TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ttabamiruka wa DP ayongedde kuziika kibiina ne Lukwago

Ttabamiruka wa DP ayongedde kuziika kibiina ne Lukwago

Added 27th July 2015

TTABAMIRUKA wa DP eyakomekkerezeddwa ku Ssande e Garuga alese ekibiina kyogedde okwabulukukamu okufaananira ddala nga bwe gwali mu 2005 Ssebaana Kizito lwe yalondebwa ku bwassenkaggale ne 2010 Nobert Mao bwe yalondebwa ku bwapulezidenti Genero.

 Bya Ahmed Mukiibi, Hannigton Nkalubo, ne Kigongo Sebalamu

TTABAMIRUKA wa DP  eyakomekkerezeddwa ku Ssande e Garuga  alese ekibiina kyogedde okwabulukukamu okufaananira ddala nga bwe gwali mu 2005 Ssebaana Kizito lwe yalondebwa  ku bwassenkaggale  ne 2010 Nobert Mao bwe yalondebwa ku bwapulezidenti Genero.

Mu ttabamiruka wa 2005 eyali e Namboole, Ssebaana yamegga  Norbert Mao, Nasser Sebaggala ne Polof.  Richard Ebil Ottoo  kyokka Mao n'awakanya ebyava mu kulonda ng'agamba nti yali  asosoddwa ow'eggwanga lye  era  ekisanja kya Ssebaana kyonna Mao yali mu 'nsiko' n'ab’ekiwayi kye.

Ttabamiruka wa 2010  e Mbale,  Mao yamegga Sebaggala kyokka 'Seya' n'awakanya ebyava mu kulonda. Olwatuuka e Kampala n'alangirira bw'avudde  mu DP. Yeegatta ku kibiina kya NDP n'ekyaddirira kunoonyeza Pulezidenti Museveni bululu mu 2011.

Mao amazeeko ekisanja kye ekisoose ng'awakanyizibwa okuva mu kibinja ekyawakanya ttabamiruka w'e Mbale ekyalimu  Loodi Meeya Erias Lukwago, Dr. Lulume Bayiga, Betty Nambooze n'abalala  abeegattira mu kiwanyi kya Ssuubi. Bano baawagira Col. Besigye mu kulonda kwa 2011.

Ebyabadde mu ttabamiruka w'e Garuga,   biraga emyaka etaano egijja,   DP egenda kubaamu  ebiwayi ekya Mao, ekya Lukwago,  ekya Dr. Lulume n'ebirala   eby'abantu abalumiriza nti Mao  takyalina kipya ky'ayongera ku kibiina.

VVULUGU EYABADDE E KATOMI

Ttabamiruka   w'e Garuga yategekeddwa mu wooteeri ya Polof. Gilbert Bukenya eya Katomi Kingdom Resort  wakati mu kwoleka entalo ezoolekedde okusaanyaawo DP  n'okwekengeera  okuli mu bakulembeze  ab'emitendera egy'enjawulo mu kibiina kino.

Kyokka waliwo abagamba nti bammemba abamu baafuna ssente okuva mu NRM ne State House okutabangaula DP! 

Abakiise bangi baavudde e Garuga nga beemulugunya nti ttabamiruka yategekeddwa bubi. Okulonda kwabadde kwakutandika ku Lwakutaano naye kwatuuse ku Lwomukaaga nga tewali kyakoleddwa.

Abakiise  abaabadde 1,743, okulonda kwagenze okutandika ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro ku Lwomukaaga  nga  bangi tebamanyi kyakukola.

Okulonda kwayimiriziddwa nga disitulikiti ttaano okuli Nakaseke , Mpigi, Kiboga, Mbarara, Kanungu abakiise tebannaba kutereeza nkalala zaabwe.

Kino kyataddewo olutalo era Betty Nambooze eyabadde yamaze edda okulangirirwa n’atabuka nti okuggyako nga disitulikiti ezo zikkiriziddwa okulonda tewali kigenda mu maaso  kubanga kigenda kukosa ebinaava mu kalulu.

Okulya n’okusula byatabuse. Kaabuyonjo za wooteeri zaasibiddwa ate ezaapangisiddwa zajjudde mu nnaku bbiri bannyini zo ne bazitwala embeera n’esigala nga ya kugenda kweyamba mu mazzi ga nnyanja!

Mukasa Mbidde ne Mohamed Baswale Kezaala abaayiseemu nga tebavuganyiziddwa, waliwo ekibinja ekyabeemulugunyizzaako nti baggyayo empapula kyokka ne bababuzaabuza nti ekifo kijjudde! 

MAO NE Dr. LULUME

Okuvuganya okw’amaanyi kwabadde ku ntebe ya bwapulezidenti  eyabaddeko Mao ne Dr. Lulume.  Mu kunoonya obululu, abakiise beeyawuddemu nga waliwo abagamba nti baagala DP empanguzi era eyagala okumegga Pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2016

Aba Lulume  nga bagamba nti baagala DP egenda okugatta abasigadde ebweru, etetya kukubwa ttiyaggaasi, eteriimu kweyagaliza yokka mu bakiise era ne DP egenda okuddayo ku nnono eyagalwa abantu. 
Kyokka aba Mao nga  bakira balumiriza kimu nti waliwo abantu abakulembeza amawanga  era ebbanga lyonna baabadde balwanyisa Mao olw'okubanga si Muganda.

Enkambi ya Mao yalaze nti ekibiina kikuumiddwa  bulungi okutuuka ku ddaala lye kiriko wakati mu bulumi bw'ebbula lya ssente n'abakulembeze baakyo abalala ate okukirwanyisa.

Beekwasizza abamu ku  bakulembeze  naddala Lukwago nti akoze kinene okwawula mu bawagizi n'okunafuya DP. 
Issa Kikungwe yategeezezza nti ekibiina kisobodde okufuna obuyambi n'okutegeka okulonda okuva wansi ku byalo okutuuka ku ddaala lya ttabamiruka.

Okulonda  okwabadde okw'okutandika ku ssaawa 3:00 ez'oku makya ku Lwomukaaga , kwakeereye ne kutandika  mu kiro ekyakeesezza Ssande   wabula ebyavuddemu byalangiriddwa ku Ssande akawungeezi.

Ebigambo byeyongedde okuyiting’ana ku Mao, ssentebe w'ekibiina Mohammed Kezaala bwe yatandise olukiiko ku ssaawa 11 ez'olweggulo ku Lwomukaaga nga Mao talabikako kyokka nga Dr. Lulume yeekaaliisa mu kifo kyonna nga n'abawagizi be bayisa bivvulu.

ABA UYD  BEEFUZE TTABAMIRUKA

Abavubuka b’ekibiina kya Uganda Young Democratic (UYD)  baludde nga bazimba akabondo kaabwe mu kibiina okusobola okwenyweza.

Kino abakulembeze baakitebuse ne kyagala n’okubalwanya era ssaabawandiisi w’ekibiina Mathias Nsubuga yakulembeddemu kaweefube n’akikomya. Abakiise mu ttabamiruka baasazeewo okuyingiza UYD ng’ekibiina ky’abavubuka ba DP ekikolera wansi wa ssemateeka waabwe.

Kino we kyajjidde nga Ssaabawandiisi Nsubuga batandise okumuyisaako ebyama nga tabitegedde nga bikolebwa omumyuka we Vincent Mayanja era Nsubuga yakozesezza obuyinza bwe ne yeddiza ebiwandiiko ne kalonda w’entegeka za ttabamiruka.

OKUSIBIRA ABALALA OBWERU

Olukiiko olubadde lutegeka ttabamiruka lwalangirira nti okuggyayo empapula eri bonna abaagala ebifo kwaggalwawo dda ng’ebula wiiki nnamba ttabamiruka atuule . Kino abamu ku bamanyi ttabamiruka w’ekibiina baakisambajja kyokka abaali ku kakiiko akategesi ne bawera nti asigadde nga taggyeeyo mpapula takyalina mukisa.

Kino Nambooze ne banne baakiwakanyizza nga bagamba nti ttabamiruka eyatudde y’alina obuyinza obwenkomeredde okukyusa era omuntu ayagala ekifo alangiririra awo mu ttabamiruka nti akyagala. Kino kyayiseewo bukolokolo era Nambooze ne banne ne bakkirizibwa okwesimbawo. 

LUKWAGO  GAMWESIBYE

Ttabamiruka eyabaddemu abakiise 1,743 , abatunuulizi okuva mu bibiina eby’obwannakyewa eby’enjawulo naddala CEDU ssaako abakozi omuwendo ne gutuuka ku 2000, ayogedde nnyo ku Loodi meeya Erias Lukwago ne banne.

Awali abakiise 10, nga mukaaga boogera ku Lukwago ne banne abataagenze mu ttabamiruka. Abamu baataddewo n’ebigambo nti Nambooze engeri gy’abeegasseeko, ne Lukwago ne banne ekiseera kyonna batuuka ekyayongedde ebbugumu mu ttabamiruka.

Bangi ku baabadde baagala ebifo mu kunoonya obululu nga bateekwa okuyingiza ebigambo by’okwegatta ku Lukwago nga balondeddwa ekibiina kyeyongeremu amanyi.
 

Ttabamiruka wa DP ayongedde kuziika kibiina ne Lukwago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....