TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssente z'okwewandiisa mu bibiina; okwesimbawo kw'abagagga bokka?

Ssente z'okwewandiisa mu bibiina; okwesimbawo kw'abagagga bokka?

Added 13th July 2015

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kaalangiridde ssente buli kandideeti ayagala okwesimbiwo mu kamyufu k'ekibiina z'alina okusasula bw'anaaba waakukkirizibwa okuvuganya.

Bya Ahmed Mukiibi
AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kaalangiridde ssente buli kandideeti ayagala okwesimbiwo mu kamyufu k'ekibiina z'alina okusasula bw'anaaba waakukkirizibwa okuvuganya.

Ssente zino zaalangiriddwa ssentebe w'akakiiko kano, Tanga Odoi nga zaakusinziira ku bunene n'obukulu bw'ekifo eky'okuvuganyaako.

Guno gwe mulundi ogusoose mu byafaayo bya NRM okusasuza bammemba ssente nga tebannakkirizibwa kuvuganya ku kifo kyonna. Abakulembeze ba NRM abamu baziwagidde nga bagamba nti ebyobufuzi si mulimu gw'abaavu ate abalala baziwakanyizza nga bagamba nti kubeera kufuula byabufuzi ng'ekyobusuubuzi.

Tanga Odoi agamba nti ssente zino bazitaddewo okukendeeza omuyoolerero gw'abantu omuli ne bannakatemba mu byobufuzi.

Odoi agamba nti ekibiina kisaasaanya ssente nnyingi mu kukubisa ffoomu z'okwewandiisa n'okutegeka okwewandiisa kyokka abantu abamu babadde bagufudde muzannyo okuggyangayo ffoomu oluusi ne batazizzaayo.

"Kati buli aggyayo ffoomu ku kifo kyonna asooka kusasula ssente nga bwe tuzitaddewo", bwe yagambye. Yawagiddwa ssentebe wa LC5 e Luweero era ssentebe wa NRM mu Buganda, Hajji Abdul Nadduli eyategeezezza nti ebyobufuzi si mulimu gwa bateesobola n'annyonnyola nti mu Bungereza atalina ssente takulembera bantu.

"NRM kirina obwetaavu bwa ssente, twetaaga okukola ebintu bingi okutwala ekibiina mu maaso omuli n'okuzimba Movement House. Naye tetujja kubaako kye tukola nga tetuddiza kibiina ", bwe yagambye.

Kyokka buli omu ky'atayogerako, ye atalina ssente talina ddembe lye kwesimbawo okukiikirira abantu bw'aba alina obusobozi?

Abatunuulizi b'ebyobufuzi bagamba nti gye bujja, oyo ayagala okwesimbawo nga talina ssente agenda kutuukirira bagagga abayinza okumussaamu ensimbi.

"Obuzibu bwa kino nti omugagga bw'akuwa ssente ze n'oyitamu, bw'atuuka okunyigiriza abantu nga bwe kiri ku kibbattaka ekiriwo oba okunyigiriza abasuubuzi nga babasasuza ssente z'obupangisa mu ddoola, omubaka oba omukulembeze eyandibadde ayamba abantu anaasobola okuvaayo okulwanyisa omugagga ono?," Elijah Kibirango, dayirekita mu St. Martin's SS Naggalama bwe yabuuzizza.

Kyokka Nadduli agamba nti ssente zino bammemba ba NRM bateekeddwa okuzitunuulira mu mwoyo gw'okuzimba ekibiina!

Agenda okwesimbawo ku kkaadi ya NRM mu Buikwe West, Elizabeth Lugudde Katwe yagambye nti obukadde obubiri NRM z'etadde ku kifo ky'omubaka bwa Palamenti ntono nnyo, bandibadde bazitadde ku bukadde butaano.

"Mu Amerika ne Bungereza, omubaka ateekwa kubeera muntu eyeesobola sso si balucoolo abalowoolereza mu kuyita mu byobufuzi okwesimbawo n'okugaggawala", Lugudde bwe yagambye.
Yagambye nti omuntu yenna nga mwavu bw'atuuka mu Palamenti ky'asooka okulowoozaako kwekubako nfuufu sso si kuteeseza bantu.

Naye Konsitityusoni y'eggwanga eyinza okukkiriza embeera eriwo ng'obukulembeze bwa bantu bamu? Kuba ssente bwe ziremerera mmemba w'ekibiina, ayinza okujja ye ku bubwe ( Independent), naye ekibi nti n'okufuna emikono gw'okwesimbawo olina kukung'aanya abantu 1,000 ekiyinza okukaluubiriza abantu abamu abalina ebirowoozo ebirungi okukiikirira n'okukulembera abantu.

Kyokka Mw. Peter Kabatsi eyaliko omuwabuzi omukulu owa Gavumenti ku by'amateeka era nga kati looya mu kkampuni ya Kampala Advocates agamba nti," Ezo ssente ebibiina bye zitaddewo si za buwaze. Kale ne bw'ogenda mu kkooti yonna toyinza kuwaaba musango n'ogusinga!"

Kino kibi kuba mu Uganda kigambibwa nti abavubuka, abakyala n'abakadde be basinga obwavu. Ezo ssente ebibiina ze bitaddewo bo zinaabanguyira okuzifuna? Bwe kitaba ekyo olwo bo tebalina ddembe kukiikirira bantu mu byabufuzi?

Gye bujja omugagga ne bw'ataabe na birowoozo bitwala ggwanga mu maaso y'ajja okufuuka omukulembeze. Ne bw'aba agenda kwebakira mu nkiiko, naye nga y'alina ssente y'ajja okulondebwa!

Meeya wa Kira, Mamerito Mugerwa yategeezezza nti emitwalo 75 gye batadde ku bammeeya ba Munisipaali si nnyingi wabula ekiseera ekiweereddwa aba NRM tekimala bulungi abantu okwetegekera akamyufu.

Yagambye nti waliwo n'ebintu ebirala akakiiko k'ebyokulonda bye kateekeddwa okukola okukakasa nti wabeerawo obwerufu mu nteekateeka y'akamyufu okwewala embeera ey'abantu okuwakanya ebiyinza okukuvaamu.

Okusinziira ku pulogulaamu eyafulumiziddwa NRM, obumyufu bwakubaawo okuva nga July 20 bukomekkerezebwe nga October 2, 2015 nga buli kifo okutandikira ku bwapulezidenti okutuuka ku LC1 kiweereddwa olunaku.

Odoi yagambye nti enteekateeka zikoleddwa okulaba ng'obuvuyo obwali mu bumyufu bwa NRM mu 2010 tebuddwaamu ku mulundi guno.

Ssente z'okwewandisa, Odoi yagambye nti zakkaanyiziddwaako oluvannyuma lw'okwekenneenya n'okukubaganya ebirowoozo mu bukiiko obw'enjawulo obw'ekibiina.

Akakiiko k'omubaka Nansubuga Ssenninde akassibwawo ssentebe wa NRM okubuuliriza ku mivuyo egyetobeka mu bumyufu bwa NRM mu 2010 mu lipoota yaako kaali kasemba ssente ez'okwewandiisa nga ziri waggulu okusinga ezaassiddwaawo akakiiko ka Odoi.

Akakiiko ka Sseninde kaali kasemba nti abaagala obwapulezidenti ku kkaadi ya NRM basasule obukade 20, ababaka ba Palamenti obukadde busatu, bassentebe ba disitulikiti obukadde butaano ate bakansala 500,000.

MU FDC osasula BUKADDE BUSATU
MU FDC, ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda , Dan Mugarura Bakaki bwe yabadde afulumya ebisaanyizo by'abantu abaagala okwesimbawo ku bwapulezidenti ku kkaadi ya FDC yagambye nti omuntu yenna ayagala tikiti ya FDC waakusasula obukadde busatu n'ekitundu.

Ssente ezo 3,500,000/- ze zaasasuddwa Dr. Kizza Besigye ne Maj. Gen Mugisha bwe baabadde baggyayo ffoomu ez'okwewandiisa, Ssente aba FDC abaagala okwesimbawo ku bifo ebirala, Mugarura yagambye nti zaakulangirirwa ng'ekiseera kituuse.

Gye binaggweera ng'ekiibiina kye kifunyeemu. Ekibiina kijja kwenyweza, naye ye demokulaasi agenda kusigala wa?

Ssente z''okwewandiisa mu bibiina; okwesimbawo kw''abagagga bokka?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...