TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emyaka 65, enju Paapa Paulo VI gye yasulamu e Nsambya ekyali kalibobbo

Emyaka 65, enju Paapa Paulo VI gye yasulamu e Nsambya ekyali kalibobbo

Added 14th September 2015

PAAPA Francis ajja kubeera Paapa waakusatu okukyala kuno. Eyasooka Paapa Paulo VI (omwesiimi) yajja kuno mu 1969 ate Paapa John Paul (Omutuukirivu) ye n’ajja mu 1993.

Bya Juliet Lukwago

PAAPA Francis ajja kubeera Paapa waakusatu okukyala kuno. Eyasooka Paapa Paulo VI (omwesiimi) yajja kuno mu 1969 ate Paapa John Paul (Omutuukirivu) ye n’ajja mu 1993.

Fr. Francis Xavier Tebukozza (67), omu ku basosodooti abakolera mu kigo ky’e Nsambya, era eyaliwo nga Paapa Paulo VI, ajja atunyumiza bye yalaba na wa gye yasula:

Paapa okujja mu 1969 nze nnali nkuuma entebe y’omukung’anya w’olupapula lwa Munno.

Mu kiseera ekyo nnali nnaakamala emyaka ena mu busosodooti. Nzijjukira Paapa Paulo VI yasula Nsambya, enju kati Kalidinaali Emmanuel Wamala mw’asula.

Fr. Tebukozza

Mu budde obwo, eno y’ennyumba omwasulanga Ssaabasumba Amelio Poggi, eyali omubaka wa Paapa mu kiseera ekyo.

Ennaku zino amaka g’omubaka wa Paapa gali ku lusozi Mbuya.

Bangi twali tulowooza nti Paapa ajja kusula mu maka ga Ssaabasumba eyaliwo mu budde obwo e Lubaga, Emmanuel Kiwanuka Nsubuga (oluvannyuma eyafuuka Kalidinaali Nsubuga) kuba ye yali kamukyaza ate nga ye yamuyita mu 1967.

Kyokka Paapa yasalawo kusula wa mubaka we e Nsambya. Mu kaseera kano enju eyitibwa “Bishop’s house” Kalidinaali Wamala mwe yawummulira.

Ekirala ekyatwewuunyisa, ku kitiibwa kya Paapa okulondawo okusula ku kyalo Nsambya, sso nga waaliwo Sheraton Hotel eyali ennene obulungi ate nga yakitiibwa!

Nze kino kyampa eky’okuyiga kinene mu bulamu bwange ate ne mu buweereza bwange, kubanga okulaba omuntu omunene bwatyo n’alondawo okusula ku kyalo kyaffe kino Nsambya kiraga obwetoowaze obw’ekika ekya waggulu.”

Fr. Tebukozza agamba nti Uganda yatandika okufuna omubaka wa Paapa nga September 2, 1966. Okusooka, Eklezia mu Uganda yali etwalibwa omubaka wa Paapa eyabeeranga e Kenya, ng’ekitebe kiri Mombasa.

Okusinzira ku Bwanamukulu w’ekigo ky’e Nsambya, Fr Christopher Kiwanuka, enju Paapa Paulo VI mwe yasula erabika bulungi, yazimbibwa mu 1950 naye yasigaza oluggya lwayo olw’omulembe.

Yazimbibwa Bishop Vincent Billington eyali ow’ekibiina kya Mill-Hill Missionary (M.H.M).
Esangibwa mu kigo ky’e Nsambya mu Ggogonya Zooni.

 

 

Emyaka 65, enju Paapa Paulo VI gye yasulamu e Nsambya ekyali kalibobbo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...