TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abacuba beebazizza Paapa olw'enkolagana ne Amerika

Abacuba beebazizza Paapa olw'enkolagana ne Amerika

Added 21st September 2015

ENKUYANJA y’abantu baakung’aanidde mu kibangirizi kya Revolution Square mu kibuga Havana ku mmisa, Paapa Francis gy’asoose okuyimba mu Cuba gye yatuuse ku Lwomukaaga.

HAVANA, SSANDE

ENKUYANJA y’abantu baakung’aanidde mu kibangirizi kya Revolution Square mu kibuga Havana ku mmisa, Paapa Francis gy’asoose okuyimba mu Cuba gye yatuuse ku Lwomukaaga.

Wakati mu mpewo ekunta, Paapa yayimbye mmisa ekyasinze obunene mu byafaayo bya Cuba nga yeetabiddwaamu abantu ab’ebiti eby’enjawulo omuli abanene mu Gavumenti, abaavu abeeyaguza olugyo, abawanvu n’abampi, abalema abeewalula, abaana, abakadde bakinvinvi bonna tebaalutumiddwa mwana.

Empewo yafuuye enkoofiira ye nga yaakatuuka e Cuba.

Ebyokwerinda byabadde ggulugulu n’ennyonnyi ennwaanyi nga zirawuna mu bwengula, ate ku nnyanja ezeebulunguludde ensi eno ey’ekizinga ng’emmeeri ennwaanyi nazo zitunuzza emizinga mu buli ludda okutangira ab’emyoyo emibi abayinza okukola obulabe ku Paapa n’abagoberezi ba Kristu.

Mmisa yeetabiddwaako Pulezidenti wa Argentina, Cristina Kirchner eyeegasse ku Pulezidenti wa Cuba, Raul Castro okwaniriza Omutukuvu Paapa Francis eyatandise obugenyi obw’ennaku 10 mu Cuba ne Amerika.

Paapa yavudde Roma gye yalinnye ennyonyi ey’Obwapaapa ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Fiumicino n’atuuka e Cuba ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Jose Marti International Airport mu kibuga Havana we yayaniriziddwa mu bitiibwa.

Pulezidenti Castro n’abakungu ba gavumenti ya Cuba baalindiridde Paapa Francis ne bamwaniriza mu ssanyu n’ebitiibwa.

Abantu ba bulijjo baakwatiridde ku nguudo eziva ku kisaawe kya Jose Marti International airport okutuukira ddala mu kibuga Havana nga baabade bakutte bendera za Cuba ne Vatican wamu n’ebifaananyi bya Paapa Francis.

Omutukuvu Francis, ye Paapa owookusatu mu byafaayo bya Cuba okukyala mu ggwanga ng’eyasooka yali Paapa John Paul II eyakyalayo mu 1998 ne kuddako Paapa Benedict XVI eyakyala mu mu 2012.

Mu bubaka bwe, Paapa Francis yasabye abakulembeze ba Cuba okwongera abantu eddembe mu byobufuzi n’ab’enzikiriza basobole okweyagalira mu nsi yaabwe.

Paapa Francis yabadde asuubirwa okusinkana eyali Pulezidenti wa Cuba, Fidel Castro ow’emyaka 89 ku Ssande akawungeezi.

Paapa yasanyuse olw’engeri Gavumenti gy’ekolera awamu ne Eklezia e Cuba wabula n’asaba bannaddiini bafube okwetengerera.

Abacuba beebazizza Paapa olw’enkolagana ne Amerika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...