TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abawala embeerera 38 bafudde bagenda kuzinira Mswati III

Abawala embeerera 38 bafudde bagenda kuzinira Mswati III

Added 1st September 2015

ABAWALA embeerera 38, abaabadde bagenda okuzina ‘Ekifule’ (okuzinira mu maaso ga Kabaka wa Swaziland Mswati III alondemu omukazi owa 15 baagudde ku kabenje ne bafa mu ngeri ey’entiisa.

Bya Musasi waffe

ABAWALA embeerera 38, abaabadde bagenda okuzina ‘Ekifule’ (okuzinira mu maaso ga Kabaka wa Swaziland Mswati III  alondemu omukazi owa 15 baagudde ku kabenje ne bafa mu ngeri ey’entiisa.

Omukolo guno gubaawo buli mwaka, era Mswati III bw’amala okulondamu omuwala gw’ayagadde olwo n’abakungu be ne balonda abaabwe. Omukolo gwefaanaanyirizaako Ekifule ogwakolebwanga mu Lubiri mu Bakabaka ab’edda.

Akabenje kaaguddewo ku Ssande, kyokka amawulire agamu gagamba n ti abawala baabadde 38, 11, 13  n’emiwendo emirala.  

Abawala baabadde beeyippye ku loole, eyatomereganye n’emmotoka endala. Omuwendo gwasoose kuwaawaazibwa ng’abalwanirizi b’eddembe abasinziira e Johannesburg mu South Afrika bagamba nti abawala 65 be baabadde bafudde.

Omwogezi wa Poliisi y’e Swaziland, Lucky Lukhele yategeezezza nti abawala 13 be baafudde. 

Omukolo guno gubeerawo buli mwaka nga ku luno gwategekeddwa nga August 30. Abawala embeerera beetikka ensekese z’emmuli ze bakwata obusimba ne batambula nga bayimba bazina basunda amabeere okuyita mu maaso ga Mswati III olwo n’alondamu omu gw’agatta ku bakyala be era buli mwaka ayongerako.

Omukolo guyitibwa Umhlanga, nga guli mu buwangwa bwa Swaziland era emmuli ze beetikka zibeera za kuzimba bbugwe ku Lubiri lwa Namasole.

Enkola eno ezze erwanyisibwa ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu nga bagamba nti yeeyolekeramu okutyoboola eddembe ly’abaana abawala.

Ebibiina ebigirwanyisa kwe kuli Swaziland Solidarity Network (SSN) era kye kyabadde kibise abantu 65. Omukolo gwabaddewo eggulo ku Lubiri e Ludzidzini.

Abawala embeerera 38 bafudde bagenda kuzinira Mswati III

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...