu bw’ajjanga okukwewolako n’omulaba nga takutunula mu maaso totawaana kumuwola kuba abeera tajja kukusasula.
Mmwebaza nnyo kuba abaddewo mu bu¬lamu bwaffe, mmwagaliza olunaku olulungi era Katonda agire ng’amuwangaaza kuba tukyamuyigirako bingi.

KASIRYE GGWANGA BY’AGAMBA

Eby’okuzaala nalwirawo ddala, kuba nayingira amagye ku myaka 20 ne nkolera mu bitundu by’eggwanga eby’ewala nga saagala kuzaala mu bakazi batali Baganda.

Oluvannyuma nafuna omukisa ne nsooka nzaalayo omwana omu, wadde nga eby’okuwasa si bye naliko. Obulamu bwange siwasangako mu nkola ntongole emanyiddwa kuba sirina budde obwo.

Abaana nnina abawera, kyokka nga nkyazaala, kuba nze famire yange yonna yafa n’eggwawo era mu kiseera kino ndi mu kulwana lutalo lwa kuzimba kika kirala.

Abaana be nazaalanga mu bakazi ab’enjawulo, kye nasookerangako nga nnina okubabaggyako ne mbeekuliza, bakule nga bali bumu. Kino nakikolanga olw’okuba nalina obusobozi, era abaana bange bonna basomedde mu masomero ga bbeeyi nga Kampala Parents, Agha Khan, Kibuli S.S.S, abalala mu Amerika, Buyindi ne mu mawanga amalala.

Kasirye Ggwanga ne mutabani we Garvin Kasirye

Abakazi bangi be nazaalamu bali mu mawanga g’ebweru, era bano nabagambanga nti bw’oba ogenda kubeera bweru, kakasa nti ogenda n’abaana bo. Eno y’embeera lwaki abaana bange abasinga tebabeera mu Uganda. Ng’Omusajja Omuganda soogera muwendo gw’abaana be nnina.

AMATEEKA KWE NKULIZA ABAANA

Abaana bange nabakuza mu mbeera ya kijaasi, nga bavumu bakozi, era nga ne bw’ojja ng’oli mujaasi si kyangu kubatiisatiisa. Kyokka ate nabagaana okuyingira amagye, kuba ngabonaaboneddemu nnyo.
Nabayigiriza engeri gye basobola okwerwanako mu buli mbeera . Nabalaga nti ensi nzibu nnyo yeetaaga bumalirivu mu buli ky’okola.
Abaana bange mbabuulirira ku ngeri gye balina okweyisaamu, era kizibu nnyo okusanga omwana wange ng’ali mu bintu ebitalina magezi ng’okusiba zzaala. Tebabeera mu bifo bitategeerekeka.

Obukozi kikulu nnyo era nze abaana nabakuza nga mbasasula bwe babeera bakoze omulimu. Sikirinaamu buzibu omwana okumuwa akakadde ka ssente n’akolamu ky’ayagala, kasita abeera ng’ategedde engeri ssente gye zitawaanyaamu.

Ekikulu ku muzadde akuza abaana, weeyambise nnyo akakodyo k’okwogera nabo bajja kutegeera era bakyuse. Abaana babeera bantu nga bategeera era bw’obalaga omukwano bakuwulira, ekizibu kye nafuna nalinganga obudde bwabwe butono olw’emirimu gy’ekijaasi.

Ekirala ekyonoona abaana kwe kubulwa ekyokulya. Omuzadde kakasa nti abaana balya ne bakkuta. Abaana abatakkuta mmere be bataayaaya ku kyalo, era kibanguyira okuzza emisango.

Abaana bo nkyabazaala kuba wadde nnina emyaka 64, naye omusajja takoma nzaalo. Abazadde bakole nnyo kuba obwavu buluma nnyo naddala ng’okuze mu myaka gyaffe.” Brig. Kasirye Ggwanga bwe yayogedde ku famire ye.

 

Brig Kasirye Ggwanga alaze engeri gye yakuzaamu abaana be; Yagaana okuzaala mu mukazi atali muganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu