TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abagagga tebalina musango gwe bazza okudduukirira NRM

Abagagga tebalina musango gwe bazza okudduukirira NRM

Added 23rd July 2015

BANNABYABUFUZI abawakanya ekibiina kya NRM ennaku zino bagenda boogerera bannagagga abaawaayo ensimbi okudduukirira NRM nga bagamba nti baakola ensobi. Kino kitalo!

BANNABYABUFUZI abawakanya ekibiina kya NRM ennaku zino bagenda boogerera bannagagga abaawaayo ensimbi okudduukirira NRM nga bagamba nti baakola ensobi. Kino kitalo!

Abantu abo mbeewuunya kubanga tewali tteeka muntu ly’aba amenye okuvaayo okuyamba omulala oba ekibiina.

Kituufu nti waliwo bannagagga naddala okuva mu Kampala abaawaayo obuwumbi obusoba
mu 16 okudduukirira kaweefube w’okuzimba ekitebe era njagala ku lw’ekibiina okuddamu okubeebaza. Enkola eno tesookedde mu Uganda.

Amawanga omuli Bugirimaani, Canada, Israel, Austria, Mexco, Poland, Budaaki, Spain n’amalala bagyettanira.

Mu NRM tulowooza nti kiba kirungi okutema empenda ezivaamu ensimbi okuyimirizaawo emirimu gy’ekibiina, okusinga okukozesa ensimbi za Gavumenti.

Rogers Mulindwa

Twagala ensimbi za Gavumenti zikole ku bintu birala omuli eby’enjigiriza, ebyobulamu, enguudo, amasannyalaze, eby’okwerinda n’ebirala ebituyamba ffenna.

Endowooza y’abatuwakanya egamba nti bannagagga baatuwa ssente okusobola okufuna ttenda kino kikyamu kubanga ekibiina kya NRM tekigaba ttenda.

Tumanyi bangi abatalina kye batuwa wabula ate be basinga n’okufuna emirimu. Mu 2012, twakola ekintu kye kimu mu wooteeri ya Serena era ne tubaako ensimbi ze twakung’aanya okutuyamba okukola ku nsonga z’ekibiina.

Ng’oggyeeko okutuukirira mikwano gyaffe, tufuna ensimbi okuva mu babaka ba palamenti abakkiririza mu kibiina buli mwezi.

Enkola y’ababaka okutoola ku misaala gyabwe ne bawaayo eri ekibiina kyabwe ekola nnyo mu mawanga nga Cambodia, Bangaladesh, Peru n’amalala.

Mu ngeri y’emu ennaku zino mu kiraba nti buli ayagala okwesimbawo ku mutendera gwonna mu kibiina kyaffe alina omutemwa gwawaayo nga tanneewandiisa. Enkola eno ereetera abawagizi baffe okufuna omutima ogulumirirwa ekibiina.

We twogerera kati, ensimbi ezisoba mu kawumbi ze zaakakung’aanyizibwa. Enjogera kati eriwo ya kukozesa bwerufu era ffe nga NRM tuvuddeyo ne tubalaga we tujja ensimbi ze tukozesa.

Wano we nsabira ab’ebibiina ebirala nabo batulage gye baggya ssente. Gavumenti mu kulumirirwa enkulaakulana y’ebibiina byobufuzi, twaleetawo enkola eyayisibwa Palamenti okubangako omutemwa gw’ensimbi gwe tuwa ebibiina eby’enjawulo nga bigenda mu kulonda.

Ku mulundi guno obuwumbi 10 bwe bwagabanyizibwa ebibiina byonna. Ensimbi zikuweebwa okusinziira ku bungi bw’ababaka b’olina mu Palamenti.

NRM yafuna obuwumbi obusoba mu 7 kubanga tulina ababaka 259 mu palamenti, FDC baafuna 1.14bn nga balina ababaka 37, DP erina ababaka 15 yafuna obukadde 464, UPC n’efuna obukadde 309 olw’ababaka 10 be balina.

Jeema ne CP buli kimu kyafuna obukadde 30 kubanga balina omubaka omu yekka. Ffe nga NRM tujja kugenda mu maaso okunoonya ensimbi.

Buli mmemba wa NRM awulira nga yandyagadde okubaako ettoffaali ly’ateeka mu kibiina tujja kumuwa omukisa okuzitutuusaako.

(Rogers Mulindwa munnamawulire ku kitebe kya NRM e Kyadondo

rogersmulindwa43@ gmail.com, 0772 751829 )

Abagagga tebalina musango gwe bazza okudduukirira NRM

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...